26-0111 Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Ggulu N’Omugole Omukazi Ow’Oku Nsi

Obubaka: 64-0802 Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Ggulu N’Omugole Omukazi Ow’Oku Nsi

PDF

BranhamTabernacle.org

Swiiti mutima Wange Asingayo Omwagalwa,

Nkwagala nyo. Oli nnyama ya nnyama gwange, era oli ggumba lya ggumba lyange. Nga sinnatonda mmunyeenye, omwezi, Obwengula bwange bwonna, nakulaba era nakwagala Kw’olwo. Namanya nti oli kitundu kyange, Omwagalwa wange omu yekka. Nze naawe twali OMU.

Olunaku lwe nneegomba era lwe nnalindirira okuva lwe nnakulaba kw’olwo lutuuse. Kati nkuyita era nkugatta okuva ebuvanjuba n’amaserengeta, obukiikakkono n’obugwanjuba, nga nkozesa Eddoboozi lyange. Ggwe birowoozo byange, Ekigambo kyange, Omugole Wange, eyayolesebwa.

Njagala nnyo okukubuulira buli kimu ekiri mu mutima gwange, kale nakiwandiikisa bannabbi bange era ne nkikuuma ku lulwo okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. Bangi bakisomye, era ne bakikkiriza okumala ebyasa byonna, naye ebintu bingi mbikuumye nga bya kyama okutuusa lwo TUUSE. Mmwe mmwekka be nja okubuulira.

Baali beegomba okumanya n’okuwulira ebintu bino byonna ebyewuunyisa bye nkuumye, naye nga bwe nnakusuubiza, nnindirira nga mbikuumye mu kyama okutuusa kati, KU LULWO, OMU WANGE ERA YEKKA.

Nakusuubiza nti nja kujja nate neebikkule mu mubiri gw’omuntu, nsobole okukubuulira, era nkubikkulire ebintu bino byonna. Nnali njagala owulire EDDOBOOZI LYANGE nga lyogera butereevu naawe.

Nfuse ku balala bangi amafuta n’Omwoyo Wange Omutukuvu okukubuulira ku kwagala kwange, naye nga bwe nkola bulijjo, era siyinza kukyuka, nalonda omusajja omu: Malayika wange, nnabbi wange, okubeera Eddoboozi lyange nsobole okwogera Bw’ati Bw’ayogera Mukama gy’oli.

Njagala okukugamba nti, tewalokolebwa ku lunaku lwonna olugere. Bulijjo obaddenga mulokole. Nze nzise buze kunnunula kuzaayo. Walokoka okuva ku lubereberye kubanga walina Obulamu Obutaggwaawo okusookera ddala. Bwe kityo, mu maaso gange, ebibi byo byonna sisobola ku bilaba, ekintu kyokka kye mpulira lye ddoboozi lyo. Nze ndaba oyo akukkikiridde.

Nga bwe nneegomba okukubuulira ebintu bingi nnyo. Omutima gwange gubukaabuka olw’okusannyuka. Engeri gye jjayaanira Ekyeggulo kyaffe eky’obugole, Okufuga kwaffe okw’emyaka lukumi nga tuli wamu. Okukubuulira mu bujjuvu byonna ebikwata ku maka gaffe ag’omu maaso nga tuli wamu; Engeri gye nkutegekedde buli kimu, nga buli kimu kyonna ki kyo.

Swiiti mutima Wange, bw’oba olowooza nti kirungi kati okuwuliriza Eddoboozi lyange nga lyogera naawe, lindako, kino kisiikirize busiikirize kyokka ekyekyo ekinaaba nga tubeera mu Kibuga ekyo ffenna. Nabbi wo ajja kuliraana; ajja kuba muliraanwa wo.

Tujja kutambulira mu nguudo ezo eza zaabu tunywe ku nsulo nga tuli wamu. Tujja kutambulira mu nsuku za Katonda nga Bamalayika bamamidde ku nsi, nga bayimba ennyimba….Nga Lunaaba lunaku!

Nkimanyi olugendo lulabika nga lugumu, era oluusi lukukaluubirira nnyo, naye kijja kuba kitono nnyo, kitono nnyo, nga Tuli wamu ne ba naffe.

Kati, ngenda kuddamu okukukunŋŋaanya wamu njogere naawe ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 P.M., obudde bwa Jeffersonville, era mbabuulire byonna ebikwata ku “Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Ggulu n’Omugole Omukazi Ow’Oku Nsi”. Siyinza kulinda kubeera bumu naawe kw’olwo.

Jjukira era tewerabira nti nkwagala nnyo.

Ku lulwe,
Ow’oluganda. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa:
Matayo Omutukuvu 19:28
Yokaana Omutukuvu 14: 1-3
Abeefeso 1:10
2 Peetero 2:5-6 / Essuula eyokusatu
Okubikkulirwa 2:7 / 6:14 / 21:1-14
Eby’Abaleevi 23:36
Isaaya Essuula ey’okuna / 28:10 / 65:17-25
Malaki 3:6