Obubaka: 64-0823M Ebibuuzo N’eby’okuddamu
- 26-0125 Ebibuuzo N’eby’okuddamu
- 24-0426 Ebibuuzo N’eby’okuddamu
- 22-1002 Ebibuuzo N’eby’okuddamu
- 18-0204 Ebibuuzo N’eby’okuddamu
Ekuŋŋaniro Lya Branham Abaagalwa,
Okulamusa eri Omugole wa Yesu Kristo okuva mu nsi yonna, abakkiriza nti Ekuŋŋaniro lya Branham, Eddoboozi lya Katonda, ye kkanisa yaabwe ey’awaka gye baliisibwa mu by’omwoyo Emanu eyakwekebwa eyaterekebwa n’okukuumibwa Omugole wa Kristo.
Wano we nsinziira; kino kye kitebe kyange; wano we tusimbye. Kati, ekyo kikuumire mu birowoozo ne bwe kiba ki ekibaawo. Kati, bw’oba n’amagezi, ojja kubaako ky’okwata. Ne bwe kiba ki ekibaawo, kino kye kitebe kyaffe, wano wennyini!
Bulijjo abakkiriza bangi babadde tebategeera bulungi oba bateeka endowooza yaabwe oba okutaputa kwabwe ku nabbi bye yayogera wano, naye ng’agamba Omugole butereevu nti, “bw’oba n’amagezi, ojja kukitegeera, kino kye kitebe kyaffe, wano wennyini!”
Ekyo yali ategeeza ki?
Ow’oluganda Branham bwe yali wano, bangi baamutegeera bubi ne balowooza nti Omugole yalina okugenda e Arizona n’amugoberera eyo, okubeera mu Kukwakulibwa. Ow’oluganda Branham yabaddamu bulungi nti: MUSIGALE WANO, KINO KYE KIFO.
Ekibiina ekinene kyonna ku bo kyasimbula ne kikwata kkubo eryo, era nga baagala okugenda eno era bakole ekyo, nga mmaze okubagamba okusigalayo. Musigale awo, Musigale wano wennyini; kino kye kifo.
Abantu baasitula okuva buli wamu okwetoloola Amerika okugenda e Arizona, naye yabagamba bulungi nti: Musigale wano wennyini, kino kye kifo!
Musigale mu Jeffersonville? Ekyo kye yayogera!
Okubikkulirwa kwange kuli nti, yali Katonda, ng’ayogera ng’ayita mu nnabbi we era ng’agamba abantu nti, “MUSIGLE N’ETAABI.” Ekyo kye KIFO!
Yatabulwa nnyo n’agamba nti alina okubaako ky’akolera abantu bo bonna. Kiki ky’alina okukola? Kkanisa ki gye yandibasindise mu? Bagende wa? Ow’oluganda Branham yagamba ki kyatekwa okukola?
Kale kati, nnina okubakomyawo abaana wano okufuna eky’okulya. Bali wansi eno mu ddungu nga bafa enjala.
Teyagambye nti bajja kwetaaga okugenda mu kkanisa y’omu kitundu era bafuna ebyo buggaga ebitonotono bwe bayinza okubaliisa. Yagamba nti alina OKUBAKOMYAWO WANO okufuna eky’okulya, oba si ekyo BAJJA KUFA ENJALA.
OKUBIKULIRWA KWANGE, BAMIKWANO.
Kati, obutaddamu kumutegeera bubi, oba okwogera ekintu ky’atayogera, ng’amugamba nti, “Ow’oluganda Branham yali ayagala buli mukkiriza asenguke era agende e Jeffersonville abeere Omugole.” Ow’oluganda Branham abantu bonna yali abamanyi, era BULI mukkiriza okuva mu nsi yonna, yali tasobola kusenguka na kubeera mu Jeffersonville. Ekyo kyandibadde tekisoboka. Kale yali ategeeza ki? Yali AGATTA Omugole wa Kristo okwetooloola ENTAMBI ezaali zikwatiddwa era nga ziterekeddwa Omugole Okulya.
