Obubaka: 63-0630E Obulamu Bwo Busaanidde Enjiri?
- 25-0914 Obulamu Bwo Busaanidde Enjiri?
- 23-1008 Obulamu Bwo Busaanidde Enjiri?
- 22-0415 Obulamu Bwo Busaanidde Enjiri?
- Paasika 2022
Ab’oluganda & Bannyinaze Abaagalwa,
Njagala nnyo Mukama, Ekigambo kya Katonda, Obubaka buno, Eddoboozi lyE, nnabbi wE, Omugole wE, okusinga obulamu bwennyini. Byonna biri EKINTU KIMU GYENDI. Saagala kwekkiriranya wadde ku nnukuta emu, akatonnyeze akamu, oba EKIGAMBO KIMU Katonda kye Yawandiika mu Kigambo kyE oba kye Yayogera ng’Ayita mu nnabbi wE. Eri nze, Byonna biri Bw’ati Bw’Ayogera Mukama.
Katonda yaKirowooza, oluvannyuma n’AKigamba bannabbi bE, ne bawandiika Ekigambo kyE. Olwo n’Atuma malayika wE ow’amaanyi, William Marrion Branham, ku nsi mu lunaku lwaffe asobole okwebikkula nga ali mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi omulundi omulala, nga bwe yakola ne Ibulayimu. Awo n’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi wE abeere Eddoboozi lya Katonda eri ensi, okubikkula n’okuvvuunula ebyama byonna ebibadde bikwekeddwa okuva ku kutondebwa kw’ensi eri Omugole wE eyategekerwawo.
Kaakano, Omugole wE, GGWE, ali mu kufuuka Ekigambo ekifuuse omubiri; nga ali Omu nayE, Omugole-Kigambo wE azziddwawo mu bujjuvu.
Nkimanyi nti ntegeerebwa bubi mu bye njogera ne bye mpandiika. Ka njogere mu bwetoowaze nga nnabbi waffe bwe yagamba nti, siri muyigirize era nkimanyi nti sisobola kuwandiika wadde okwogera mu ngeri entuufu bye mpulira mu mutima gwange. Ddala nkikkiriza nti oluusi kirabika nga mpandiika n’obukambwe obuyitiridde oluusi. Bwe nkola bwentyo, tekigendererwa kulaga butassaamu kitiibwa, oba okuba n’enneewulira enkyamu oba okusalira omuntu omusango, wabula kyeŋŋenderera kikontana n’ebyo. Nkikola lwa kwagala mu mutima gwange eri Ekigambo kya Katonda.
Njagala buli muntu asembeze era akkirize Obubaka buno Katonda bwe Yatuma okuyitayo Omugole wE. Siwulirangako mu mutima oba mu birowoozo byange nti abaweereza tebalina kuddamu kubuulira; ekyo kyandibadde kiwakanya Ekigambo kya Katonda. Nnina bubeezi mugugu ku lw’Eddoboozi lya Katonda ku ntambi. Nzikiriza nti lye ddoboozi erisinga obukulu OBUWEEREZA BWONNA lye buteekwa okuteeka KU MWANJO mu maaso g’abantu. Kino tekitegeeza nti tebasobola kubuulira, njagala bwagazi kubakubiriza kuzannya ntambi mu masinzizo gaabwe ng’abantu bakuŋŋaanye wansi w’okufukibwako amafuta okwo.
Weewawo, nandyagadde nnyo okuba n’ensi yonna ng’ewuliriza Obubaka bwe bumu mu kiseera kye kimu okwetoloola ensi yonna. Si lwakuba nti “nze” njogedde, oba lwakuba nti “nze” nnonze olutambi olw’okuwuliriza, wabula mpulira nga mazima ddala Omugole yandirabye engeri Katonda gy’Akoze ekkubo kino okubaawo mu lunaku lwaffe.
Singa tubadde tulina entambi z’amaloboozi ga Yesu ng’Ayogera leero ku lutambi, so si obuwandiike bwa Matayo, Makko, Lukka oba Yokaana obw’ebyo Yesu bye Yayogera (kubanga bonna baabyogera nga byawukanamu akatono), naye singa tusobola okuwulira Eddoboozi lya Yesu, Ye nga omuntu, bu heeyinti bwe, bu ttooti, ne bu feechi bwE nga tubuwulira n’amatu gaffe, obuweereza leero bwandigambye ekkanisa yaabwe nti, “Tetugenda kuzannya ntambi za maloboozi ga Yesu mu kkanisa yaffe. Nze nnayitibwa era nafukibwako amafuta okuKibuulira, n’OkuKinokola. Mumale gaziwuliriza nga muzzeeyo eka.” Abantu ekyo bandikiwagidde? Kyannaku okukyogera, naye ekyo kyennyini kye bakola leero. TEWALI NJAWULO, ne bwe bagezaako batya okukisiigako langi kibulireyo.
Eri nze, Ow’oluganda Branham yatuwa eky’okulabirako. Yayagala nnyo ng’amakanisa gonna, amaka, oba wonna we baali, okubeeranga ku mukutu ogw’oku ssimu basobole okuwulira Obubaka bonna mu kiseera kye kimu. Yali akimanyi nti basobola, era bajja kukikola, okufuna entambi ne baziwulira oluvannyuma, wabula yali ayagala beegatte wamu bawulire Obubaka bonna mu kiseera kye kimu….ERI NZE OYO YALI KATONDA NGA ALAGA OMUGOLE WE EKYALI KIGENDA OKUBAAWO MU LUNAKU LWAFFE N’EKY’OKUKOLA.
