24-0714 OKUKWATIBWA ENSONYI

Obubaka: 65-0711 OKUKWATIBWA ENSONYI

BranhamTabernacle.org

Omugole Atakwatiddwa Nsonyi Omwagalwa,

Tewabangawo kiseera oba abantu nga leero. Tuli mu Ye, abasika ba byonna bye Yatugulira. Ali mu kugabana naffe obutukuvu Bwe, okutuusa nga mu Ye, tufuuse obutuukirivu bwa Katonda bwennyini.

Yatumanyirawo edda ku bw’ekiragiro ky’Obwakatonda, nti tuliba Mugole We. Yatulonda, tetumulondangako. Si ffe abeereeta, kwali kweroboza Kwe. Kati Atadde mu mutima gwaffe ne mu mmeeme yaffe Okubikkulirwa okujjuvu okw’Ekigambo kye.

Olunaku ku lunaku, Atubikkulira Ekigambo kye, ng’Afuka Omwoyo gwe ku ffe, ng’Ayolesa obulamu bwe bwennyini mu ffe. Omugole We tasuulangako nnanga nywevu nnyo okusukka wano mu mitima gyabwe nga bamanyi nti bali mu kwagala Kwe okutuukiridde, ne mu nteekateeka Ye, ng’asigala n’Ekigambo Kye, ng’awulira Eddoboozi Lye.

Okwagala kwa Katonda n’Obubaka buno bujjuza emitima okutuusa we kituuka nga givulula buvuluzi. Tewali kirala kye twagala kuwulira, kwogerako, kussa kimu ku kyo, oba okumala gagabana okunokola kwe twaakawulira ne tutendereza Mukama.

Tulinga Musa emabega w’eddungu. Tutambudde ne tutuuka we twolekeganiza obwenyi ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, era tulaba Eddoboozi nga Lyogera naffe; butereevu ddala n’Ekigambo n’ekisuubizo ky’essaawa. Kirina kye kitukozeeko. TetuKikwatibwa nsonyi. Twagala nnyo okuKilangirira eri ensi. Tukkiriza nti Mukama waffe Yesu ye Bubaka bw’ekiseera era TULI MUGOLE WE.

Atwetoolozza olugo olw’Ekigambo kye. Tewali kisiikirize kya kubuusabuusa, lino lye kkubo lya Katonda ly’Ataddewo. Katonda mpaawo lw’Akyusa ndowooza Ye ku Kigambo Kye. Yalonda malayika We ow’omusanvu okukoowoolayo Omugole we, n’oluvannyuma okumukuumira mu buteerevu n’Ekigambo kye.

Tewali kintu kyonna mu bulamu buno okuggyako Ye n’Ekigambo kye. Tetusobola kuKikoowa. Kitusingira obulamu. Enjiri n’Amaanyi ga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna bisaasaanidde mu nsi yonna nga bwe kitabangawo. Ekigambo kati kiri mu mikono ne mu matu g’Omugole. Ekiseera ky’okwawukana kati kigenda mu maaso, Katonda mw’Ali mu kuyitira Omugole, nga sitaani ayita ekkanisa.

TuKwagala Ggwe n’Ekigambo Kyo, Mukama. Tetusobola kufuna kimala. Tutuula mu maaso g’Ekigambo Kyo buli lunaku, nga twengera, nga twetegekera Okujja Kwo okw’amangu. Kitaffe, kirina okuba nga kiri kumpi nnyo. Tusobola okukiwulira, Mukama waffe. Tulindirira n’okusuubira okungi.

Kitaffe, tufuule abeesimbu okusingawo era tuzze buggya ebirayiro byaffe nate. Tukimanyi nti Okukkiriza kwaffe mu Kigambo Kwo kubumbujjira mu mutima gwaffe. Oggyeemu okubuusabuusa kwonna. Tewali kintu kyonna kisigaddemu awo okuggyako Ekigambo Kyo. Tukakasa, era tetukwatibwa nsonyi kugamba nsi nti, tuli Mugole Wo ow’Olutambi.

Njagala okuyita ensi okujja okuwuliriza wamu naffe Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga tuwulira Obubaka: Okukwatibwa Ensonyi 65-0711.

Owol. Joseph Branham

Omut. Makko 8:34-38

34 N’ayita ebibiina n’abayigirizwa be, n’abagamba nti Omuntu bw’ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.

35 Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n’olw’enjiri alibulokola.

36 Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n’okufiirwa obulamu bwe?

37 Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe?

38 Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n’ebigambo byange mu mirembe gino egy’obwenzi era emibi, n’Omwana w’omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw’alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.