Obubaka buno, Eddoboozi lino, kye Kigambo kya Katonda Ekyayogerwa olwaleero era Bujja kugatta n’okutuukiriza Omugole wa Yesu Kristo.
Ennyama ensu empungu gyelya. Kati, empungu etwalibwa mu Baibuli, okuba nnabbi. Nabbi ye mpungu. Katonda — Katonda yeeyita Empungu, era tuli “bbuwungu” olwo, aba—abakkiriza. Olaba? Era ennyama ensu yali ki gyebalya ko? Kye Kigambo. Wonna Ekigambo we kiri, obutonde obw’amazima obw’ekinyonyi bujja kweraga.
Ekigambo ekirongoofu, ekikakasibwa, ekitaliiko butategeerekeka, Bw’atyi bw’ayogera Mukama Ekigambo ekya leero? Waliwo ekifo kimu kyokka, Entambi.
Nsobola okugenda mu maaso n’okugenda mu maaso, okujuliza ku kujuliza, naye Obubaka buno n’ebyo Ow’oluganda Branham bye yayogera bitwala Okubikkulirwa okuva eri Katonda. Tulina okusoma wakati w’ennyiriri nga tuyita mu kubikkulirwa, naye yogera bye yayogera. Kubanga Kye KIGAMBO EKIRONGOOFU.
Ebibuuzo n’Eby’okuddamu kulwa leero ne bye NKKIRIZA.
Leero, abaweereza bangi bagamba abantu nti olw’okuba n’Ekkanisa eye waka tuvudde mu Kigambo n’ebyo Ow’oluganda Branham bye yagamba okukola. Bawulira nti tulina okugenda mu kye bayita ne kyebalowooza okuba ekkanisa.
Mazima ddala waliwo ebigambo bingi nnyo ebijuliziddwa Ow’oluganda Branham mw’ayogelera obulungi kino.
Kati, genda mu kkanisa ennungi ey’enjiri ezijjuvu weffunira ekkanisa eye waka.
Era ekyo nkikkiriza n’omutima gwange gwonna, kubanga yayogera bw’atyo. Naye nze nzikiriza nti ekyo tukikola nga TUBEERA NE KKANISA EYO LUTAMBI EYE WAKA. Ekifo kyaffe si kye kikulu eri Mukama. Ekyo kizimbe kyokka. Naye omulimu gwaffe eri Mukama kwe kusigala n’Ekigambo kye, SSI KIFO OBA EKIZIMBE. Ekifo tekiwonya na kutuukiriza Mugole, EKIGAMBO KYEKIKIKOLA.
Singa ngenda mu kizimbe ky’ekkanisa, naye nga beerabira EKIKULU: okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Banyiga Zzannya, ne bakikyusa nga bawuliriza baweereza BOKKA nga babuulira Obubaka, ekyo kinaamatiza ddala n’okuliisa emmeeme yo? Kiyinza okumatiza emmeeme yo muganda wange ne mwannyinaze naye tekijja kumatiza Mugole.
Ka nnyingizeewo wano nga ngamba nti waliwo enkumi n’enkumi z’abantu abatalina kizimbe kya kkanisa gye bagenda. Babuze? Bwe baba tebalina musumba oba kkanisa, kitegeeza nti tebasobola kubeera Mugole? Bw’oba obeera mu mayiro 100 okuva ku kizimbe ky’ekkanisa, olina okugenda mu kkanisa eyo? Naye bwe mba mbeera ewala, silina kukikola? Nnina okweyunga ku mukutu gw’omubuulizi, naye sisobola kweyunga ku mukutu gwe entambi? Ekizimbe ekikwatikako kye kyo nabbi ky’agamba nti kye kintu ekisinga obukulu kye tulina okugendamu?
Nabbi yali ayagala kuleeta wa Omugole?
Bw’oba tosobola kujja wano ku kkuŋŋaaniro, funa ekkanisa awalala; gyiba ogenda.
