25-1005 Akabonero

Obubaka: 63-0901M Akabonero

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole w’Akabonero Omwagalwa,

Bwe tukuŋŋaana, tetwogera bwogezi ku ku Bubaka kyokka, kukuŋŋaana okusiigako Omusaayi, okusiigako Akabonero; era Akabonero bwe Bubaka bw’ekiseera! Obwo bwe Bubaka bw’olunaku luno! Obwo bwe Bubaka bw’ekiseera kino.

Akabonero ako tukeesiizeko, tukasiize ku maka gaffe, ne ku b’enju zaffe. Tetukwatibwa nsonyi. Tetufaayo ani akimanyi. Twagala buli muntu akimanye, buli ayitawo alabe era amanye: Tuli bantu ba Lutambi . Tuli Maka ga Lutambi. Ttuli Mugole wa Katondaow’Olutambi.

Omwoyo Omutukuvu = [yenkankana ne] Akabonero = Obubaka. Byonna bye bimu. Tosobola kubyawula. Kitaffe, Omwana, Omwoyo Omutukuvu = Mukama waffe Yesu Kristo. Tosobola kubyawula. Obubaka = Omubaka. Abakolokosi ne bwe boogera batya, NABBI YAGAMBA, tosobola kubyawula.

Katonda lye ssanyu lyo. Katonda ge maanyi go. Okumanya Obubaka buno, okumanya nti ge Mazima gokka, okumanya nti Ke Kabonero, ekyo kwe kumatira kwaffe. Abamu bayinza okugamba nti, “Mbukkiriza. Mbukkiriza. Mbukiriza nti ge Mazima. Mbusembeza nga Amazima.” Ebyo byonna birungi, naye ate Bulina okusiigibwako.

Nabbi yagamba nti Obubaka buno ke Kabonero ka leero. Obubaka buno ye Mwoyo Omutukuvu. Bw’oba olina Okubikkulirwa kwonna okw’Obubaka buno osobola okulaba obulungi essaawa gye tulimu. Kale bangi bali mu kugamba nti, “Nkikkiriza. Katonda yatuma nnabbi. Bwe Bubaka bw’ekiseera,” naye ne beewaana nga bagamba nti tebazannya, era tebajja kukikola, okuzannya Eddoboozi lyennyini ery’Akabonero mu makanisa gaabwe.

Katonda teYayogerako ng’Ayita mu malayika wE ow’amaanyi n’Abaako ekintu kyonna ky’Ayogera okuggyako nga kirina amakulu. Yatugamba nti yatusomesa nga akozesa eby’okulabirako ebiramu n’ebisiikirize. Mu ssomo lino, nabbi agenda mu buziba nnyo okutubuulira kiki Lakabu n’ab’omu maka ge kye baakola okusobola OKULOKOKA, okufuuka Omugole. Yali mulambulukufu ku kikwata ku mukyala oyo kyeyakola.

Abalenzi b’olutambi bwe baazannya [leeero kye tuyita – Muvvuunuzi]“OLUTAMBI”…Lindako katono, omubaka oyo yakola ki? Yazannya Olutambi. Olwo omukyala oyo kiki kye yakola? Yafuula amaka ge EKKANISA Y’OLUTAMBI. Teyakwatibwa nsonyi kugamba nti, “Mulaba akagoye ako akamyufu, ako kategeeza nti ndi KANISA YA LUTAMBI”.

Olowooza singa omukyala oyo yali agambye nti, “Weewawo, nzikiriza omubaka n’Obubaka, wabula tetuzannya Ntambi  mu kkanisa yaffe. Nnina omusumba agamba nti NEDDA, w’ali okubuulira obubuulizi n’okunokola entambi kye zoogera.” Olowooza yandirokose …???

Yasiigako akabonero, ennyumba ye n’erokoka, ekitali ekyo yali azikiriridde emmanga eyo gye yali.

Muwulidde abaweereza bangi nga beekwasa obusonga-songa ku kuzannya entambi, naye abasinga bonna bagamba nti: “Nnabbi teyagambako kuzannya ntambi mu kkanisa.”

Nabbi yagamba nti Lakabu yafuula amaka ge ekkanisa, era ekkanisa ye n’ezannya Entambi. Era olw’okuba nga yazannya Entambi mu kkanisa ye, ye ng’omukyala, n’Ekkanisa ye yonna ey’OLUTAMBI, baali wansi w’Akabonero ne balokoka. Buli kkanisa endala yazikirizibwa.

Ab’oluganda ne bannyinaze, bambi, sigamba nti omusumba tasobola kubuulira Bubaka buno, oba nti kikyamu bw’aba abubuulira. Mu ngeri yange, mbuulira kati nga mpita mu bbaluwa eno, wabula ggulawo omutima gwo owulirize nnabbi by’ayogera ne by’akulabulako. Bw’aba nga omusumba tali mu, oba tajja, kuzannya ntambi mu kkanisa yo ng’ayita mu kw’ekwasa akasonga ak’engeri yonna; kyonna kye kiyinza okuba, okusinziira ku Kigambo, ne bw’ayogera atya nti Nzikiriza Obubaka bw’ekiseera, okusinziira ku nze kye nzikiriza nti Ekigambo kye kyogera, Akabonero, Obubaka bw’ekiseera, buba tebuli mu kusiigibwako.

Ssande eno, nkuyita okujja okuwuliriza wamu ne Branham Tabanako ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), Obubaka: Akabonero 63-0901M . Bw’oba tosobola kutwegattako, zzannya Olutambi lwonna Olw’Akabonero, era okasiigeko.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Olubereberye 4:10
Okuva essuula ey’ekkumi n’ebbiri
Yoswa essuula ey’ekkumi n’ebbiri
Ebikolwa 16:31 / 19:1-7
Abaruumi 8:1
1 Abakkolinso 12:13
Abeefeso 2:12 / 4:30
Abebbulaniya 6:4 / 9:11-14 / 10:26-29 / 11:37 / 12:24 / 13:8, 10-20
Yokaana Omutukuvu 14:12