21-0119 Okubikkulirwa, Essuula Ey’okuttaano Ekitundu 1

Obubaka: 61-0611 Okubikkulirwa, Essuula Ey’okuttaano Ekitundu 1

BranhamTabernacle.org

Abatongozeddwa Abaagalwa,

Nga entuuko z’obutiti za kitalo ze tulimu nga Omwoyo Omutukuvu amulisa ekitangaala ku Ekigambo kyE Omugole okuKiraba nga bwe kitabangawo. Ebintu oba oli awo bye tuwulidde, bye tusomyeko era bye tuyizeeko mu buziba obulamu bwaffe bwonna kati bigenda biggibwako ekbikkako  era nga bibikkulwa nga bwe kitabangawo.

Omuntu alindiridde olunaku luno lwennyini enkumi n’enkumi z’emyaka. Bonna beegomba era ne basaba okuwulira n’okulaba ebintu bye tulaba ne bye tuwulira. Ne bannabbi ab’edda beegomba olunaku luno. Nga baayagala okulaba okutuukirizibwa n’okujja kwa Mukama.

N’abayigirizwa ba Yesu, Peetero, Yakobo, ne Yokaana, abasajja abaatambula naYe era abaayogeranga naYe, beegomba nnyo okulaba n’okuwulira byonna ebyali bikwekeddwa. Baasaba Kibikkulwe era kyolesebwe mu lunaku lwabwe, mu kiseera kyabwe.

Okuyita mu mirembe gy’Ekkanisa Omusanvu gyonna, buli mubaka, Pawulo, Martin, ne Luther, baayagala okumanya ebyama byonna ebyali bikwekeddwa. Okuyaayaana kwabwe kwali kulaba okutuukirizibwa kw’Ekigambo nga kubaawo mu kiseera ky’obulamu bwabwe ku nsi. Baayagala okulaba okujja kwa Mukama.

Katonda yalina enteekateeka. Katonda yalina ekiseera. Katonda yalina abantu be yali alinze…FFE. Okuyita mu mirembe gyonna, bonna balemererwanga. Naye Yakimanya, olw’okumanyirawo KwE, nti wajja kubaawo abantu: Omugole-Ekigambo wE ow’ekitiibwa, atuukiridde. TEBAJJA KUMULEMERERWA. Tebajja kwekkiriranya ku kigambo KIMU. Bajja kuba Mugole-EKigambo wE embeerera omulongoofu.

Kaakano kye kiseera. Zino z’entuuko. Ye ffe balonde abo b’alindiridde okuva Adamu lwe yagwa n’afiirwa eddembe lye. YE FFE MUGOLE WE.

Katonda yalengezaayo Yokaana okulaba byonna ebyali bigenda okubaawo, wabula teyamanya makulu gaabyo byonna. Bwe yayitibwa, ya… yalaba mu mukono ogwa ddyo ogw’oyo eyali atudde ku nnamulondo ekitabo ekiwandiikiddwa munda, ekisibiddwa ennyo obubonero omusanvu, naye nga tewali asaanidde okwanjuluza ekitabo ekyo.

John yaleekaana nnyo n’akaaba nnyo nga byonna birugenze, tewali ssuubi. Naye Mukama atenderezebwe, omu ku bakadde n’amugamba nti, “Tokaaba, kubanga laba, Empologoma ey’ekika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, ewangudde okwanjuluza ekitabo, n’okusumulula envumbo zaakyo omusanvu”.

Ekyo kye kyali ekiseera. Ezo ze zaali entuuko. Oyo ye omusajja Katonda gwe yali alonze okuwandiika byonna bye yalaba. Wabula era, Kyali tekimanyiddwa makulu gaakyo gonna.

Katonda yali alindirira era ng’Alindirira ekibya kye kye Yalonda, omubaka we malayika ow’omusanvu, okujja ku nsi, asobole okukozesa eddoboozi lye okubeera Eddoboozi lyE, eri Omugole wE. Yayagala Ayogere kamwa ku kutu waleme kubaawo KUTEGEERWA BUBI. Ye yennyini, Yayagala okwogera n’okubikkula ebyama byE byonna eri Omugole wE omwagalwa, eyategekerwawo, atuukiridde, swiitimutima…FFE!!

Nga Yeegombyenga okutubuulira ebintu bino byonna ebyewuunyisa. Ng’omusajja bw’agamba mukyala we emirundi n’emirundi nti amwagala, era nga takoowa kukiwulira, Ayagala nnyo okutugamba enfunda n’enfunda nti Atwagala, Yatulonda, Yatulindirira, era kati Ajja okutucima.

Yamanya nga bwe tunaayagala okuMuwulira ng’Akyogera emirundi n’emirundi, bw’Atyo Yasiima Eddoboozi lye ne Likwatibwa, bw’Atyo Omugole We asobolenga ‘Okunyiga Zannya’ olunaku lwonna, buli lunaku, n’okuwulira Ekigambo kyE nga kijjuza emitima gyabwe.

Omugole wE omwagalwa yeetegese ng’alya Ekigambo kye. Tetujja kuwuliriza kintu kirala kyonna, Eddoboozi lye lyokka. Emmere gyetusobola okugaaya n’etukka bulungi munda ky’Ekigambo kyE Ekirongoofu ekituweereddwa.

Tuli wansi w’okusuubira okunene. Tukiwulira muli munda mu mmeeme zaffe. Ajja. Tuwulira obuyimba bw’embaga nga bukuba. Omugole yetegeeka okukumba nga ayita mu lukuubo. Buli omu ayimirire, Omugole ajja okubeera awamu n’Omusajja wE. Byonna biwedde okutegekebwa. Akaseera katuuse.

Atwagala nnyo ekitageraageranyizibwa ku mulala yenna. Tumwagala nnyo ekitageraageranyizibwa ku mulala yenna. Tugenda kubeera Omu naYe, n’abo bonna be twagala, obutaggwawo bwonna.

Oyitibwa okujja okwetegekera embaga wamu naffe Ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga libikkula Okubikkulirwa, Essuula ey’okutaano Ekitundu I 61-0611 .

Owol. Joseph Branham