Nate, asoose okulonda okusindika wa abantu? Eri kkuŋŋaaniro lya Branham, Ekigambo, etambi. Ekyo Katonda ky’awadde Omugole we okukola mu kiseera kino eky’enkomerero, era tukikola buli lunaku NA buli Ssande.
Kale sakitegera bubi. SSIGAMBA nti oteekwa kweyunga ku mukutu gwe entambi awamu ne kkuŋŋaaniro lya Branham okubeera Omugole. SSIGAMBA nti tolina kugenda mu kkanisa. SSIGAMBA nti tosobola kuwuliriza baweereza. Bw’oba okkiririza mu ekyo, oba ovudde ku Kigambo. Nze ngamba okuwulira Eddoboozi lya Katonda ku ntambi lye ddoboozi erisinga obukulu ly’OLINA OKUWULIRA, era nzikiriza nti buli musumba alina Okuzzannya Eddoboozi eryo, entambi, mu masinzizo gaabwe. Naye be kwasiza buli nsonga eriwo OBUTAZZANNYA NTAMBI. Bwe kiba nti eyo ye kkanisa yo, oba tolya ku Kigambo.
Kino kyeyoleka bulungi nti kye yali tayagala kubaawo era abantu kye baali bakola.
Era ggwe genda mu kkanisa; totuula waka, ogende okuvuba, n’okuyigga, n’ebintu ng’ebyo ku Ssande.
Ffe si bwe tuli. Tweegatta okwetoloola Ku ekintu kyokka ekigenda okugatta Omugole, Obubaka Buno, Eddoboozi Lino.
Omulundi omulala, ddala nkkiririza mu kugenda ku kkanisa. Amakanisa mangi okwetoloola ensi yonna agakulembeza entambi mu bituuti byabwe, Mukama Atenderezebwa. Nzikiriza nti olina okusigala waka oba toli Mugole? NEDDA, NEDDA, NEDDA….Sikirowoozangako, sikikkirizangako. Njagala kyokka gwe o NNYIGA ZZANNYA nebwoba oli wa oba kkanisa ki gyogenda mu.
Bw’oba tolina Kubikkulirwa kw’ebyo by’ayogera, olwo oyinza okw’ogeera mu bulambulukufu nti, “Silina kuwuliriza Ow’oluganda Branham oba n’okukkiriziganya n’ebyo byonna by’ayogera.Yatuuka n’okugamba bw’atyo, waliwo abasajja abalala bangi nnyo abayitibwa Katonda.”
Genda mu maaso. Twetegereza wano, agamba nti, “Tugende mu kkanisa endala etakkiriziganya naawe?” Mazima, Siri…Si nze jjinja lyokka ku lubalama lwa mazzi, omanyi. Waliwo—waliwo abasajja abalala abatya Katonda buli wamu; Nsuubira nti ndi omu ku bo.
Eddoboozi lya Katonda ku tambi ke KAYINJA KANGE, OLWAZI LWANGE. Lino lye ddoboozi lye njagala okuwulira ly’Eddoboozi lye njagala Ekkuŋŋaaniro lya Branham liwulire.
Bwoba oyagala okutwegattako, mwaniriziddwa nnyo baganda bange. Twegatteko ku Ssande ku ssaawa 12:00 ez’omutuutu, obudde bwa Jeffersonville, nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera n’okuddamu ebibuuzo bingi by’oyinza okuba nabyo ku mutima gwo. Era owuliriza wekka oba nga ebintu bye njogedde mu bbaluwa eno biva ku Kigambo era nga ntegedde bubi Katonda by’ayogera eri Omugole we.
By’ayogera ku ntambi biri bw’ati Bw’ayogera Mukama. Si bye njogera nti bw’ayogera, oba bye nzikiriza nti byayogera, era Katonda YEKKA y’asobola okukuwa Okubikkulirwa okwa nnamaddala.
64-0823M – “Ebibuuzo N’eby’okuddamu #1
Ow’oluganda. Joseph Branham, omuwandiisi w’ebitabo