Obubaka: 65-1212 OKUSSSA EKIMU
Omugole Akakasiddwa Obutalekaawo Kabuuza Ow’Ekigambo Kyokka Omwagalwa,
Nga twebaza nnyo Omwoyo Omutukuvu olw’Okubikkulirwa okwa nnamaddala okw’Ekigambo kyE ekyakasibwa obutalekaawo kabuuza kulw’olwaleero. Bangi baatula nti bakkiriza nti Ow’oluganda Branham ye nnabbi wa Katonda atuukiriza Ebyawandiikibwa ebyamusuubizibwako, naye Okubikkulirwa kw’Ekigambo okwa nnamaddala n’enteekateeka ya Katonda bikwekeddwa okuva gyebali.
Nali buli Bubaka obujjira mu bbaluwa ey’omukwano Omugole bw’awulira, Katonda atukakasa nti tuli mu Kwagala kwE okutuukiridde nga tuwuliriza Ekkubo lyE lye Yatuteerawo kulw’olwaleero, Eddoboozi lya Katonda ku Ntambi.
Era tuteekwa okuMugoberera, y’engeri yokka ey’okuba n’Obulamu Obutaggwaawo. Kale obukulembeze bwa Katonda bwe buno: goberera Ekigambo eky’ekiseera ekyakakasibwa Omwoyo Omutukuvu obutalekaawo kabuuza .
Ekkubo LYOKKA erikutuusa mu bulamu obutaggwaawo ye: Omwoyo Omutukuvu nga Akukulembera okugoberera Ekigambo ekyakakasibwa obutalekaawo kabuuza. Ani alina Ekigambo ekyakakasibwa obutalekaawo kabuuza eky’olwaleero? Katonda Yalonda ani okuvvuunula Ekigambo kyE? Katonda Yagamba ani nti ye Ddoboozi lyE ery’olunaku lwa leero? Katonda yennyini yagamba ani nti ye mukulembeze eyakakasibwa obutalekaawo kabuuza okukulembera Omugole wE leero? Obuweereza?
Nga bwe nnagambye, akawungu akato bwe kaawulira Eddoboozi ly’anaawasa Omugole, kaagenda gyeLiri, Ekigambo kya Katonda ekyafukibwako amafuta, ekyakakasibwa obutalekaawo kabuuza kulw’olunaku olw’oluvannyuma.
Nuuwa ye yali Ekigambo ekyakakasibwa obutalekaawo kabuuza mu kiseera kye.
Musa ye yali Kigambo ekyakakasibwa obutalekaawo kabuuza mu kiseera kye.
Yokaana ye yali Kigambo ekyakakasibwa obutalekaawo kabuuza
Bayinza okuteeka okunyoola oba okuvvuunula okw’engeri yonna kwe baagala ku Kyo, naye:
WILLIAM MARRION BRANHAM YE KIGAMBO KYA KATONDA EKYAKAKASIBWA OBUTALEKAAWO KABUUZA EKY’OLWALEERO!!
Kale obukulembeze bwa Katonda bwe buno: goberera Ekigambo eky’ekiseera ekyakakasibwa Omwoyo Omutukuvu obutalekaawo kabuuza.
Era okuzannya Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza mu kkanisa yo si kye kintu ekisinga obukulu Omugole ky’ayinza okukola? Kikulu nnyo okuwulira eddoboozi eddala?
Kibinja ky’abasajja n’obuweereza bwabwe ky’ekijja okugatta n’okukulembera Omugole? Omugole anaagattibwa obumu okuyita mu ebyo obuweereza bye bwogera? Bonna boogera byanjawulo, kale tusaanidde kugoberera ani?
Enzivuunula yaabwe ey’Obubaka buno y’erisinzirwako okutusalira omusango? Balina Empagi y’Omuliro ng’egenda ekakasa obuweereza bwabwe obutalekaawo kabuuza? Oba okuvvunuula kwabwe okw’Ekigambo ye Abusoluuti wo?
Nabbi yagamba nti Omugole aligattibwa BUMU. Weebuuze, kiki ekinaaleeta obunnabbi buno okutuukirira Mukama alyoke ajje atwale Omugole wE?
Era awo, abantu ba Katonda bwe batandika okuokukuŋŋaana awamu, wabaawo obumu, wabaawo amaanyi. Okiraba? Era buli abantu ba Katonda lwebakuŋŋaanira awamu ddala , nzikiriza nti okuzuukira kujja kubaawo mu kaseera ako. Wajja kubaawo ekiseera eky’okukwakkulibwa Omwoyo Omutukuvu bw’Anaatandika okukakuŋŋaanya awamu. Ba —kajja kuba kabinja akali mu batono, ddala kitegeerekekerawo, wabula wajja kubaawo okukuŋŋaana okw’ekitalo.
