25-0608 Omuluŋŋamya

Obubaka: 62-1014E Omuluŋŋamya

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole Ali Mu Kukuŋŋaana Okwetegekera Okubuuka Omwagalwa,

Kati Katonda bulijjo atumyenga abaluŋŋamya be, bulijjo tAbangako nga talina muluŋŋamya, okuyita mu mirembe gyonna. Katonda bulijjo abaddenga n’omuntu amukiikirira ku nsi eno, mu mirembe gyonna.

Katonda tayagala twesigame ku kutegeera kwaffe oba ebirowoozo byonna ebyakolebwa omuntu. Eno y’ensonga lwaki atumira Omugole we Omuluŋŋamya; kubanga oyo aba n’okutegeera, ku ngeri y’okugenda mu na kiki eky’okukola. Katonda TAKYUSANGAKO nteekateeka ye. Talemererwangako kutumira abantu bE Muluŋŋamya, wabula olina okukkiriza Omuluŋŋamya oyo.

Olina okukkiriza buli Kigambo ky’Ayogera ng’Ayita mu Muluŋŋamya wE. Olina okutambulira mu kkubo Omuluŋŋamya wE ly’agamba nti ly’oba otambuliramu. Bw’otanula okuwuliriza n’okukkiriza amaloboozi amalala nga ge maluŋŋamya go, mu ngeri ennyangu-ngu ogenda kuzuuka ng’obuze.

Omutukuvu Yokaana 16 agamba nti Yalina ebintu bingi bye Yayagala okutugamba n’okutubikkulira, n’olw’ensonga eyo yali wa kutuma gyetuli Omwoyo wE Omutukuvu okuluŋŋamya n’okutubuulira. Yagamba nti Omwoyo Omutukuvu ye nnabbi omulungamya wa buli mulembe. Bwe batyo, bannabbi bE baatumibwanga okukiikirira Omwoyo Omutukuvu okuluŋŋamya Omugole wE.

Omwoyo Omutukuvu atumibwa okukulembera ekkanisa, so si ekibinja kya basajja ekimu. Omwoyo Omutukuvu ye nnyini-magezi gonna. Abasajja batuuka ne bawotoka ne bakakanyala, nga tebakyayontowalira kinyusi.

Taba musajja, wabula Omwoyo Omutukuvu MUNDA mu musajja oyo. Omusajja gwe Yalonda okwekiikirira ng’Ayita mu ye n’okubeera omuluŋŋamya waffe ow’oku nsi akulemberwa Omuluŋŋamya waffe ow’omu Ggulu. Ekigambo kitugamba nti tulina okugoberera Omuluŋŋamya oyo. Si nsonga tulowooza ki, oba kiki ekituwulikira nga kye ky’amagezi, oba kiki omusajja omulala ky’agamba , si ffe bekikwatako okwawulawo kw’ekyo, omuluŋŋamya ye yekka gwe kikwatako.

Katonda atuma Omuluŋŋamya, era Katonda akwetaaga ojjukire nti oyo ye Muluŋŋamya wE gwe Yalonda.

Omuluŋŋamya waffe nnabbi alondeddwa Katonda okwogera Ekigambo kyE. Ekigambo kye KIGAMBO KYA KATONDA. Omuluŋŋamya nnabbi, era ye yekka, alina okuvvuunula okw’obwakatonda okw’Ekigambo. Katonda Yayogera Ekigambo kyE gy’ali kamwa ku kutu. Bwe kityo, toyinza kuwakanya, kukyusa, oba okukubaganya ebirowoozo ku Kigambo ky’Omuluŋŋamya wo.

Oteekwa okumugoberera, era Ye yekka. Bw’otokikola, ojja kuzuuka ng’obuze. Jjukira, bw’omuvaako, Omuluŋŋamya wa Katonda gwe yalonda, obeera ku bubwo, kale twagala okusigala kumpi n’omuluŋŋamya gwe Yalonda, era tuwulire era tugondere buli Kigambo ky’Ayogera ng’Ayita mu ye.

Omuluŋŋamya waffe atuyigirizza nti endagaano enkadde yali kisiikirize kya ndagaano empya.

Isiraeri bwe baava e Misiri nga boolekera ensi ensuubize, mu Okuva 13:21, Katonda yali akimanyi nti tebatambulirangako mu kkubo eryo. Zaali mayiro amakumi ana zokka, naye era nga beetaaga ekintu ekimu okugenda nabo. Bandibuze ne babulwa ekkubo lyabwe. Kale Ye, Katonda, yabatumira Omuluŋŋamya. Okuva 13:21, ekintu ekisoma nga bwekiti, “Ntuma Malayika wange mu maaso gammwe, Empagi y’omuliro, okubakuumira mu kkubo ettuufu,” okubaluŋŋamya bo okutuuka mu nsi eno ensuubize. Era abaana ba Isiraeri ne bagoberera Omuluŋŋamya oyo, Empagi y’omuliro (ekiro), Ekire emisana. Bwe Yayimirira, ne bayimirira. Bwe Yatambula, ne batambula. Era bwe Yabasembeza okumpi n’ensi eyo, era nga tebasaanira kusomoka, Yabakulembera n’ebazzaayo mu ddungu nate .
    