Buli muweereza omutuufu akkiriza Obubaka ajja kukkirizaganya nti tewali kintu kikulu kusinga ku kutuula wansi w’okufukibwako amafuta kw’Eddoboozi lya Katonda, eryakwatibwa ne liteekebwa ku ntambi. Omugole ajja kukkiriza, era abeere n’Okubikkulirwa, nti Obubaka buno kye Kigambo kya Katonda eky’olunaku lwaleero. Okulamula nsobola kasita mba nga nkozesa Kigambo, naye omuntu yenna atali mwetegefu kugamba nti Obubaka buno bwe Abusoluuti waabwe talina Kubikkulirwa kwa Kigambo eky’olwaleero, na bwe gutyo, bayinza batya okuba Omugole wE?
Okukinokola, okukibuulira oba okukiyigiriza kwokka tekumala, wabula okukiwulira nga kiva ku ntambi kye KIFO KYOKKA Omugole w’ayinza okugamba nti nzikiriza buli Kigambo. Obubaka Buno buli Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama. Kye mbuulira oba kye njigiriza tekiri Bw’Atyo bw’Ayogera Mukama, wabula ekyo Eddoboozi lya Katonda kye lyogera ku ntambi KIRI…ly’Eddoboozi LYOKKA eryakakasibwa Empagi y’Omuliro obutalekaawo kabuuza.
Nkimanyi waliwo ab’oluganda ne bannyinaffe abagamba, era nga bawulira muli nti, “Bwe mutawuliriza Bubaka Branham Tabanako bw’etimba ku mutimbagano gwayo, ne musoma ebbaluwa z’Empungu Zikuŋŋaanira Awamu, ne muwuliriza mu maka gammwe mu kiseera kye kimu temuli Mugole,” oba, “Kikyamu okugenda mu kkanisa, mulina okusigala mu maka gammwe.” EKYO KIKYAMU BYA NSUSSO. Ekyo sikirowoozaNGAKO, sikyogerangako, yadde okukkirizangako. Ekyo kivuddeko n’okwawukana okusingawo, okukyawagana mu busungu, n’okukomya okussa ekimu mu Mugole era omulabe ali mu kukozesa ekyo okwawula abantu.
Saagalangako kwawulamu Mugole, njagala okugatta Omugole ng’Ekigambo bwe kyagamba nti TUTEEKWA OKWEGATTA NGA OMUNTU OMU. Tetusaana kuba nga tulumaŋŋana ku busonga-songa buli omu ku munne, wabula mu ngeri ennyangungu tewali kirala kiyinza kutugatta okuggyako Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.
Tetulina kuba nga tuwakana n’okugamba abantu bye BATEEKWA OKUKOLA ekitali ekyo tebali mugole, kola bukozi nga MUKAMA BW’AKUKULEMBEDDE. Bakyali baganda baffe ne bannyinaffe. Tulina okwagalana n’okussa ekitiibwa mu bannaffe.
Kati, temuyomba. Olaba? Obusungu buzaala obusungu. Ob’okyali awo ogenda okulaba nga, munyiizizza Omwoyo Omutukuvu n’ava wemuli, ojja kuba oyomba nga omuddamu. Olwo Omwoyo Omutukuvu ne Yeebuukira n’Agenda. Obusungu buzaala obusungu.
Nga nnina nnabbi kye yayogera wano, saagala nako kunakuwaza Mwoyo Mutukuvu. Saagala wadde omulundi ogumu okulumaŋŋana ku busonga-songa. Tusobola okukubaganya ebirowoozo nga tuli wamu mu kwagala, naye si mu kuwakana n’obusungu. Bwemba nga njogedde ekintu kyonna ekinyiizizza omuntu yenna mu bye mpandiise oba bye njogedde, nsaba onsonyiwe, ssi ky’ekibadde ekigendererwa kyange.
Nga bwe nkyogedde emabegako, mpulira okuyitibwa ku bulamu bwange okuva eri Mukama okusonga abantu eri Eddoboozi lya Katonda ery’olwaleero. Abaweereza abalala balina okuyitibwa okulala era mpozzi balaba ebintu mu ngeri ey’enjawulo, Mukama atenderezebwe, bakola BO kye bawulira nga bakulembeddwa Omwoyo Omutukuvu okukola. Obuweereza bwange kwe kugamba obugambi Omugole nti, “NYIGA ZANNYA” era nti “Eddoboozi lya Katonda ku ntambi lye ddoboozi erisinga obukulu ly’osobola okuwulira.” “Nzikiriza nti obuweereza busaanye okuzannya Eddoboozi lya Katonda ku ntambi mu masinzizo gaabwe.”
Ebbaluwa ze mpandiika buli wiiki za kitundu ku Mugole ekiwulira nti bali kitundu ku Branham Tabanako. Nkimanyi abalala bangi bazisoma, naye nze nvunaanyizibwa okukola nga bwe mpulira nga nkulembeddwa okukola ku lw’ekkanisa yaffe yokka. Buli kkanisa yeemalirira; balina okukola nga bwe bawulira nga bakulembeddwa Mukama okukola, ekyo 100% Kigambo. Sibawakanya, ensonga eri bubeezi nti tetukkaanya. Nze ne Branham Tabanako, twagala kuwulira Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.
Ddala mpita ensi okutwegattako buli wiiki. Mbakubiriza bwe baba tebasobola kutwegattako, okulonda olutambi, olutambi lwonna, era banyige zannya. Bajja kufukibwako amafuta nga bwe kitabangawo. Bwentyo, mbayita wiiki eno okutwegattako ku Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe twegatta wamu tuwulire, 63-0630E Obulamu Bwo Busaanidde Enjiri?
Ow’oluganda Joseph Branham