Wanaabaawo okukuŋŋaana okw’ekitalo okwetooloola obuweereza bw’omuntu omu, atali nnabbi wa Katonda eyakakasibwa obutalekaawo kabuuza? Kinaaba KIBINJA kya baweereza kubanga abamu ku baweereza ab’omu buweereza obw’emirundi etaano bagamba nti TOSAANIDDE KUKIKOLANGA WADDE OMULUNDI OGUMU okuzannya Eddoboozi lya Katonda mu kkanisa yo, kikyamu. Olwo banaakulembera Omugole?
MBASABA MUNNYAMBE! MUWEEREZA KI GWEMBA NGOBERERA, ANTI NJAGALA NNEEYUNGE MU KUKUŊŊAANA OKWO OKW’EKITALO.
Abamu bagamba nti abaweereza ab’emirundi etaano ab’Ebibwatuka Omusanvu be bajja okutuukiriza Omugole. Abaweereza abamu ab’omu buweereza obw’emirundi etaano bagamba nti ennaku z’obuweereza bw’Omuntu Omu zaggwako. Abaweereza abamu ab’omu buweereza obw’emirundi etaano bagamba nti tulina okuddayo ku Pentekooti. Abamu bagamba nti Obubaka SSI ye Abusoluuti. Abamu bagamba nti bw’ozannya entambi oba okkiririza mu by’obwakatonda obulala. Bonna boogera ekintu kyanjawulo, era BONNA balina enzivuunula ez’enjawulo, ebirowoozo byanjawulo, naye buli omu agamba nti akulemberwa Omwoyo Omutukuvu.
MUWEEREZA KI OW’OMU BUWEEREZA OBW’EMIRUNDI ETAANO GWE NNINA OKUGOBERERA? Kasita mba nga ngoberera omusumba “WANGE” ow’emirundi etaano, nja kuba Omugole? Waliwo “Ebibinja” bingi nnyo eby’enjawulo eby’abaweereza ab’emirundi etaano. Abaweereza bano 20 bakwatagana ne baba n’enkuŋŋaana zaabwe, wabula nga tebakkiriziganya yadde n’akatono n’abaweereza abalala 20 abalina enkuŋŋaana endala…nkuŋŋaana ki ze mba ŋŋendamu nsobole okutuukirizibwa n’okugattibwa awamu…ezimu ku zo…zonna nzigendemu?
Era abantu bakkiriza nti AKAVUYO KANO ke kagenda OKUGATTA AWAMU N’OKUTUUKIRIZA OMUGOLE? Bonna bagamba nti be BAWEEREZA AB’EMIRUNDI ETAANO ABATUUFU ABAAYITWA KATONDA. Naye tebali mu kubakulembera nga babatwala eri OBUKULEMBEZE OBUTUUFU OBW’OMWOYO OMUTUKUVU, BALI MU KUBAKULEMBERA NGA BABATWALA ERI BO BENNYINI N’ERI OBUWEEREZA BWABWE.
Mu kulaba okwange, teweetaaga na kubikkulirwa okumanya nti tekiyinzika kubaawo ebyo OKUGATTA AWAMU oba OKUKULEMBERA Omugole mu bulamba bwE yenna. EKIGAMBO KYOKKA kye kijja okugatta Omugole, nga kiyita mu DDOBOOZI LYA KATONDA MWENE ERIRI KU NTAMBI.
Ab’oluganda ne bannyinaze, wandizuukuka bw’oba ogoberera omusumba ali mu kubuulira obubuulizi n’okujuliza Ekigambo, era ng’ebyo nga bya ttendo era nga by’ebyo BYENNYINI by’asaanye okuba ng’akola, wabula nga tali mu kukugamba, n’ekisinga obukulu, NGA TALI MU KUKIKOLA, ng’ayita mu kuzannya EDDOBOOZI LYA KATONDA KU NTAMBI MU KKANISA YO.
Ow’oluganda Branham yatugamba nti:
Kati, tulina ebiragiro bisatu byokka eby’Obwakatonda eby’omubiri: ekimu ku byo kiri — kwe kussa ekimu, okunaaza ebigere, okubatizibwa mu mazzi. Ebyo bye bintu ebisatu byokka. Okwo kwe kutuukirizibwa, okw’ebisatu, olaba.
Nnandyagadde tubeere n’okusaba kw’Okussa Ekimu n’okunaaza ebigere ku Ssande eno, Mukama ng’Ayagadde. Nga bwetukozenga emabega, mbakubiriza okutandika ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu ez’omu kawungeezi) mu budde obw’omu kitundu ky’olimu. Newankubadde Ow’oluganda Branham yagamba nti abatume buli lwe baakuŋŋaananga baabanga n’Okussa Ekimu, ye yasinga kwagala kukukola mu budde obw’akawungeezi, era n’akuyita Ekyeggulo kya Mukama waffe.
Obubaka n’olukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu bijja kubeera ku Voyisi leediyo, era wagenda kubaawo n’akayungiro k’osobola okukozesa okuwanulayo olutambi olwo ku mutimbagano, kulw’abo abatasobola kweyunga ku Voyisi Leediyo ku Ssande akawungeezi.
Ow’oluganda Joseph Branham