Obubaka: 60-1208 Omulembe Gw’Ekkania Ey’Omusuwatira
- 24-1110 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira
- 23-0521 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira
- 20-1129 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira
- 19-0210 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira
- 16-0323 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira
Omugole Ayakiddwako Ekitangaala Omwagalwa,
Engeri Mukama gy’Atubikkulira nti okuyita mu mirembe gyonna bulijjo wabaddengawo akabinja akatono ennyo akasigaddenga n’Ekigambo kye. Tebaagwa mu mutego gw’omulabe ogw’obulimba, wabula baasigala nga beesigwa eri Ekigambo eky’omulembe gwabwe.
Naye tewabangawo kiseera, newankubadde ekibinja ky’abantu, Mukama kye Yenyumirizzaamu, oba kye Yeesize ennyo okukirawo, ku ffe. Yeffe Mugole We Omulonde atajja, era n’ekisinga obukulu, ATASOBOLA, kulimbibwa; kubanga tuwulira Eddoboozi ly’Omusumba ne tumugoberera.
Ali mu kutulaga nti okuyita mu mirembe gyonna wabaddengawo ebibinja by’abantu bibiri, byombi nga birangirira okubikkulirwa kwabyo okuva eri Katonda n’enkolagana yaabyo ne Katonda. Wabula Yatugamba nti, Mukama amanyi ababe. Alondoola ebirowoozo byaffe. Amanyi ebiri mu mitima gyaffe. Alaba emirimu gyaffe nga tusigala ne nnabbi n’Ekigambo kye, nga bino kwe kwolesebwa okufuutifuuti okw’ebyo ebiri munda mu ffe . Ebigendererwa byaffe, ebiruubirirwa byaffe bimanyibwa gy’Ali nga bw’Atunuulira buli kikolwa kyaffe.
Atugamba nti ebisuubizo byonna byeyawa buli mulembe, BYAFFE. Atulaba ffe abasigala nga tukola emirimu gye n’obwesigwa okutuusa ku nkomerero. ATUWADDE obuyinza ku mawanga. Atugamba nti tuli bafuzi aba amaanyi, ab’obusobozi, abatawetebwa mitawaana abasobola okugumira embeera yonna n’amaanyi mangi . N’omulabe asinga obumalirivu amaanyi gajja kumuggwa bwe kiba kyetaagisa. Engeri gyetunaayolesaamu enfuga yaffe olw’amaanyi ge ejja kuba nga eyagala kutuukagana n’ey’Omwana We yennyini. EKITIIBWA!!
Tulabyeko ku buziba bwa Katonda mu bulamu bwaffe. Bwe bumanyirivu omuntu bw’afuna nga sekinnoomu obw’Omwoyo wa Katonda ng’Abeera mu ffe. Ebirowoozo byaffe byakibwako ekitangaala ekiva mu magezi n’okumanya kwa Katonda okuyita mu Kigambo kye.
Tugenda buli Omugole omusajja w’Abeera. Tetujja kulekebwa Ye. Tetujja kuva ku mabbali ge. Tujja kugabana naYe nnamulondo. Tujja kutikkirwa engule y’ekitiibwa kyE n’ettendo Lye.
Atubikkulidde engeri omulabe gy’abadde alimba mu buli mulembe n’engeri gye kiri ekikulu ennyo kityo okusigala N’EKIGAMBO KYE NNAKABALA. Tewali Kigambo na kimu kiyinza kukyusibwa. Buli mulembe gwayongerako era ne gutoolako, okuyita mu kuteeka okuvvuunula kwabwe ku Kigambo nnakabala; era ne baba nga babuze butadda okuyita mu kukola ekyo.
Mu Mulembe gw’Ekkanisa ya Suwaatira, omwoyo ogwo ogw’obulimba gwayogera nga guyita mu Paapa w’e Rooma ne gukyusa Ekigambo kye. N’akifuula okuba “omutabaganya omu wakati wa Katonda n’omuntu (so si n’abantu).” Kale kaakano ye mutabaganya wakati w’omutabaganya n’abantu. Na bw’etyo, enkola ya Katonda ey’emirimu yonna yakyusibwa; si na kukyusa ekigambo kimu, wabula na kukyusa ENNUKUTA EMU. Sitaani yali akyusizza “E” n’agifuula “A”.
Buli Kigambo kiriramulwa okusinziira ku Kigambo Kye nnakabala ekyogerwa ku ntambi. N’olwekyo, Omugole We ATEEKWA okusigala n’entambi. Ng’omulabe agezaako okumalamu abantu amaanyi ng’ayita mu kubawa enkola y’emirimu ey’enjawulo, ekirowoozo eky’enjawulo, ennukuta ey’enjawulo, Omugole ajja KUSIGALA N’EKIGAMBO NNAKABALA.
Mu buli mulembe Yesu Yeeragira wamu n’omubaka w’omulembe ogwo. Bafuna okuva gy’ali okubikkulirwa ku Kigambo eky’omulembe gyabwe. Okubikkulirwa kw’ekigambo kuno kuggya abalonde ba Katonda mu nsi ne kubaleeta mu bumu obujjuvu ne Yesu Kristo .
Ayise era n’Ayawula abasajja bangi okubeera omukisa eri ekkanisa, naye Alinayo mpozzi OMUBAKA OMU YEKKA gwe Yayita OKUKULEMBERA ekkanisa Ye ku buyinza bw’Omwoyo we Omutukuvu. Waliwo EDDOBOOZI LIMU eririna Bw’Ati Bw’Ayogera Mukama. Waliwo EDDOBOZI LIMU lye Yagamba nti ly’Alisinziirako okutusalira omusango. Waliwo EDDOBOZI LIMU Omugole we lye bataddeko ekifo kyabwe gyebanakomekkerera mu butaggwawo. EDDOBOZI ERYO LYE DDOBOZI LYA KATONDA KU NTAMBI.
Omugole, okwagala kwa Katonda ku lwaffe kwe Kutuukirizibwa, era mu maaso ge, TUTUUKIRIDDE. Era okutuukirizibwa okwo kwe kugumiikiriza, okulindirira Katonda… n’okulinda Katonda. Atugamba nti gwe mutendera oguyitibwamu ogw’okukuza empisa zaffe. Tuyinza okuba n’ebigezo bingi, okugezesebwa, n’ebibonyoobonyo, naye obwesigwa bwo eri Ekigambo Kye buleeta obugumiikiriza mu ffe tusobole okuba abatuukirivu era abajjuvu, nga tetulina bitatuuka.
Tetujja kwerabira OKUKKIRIZA kujja na kuwulira, okuwulira Ekigambo, n’Ekigambo kijja eri nnabbi.
Jjangu owulire essanyu erisinga obuyitirivu mu bulamu bw’otuula wamu naffe mu bifo eby’omu Ggulu nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lituleetera Ekigambo ku: Omulembe Gw’Ekkanisa ya Suwaatira 60-1208 , Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda).
Owol. Joseph Branham