25-0223 Kano Ke Kabonero K’enkomerero Ssebo?

Obubaka: 62-1230E Kano Ke Kabonero K’enkomerero Ssebo

BranhamTabernacle.org

Bassebo Abaagalwa,

Kano ke, Akabonero. Kino kye kiseera. Buno bwe, Obubaka. Kino kye, Ekigambo. Lino lye, Eddoboozi lya Katonda. Ono ye Mwana w’Omuntu. Lino lye, ekkubo lya Katonda ly’Ataddewo. Eno y’enkomerero y’ebiseera.

Tewali nnabbi, tewali mutume, tewabangawo, mu kiseera kyonna, ali awangaalidde mu kiseera nga kye tulimu kati. Kiwandiikiddwa mu bwengula. Kiwandiikiddwa ku nsi kuno wonna. Kiwandiikiddwa mu buli lupapula lw’amawulire. Eno y’enkomerero, bw’oba osobola okusoma obuwandiike bw’omukono.

Oyo alina okutu, awulire Katonda bye Yayogera, era bye Yakwata ku lutambi, bwe kityo kireme kuba kigambo kyange, birowoozo byange, ekirowoozo kyange, wabula Eddoboozi lya Katonda lyenyini nga liragirira Omugole wE ekkubo lyE ettuukirivu LYOKKA lye Yateekawo ku lw’olwaleero lye liruwa.

Mujje muwulirize nga bw’Atubuulira era n’Atubikkulira okuyita mu byawandiikibwa, mu kwolesebwa, mu kutaputa ebirooto, okusigala n’Obubaka, okusigala n’entambi. Yogera KYOKKA ekiri ku ntambi.

Tewali kkubo lisingako obulungi, lisingako obukakafu, okusinga okuwulira Eddoboozi lya Katonda okuva eri Katonda Mwene. Katonda yalagira Omugole we nga Ayogera ng’Ayita mu nnabbi wE n’atugamba nti, MUNYIGE ZANNYA, kikoma awo.

Kyogere, Kibuulire, kijulireko, era obuulire ensi ku Kyo, naye Atugamba nti waliwo engeri emu yokka etuukiridde eyateekebwawo ey’okutuukiriza Omugole: wuliriza Eddoboozi lya Katonda ku ntambi. Bwe wabaawo ekintu ekikutabula okutegeera, zannya olutambi. Liteekwa okuba nga lye LISOOKA, era Eddoboozi erisinga obukulu ly’olina okuwulira. Kye Kigambo kye ekituukiridde kye Yateeka ku lutambi.

Kati n’ekyo kigeraageranye n’ebirala, ebirooto. Kuno kwali kwolesebwa. Emmere, yiino wano. Kino kye kifo.

Wuliriza, okusinziira ku birooto n’okwolesebwa, Emmere y’Omugole eri ludda wa? Ekifo kiri ludda wa? Obubaka eri Omugole buli ku ntambi.

Era wano wampulikira ng’awaka, gyendi. Kino kye kifo. Era bwe weetegereza, ebirooto byayogera ekintu kye kimu, laba, awo Emmere w’eri.

Okukakasa nti tukifuye, atugamba omulundi omulala, entambi ze Mmere y’Omugole.

“Ekiseera tekikyaliwo.” Bwe kiba bwe kityo, leka twetegeke mikwano okusisinkana Katonda waffe.

Weewawo, Mukama, okwo kwe kuyaayaana kw’omutima gwaffe, okuba abeetegefu okukusisinkana, okubeera Omugole Wo. Tukole ki Mukama? Ekkubo Lyo ly’Otaddewo lye liruwa? Enteekateeka Yo y’eruwa? Ekkubo Lyo erituukiridde lye liruwa? Watuweereza nnabbi gwe Wayinza okwogereramu okutubuulira. Tusaba otulagirire.

Wabaddewo Emmere nnyingi eyingiziddwa kati. Katukikozese. Katukikozese kati.

Omuntu ayinza okuba omuzibe w’amaaso kwenkana wa? Atubuulira eky’okukola: Waliwo emmere eterekeddwa nnyingi ku ntambi; muzikozese KATI. Kino kye kiragiro kya Katonda eri Omugole wE.

Bwoba ogamba nti okkiririza Obubaka buno, kkiriza nti William Marrion Branham ye nnabbi wa Katonda omubaka eyasindikibwa okuyitayo Omugole; obulamu bwe butuukiriza ebyawandiikibwa byonna ebyogera ku ye; kkiriza nti Lye Ddoboozi lya Katonda olw’olunaku luno, olwo YE; Katonda, ng’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi wE, abuulira Omugole mu Lungereza olutegeerekeka eky’okukola.

Wadde nga tusekererwa, tuyigganyizibwa, era ne tunyoomebwa kubanga tuwuliriza ntambi zokka, tukola ekyo kyennyini kye Yatugamba okukola. Mukama Webale olw’Okubikkulirwa.

Njagala okuyita ensi okutwegattako Ssande eno ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira: “Kano Ke Kabonero K’Enkomerero, Ssebo?” Tugenda kuba tuwulira byonna ebikwata ku:

Ebibwatuka, Obubonero Omusanvu, Olwazi lwa Piramidi, Emmere ey’Omwoyo, Obutaggwawo, Ekibinja kya Bamalayika, Ekitebe kyange, Okwolesebwa, Ebirooto, Obunnabbi, Ebyama Ebikwekeddwa, Kyawandiikibwa oluvannyuma lwa Kyawandiikibwa.

Tewali kikulu mu bulamu buno okusinga okuwulira n’okugondera Eddoboozi lya Katonda.

Owol. Joseph Branham

Bw’eti bw’efundikira ebbaluwa.

Biibino ebyawandiikibwa eby’eky’okuyigako kyaffe eky’oku Ssande.

Ebyawandiikibwa :

Malaki Essuula 4 yonna

Omutukuvu Matayo 13:3-50

Abaruumi 9:33 / 11:25 / 16:25

1 Abakkolinso 14:8 / Essuula 15 yonna

Abaggalatiya 2:20

Abeefeso 3:1-11 / 6:19/ 5:28-32

Abakkolosaayi 4:3

1 Abasessaloniika 4:14-17

1 Timoseewo 3:16

Abebbulaniya 13:8

2 Peetero 2:6

Okubikkulirwa 1:20 / 3:14 / 5:1 / 6:1 / 10:1-7 / Essuula 17 yonna