24-0818 Katonda W’Omulembe Guno Omubi

Obubaka: 65-0801M Katonda W’Omulembe Guno Omubi

BranhamTabernacle.org

Abatuukiridde Abaagalwa,

Eddoboozi lye tuwulira ku ntambi lye Ddoboozi lye limu eryafulumya Ekigambo kye mu Lusuku Adeni, ku Lusozi Sinaayi, ne ku Lusozi olw’Okufuusibwa. Livuga leero n’Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo okujjuvu era okw’enkomeredde. Liri mu kukoowoolayo Omugole We, nga Limuteekateeka olw’Okukwakkulibwa. Omugole ali mu kuLiwulira, nga aLikkiriza,  nga Abeerawo okusinziira ku Lyo, era Yeetegese nga Ayita mu ku Likkiriza.

Tewali muntu ayinza kuLituggyako. Obulamu bwaffe tebusobola kwerijjirwako. Omwoyo we Abumbujja era Agaba ekitangaala ng’Asinziira mu ffe. Atuwadde Obulamu bwE, Omwoyo gwE, era Ali mu kwolesa Obulamu bwe mu ffe. Tukwekeddwa mu Katonda era tuliisibwa Ekigambo kyE. Sitaani tayinza kutukwatako. Tetuyinza kusigulwa. Tewali kiyinza kutukyusa. Olw’okubikkulirwa, tufuuse OMUGOLE-EKIGAMBO wE.

Sitaani bw’agezaako okutukkakkanya, tumujjukiza bujjukiza engeri Katonda gy’Atulabamu. Bw’Atunula wansi okutulaba, ky’Alaba kyokka ye zaabu OMULONGOOFU. Obutuukirivu bwaffe bwe butuukirivu BWE. Ebikula byaffe bye bikula byE byennyini eby’ekitiibwa. Ebimanyisa ensi kyetuli bisangibwa mu Ye. Ky’Ali, kati kye tulabisa. By’Alina, KATI BYE TWOLESA.

Nga Ayagala nnyo okugamba Sitaani nti, “SiMulabamu nsobi yonna Omukyala oyo; ATUUKIRIDDE. Eri Nze, Ye Mugole Wange, ow’ekitiibwa munda ne kungulu. Okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero, Ye Mulimu Gwange, era Emirimu gyange gyonna giba Mituukirivu. N’okuba, mu Ye amagezi gaNge agataggwawo n’ekigendererwa mwe biwunzikirira”.

“Muzudde nga asaanidde, Omugole Wange omwagalwa. Nga zaabu bw’agoomezebwa ebimukuba, Agumidde okubonaabona olw’okuba nga Nze. Teyekkiriranyizza, tavunnamye, newankubadde okumenyeka omwoyo, wabula agoomezeddwa okufuuka ekintu ekisikiriza. Okugezesebwa kwe n’ebimugezesa mu bulamu buno biMufudde Omugole wange Omuganzi”.

Ekyo tekiwulikika nga Mukama yekka? Amanyi bulungi engeri y’okutuzzaamu amaanyi. Atugamba nti, “Temugeza ne muggwaamu amaanyi, wabula muddeemu amaanyi”. Alaba okufuba kwaffe okw’okwagala gy’Ali. Alaba bye tulina okuyitamu. Alaba entalo ze tulina okugumira buli lunaku. Nga bw’Atwagala ng’Atuyisa mu buli emu ku zo.

Mu Maaso Ge tutuukiridde. Abadde Atulinze okuva ku ntandikwa y’ebiseera. Tajja kuleka kintu kyonna kututuukako okuggyako nga kibaawo olw’obulungi bwaffe. Akimanyi nti tujja kuvvuunuka buli kizibu Sitaani ky’atuteeka mu maaso. Ayagala nnyo okumukakasa nti tuli Mugole wE. Tetuyinza kusigulwa. Ffe b’Abadde Alinze okuva ku lubereberye. Tewali kiyinza kutwawula ku Ye n’Ekigambo kyE.

Yatuweereza omubaka wE malayika ow’amaanyi asobole okwogera naffe kamwa ku kutu. Yasiima Kikwatibwe ku lutambi waleme okubaawo ebibuuzo byonna ku bye Yayogera. Yasiima Kiterekebwe Omugole We asobole okuba n’eky’okulya okutuusa lw’Alijja okumucima.

Si nsonga  oba abalala batutegeera bubi era ne batuyigganya olw’okugamba nti tuli “Bantu ba Ntambi”, tusanyuka, kubanga kino ky’Atubikkulidde okukola. Abalala balina okukola nga bwe bawulira nga bakulembeddwa okukola, naye ku lwaffe, tuteekwa okwegatta wamu wansi w’Eddoboozi limu, Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza ku ntambi.

Tetusobola kugenda mu buziba bwa kintu kirala kyonna. Tetusobola kutegeera kintu kirala kyonna. Tetusobola kukola kintu kirala kyonna. Tetusobola KUKKIRIZA kintu kirala kyonna. Tetuwakanya abakkiriza abalala kye bawulira nga bakulembeddwa Mukama okukola, naye kino Katonda ky’ATUKULEMBEDDE FFE OKUKOLA, era wano we tuteekwa OKUSIGALA.

Tuli bamativu. Tuli mu kuliisibwa Eddoboozi lya Katonda. Tusobola okugamba nti “amiina” ku BULI KIGAMBO kye tuwulira. Lino ly’Ekkubo Katonda lye Yatuteerawo. Tetusobola kukola kintu kirala kyonna.

Njagala nnyo okukamala okuyita buli muntu okujja okutwegattako. Enkuŋŋaana tuli mu kuzikola bukozi ddala nga Ow’oluganda Branham bwe yazikolamu nga ali wano ku nsi. Newankubadde tali wano mu mubiri, ekikulu ky’ekyo Katonda kye Yagamba Omugole we ku ntambi.

Yayita ensi yonna okubeera ekitundu ku MUKUTU OGWEYUNGIBWAKO ogw’oku ssimu, naye ekyo baakikola bwe baaba nga BAAGADDE. Yabaleetera nga okukuŋŋaana buli we baali basobola okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera nabo bonna mu kiseera kye kimu. Ekyo nnabbi wa Katonda kye yakola mu kiseera ekyo, kale nange nfuba okukola ekyo kyennyini kye yakola ng’ekyokulabirako kyange.

Bwemutyo, muyitibwa okujja okutwegattako ku mukutu ogweyungibwako Sande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga tuwuliriza omubaka wa Katonda nga atuleetera Obubaka : Katonda W’omulembe Guno Omubi 65-0801M. 

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Omut. Matayo 24 essuula / 27:15-23
Omut. Lukka 17:30
Omut. Yokaana 1:1 / 14:12
Ebikolwa 10:47-48
1 Abakkolinso 4:1-5 / Essuula ey’ekkumi n’ennya
2 Abakkolinso 4:1-6
Abaggalatiya 1:1-4
Abeefeso 2:1-2 / 4:30
2 Abasessaloniika 2:2-4 / 2:11
Abebbulaniya essuula ey’omusanvu
1 Yokaana Essuula 1 / 3:10 / 4:4-5
Okubikkulirwa 3:14 / 13 :4 / Essuula 6-8 ne 11-12 / 18:1-5
Engero 3:5
Isaaya 14:12-14