Yagamba nti eyo ye kkanisa leero. Twandibadde twagenda dda singa twamala okugolola ensobi zaffe ne tukkalira bulungi, wabula kiMwetaagisizza okutukulembera atwetoolooze era atwetoolooze era atwetoolooze.

Baali ba kugoberera bugoberezi muluŋŋamya waabwe nga YE BWE YAGOBERERA n’awulira okuva eri Empagi y’Omuliro. Yababuuliranga Katonda bye Yali agambye era nga balina okugondera buli Kigambo kye yayogera. Ye yali Eddoboozi ly’Omuluŋŋamya. Wabula baabuuza ebibuuzo era ne bawakana n’omuluŋŋamya Katonda gwe Yalonda, bwe batyo ne babeya mu ddungu okumala emyaka 40.

Mu biro bya Musa waaliwo abaweereza bangi. Katonda yali abaalonze okuyamba abantu, nga Musa bwe yali tasobola kubikola byonna. Wabula omulimu gwabwe gwali gwa kusonga bantu okuzza amaaso ku ebyo Musa bye yayogera. Bayibuli terina kintu kyonna ky’eyogera kw’ebyo abasajja abo bye baayogera, eyogera byokka Musa bye yagamba nti kye Kigambo eky’okuluŋŋamya abantu.

Katonda bwe yaggyawo Musa, Yoswa yalondebwa okukulembera abantu, ekikiikirira Omwoyo Omutukuvu leero. Yoswa teyabuulira kintu kipya kyonna, kakibeere okugezaako okutwala ekifo kya Musa nakyo teyakikola, era teyagezaako na kuvvuunula ekyo omuluŋŋamya kye yayogera; mu ngeri ennyangu-ngu yasoma busomi Musa bye yayogera n’agamba abantu nti, “Musigale n’Ekigambo. Musigale n’ebyo Musa bye yayogera”. Kye yakola kyokka kwali kusoma Musa bye yayogera.

Nga kifaananyi ekituukiridde eky’ennaku zino. Katonda yakakasa Musa obutalekaawo kabuuza ng’Akozesa Empagi ey’Omuliro. Nabbi waffe yakakasibwa Empagi y’omuliro y’emu obutalekaawo kabuuza. Ebigambo Musa bye yayogera byali Kigambo kya Katonda era ne biteekebwa mu Ssanduuko. Nabbi wa Katonda yayogera mu kiseera kyaffe era ne biteekebwa ku lutambi.

Musa bwe yaggyibwawo, Yoswa yalondebwa okukulembera abantu ng’Akuumira Ebigambo Musa bye yayogera mu maaso gaabwe. Yabagamba bakkirize era basigale na buli Kigambo omuluŋŋamya wa Katonda kye yayogera.

Bulijjo Yoswa yasomanga Musa bye yawandiika Kigambo ku Kigambo okuva mu mizingo. Yateeka Ekigambo mu maaso gaabwe bulijjo. Ekigambo ky’olunaku lwaffe tekyawandiikibwa, wabula Kyakwatibwa ku lutambi kisobozesenga Omwoyo Omutukuvu okuleteranga Omugole wE okuwulira Kigambo ku Kigambo bye yayogera, ng’Anyiga Zannya.

Katonda takyusa nteekateeka yE. Ye Muluŋŋamya waffe. Eddoboozi lyE lye liri mu kuluŋŋamya n’okugatta Omugole wE leero. Twagala kuwulira Ddoboozi ly’Omuluŋŋamya waffe lyokka nga bwe litukulembezesa Empagi y’Omuliro. Kwe kwegatta okutalabika okw’Omugole wa Kristo. Tumanyi Eddoboozi lyE.

Omuluŋŋamya waffe bw’ajja ku kituuti, Omwoyo Omutukuvu amugwaako era Aba takyali ye, wabula Omuluŋŋamya waffe. Agumya omutwe gwe waggulu mu bbanga n’aleekaana nti, “Bw’Ati bw’Ayogera Mukama, Bw’Ati bw’Ayogera Mukama, Bw’Ati bw’Ayogera Mukama!” Era buli mmemba w’Omugole wa Kristo okwetoloola ensi yonna aggyira ddala gy’ali. Lwaki? TUMANYIRAWO OMUKULEMBEZE WAFFE KU NJOGERA GY’AYOGERAMU.

Omuluŋŋamya waffe = Ekigambo

Ekigambo = Kijja eri nnabbi

Nabbi = Omuvvuunuzi wa Katonda yekka ow’obwakatonda; Omuluŋŋamya wE ow’oku nsi.

Sigala emabega w’Ekigambo! Oh, yee, ssebo! Sigala n’Omuluŋŋamya oyo. Sigala bulungi ddala emabega waaKyo. Togenda mu maaso gaakyo, gwe sigala emabega waakyo. Leka Kikukulembere, toKikulembera. Ggwe Kireke Kisookeyo.

Bw’oba toyagala kubula, jjangu owulirize Omuluŋŋamya waffe ng’Ayogera ng’Ayita mu muluŋŋamya wE eyalondebwa ku nsi Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda).

Owol. Joseph Branham

Obubaka:  

62-1014E — Omuluŋŋamya

Ebyawandiikibwa:

Omut. Makko 16:15-18
Omut. Yokaana 1:1 / 16:7-15
Ebikolwa by’Abatume 2:38
Abeefeso 4:11-13 / 4:30
Abebbulaniya 4:12
2 Peetero 1:21
Okuva 13:21