25-1221 Okugenda Okusukka Olusiisira

Obubaka: 64-0719E Okugenda Okusukka Olusiisira

BranhamTabernacle.org

Ow’omukwano Omwagalwa,

Katonda takyuka. Ekigambo kye tekikyuka. Pulogulaamu ye tekyuka. Era Omugole we takyuka, tujja kusigala n’Ekigambo. Kitusingira obulamu gye tuli; Ye nsulo y’Amazzi Amalamu.

Ekintu kyokka kye twalagirwa okukola kwe kuwulira Ekigambo, nga rino lye ddoboozi lya Katonda eryakakasibwa nerikwatibwa ne liteekebwa ku ntambi. Ekintu kyokka kye tulaba si kiyiiye, si kibiina kya bassajjaa, tetulaba kirala okuggyako Yesu, era ye kye Kigambo ekyayaabala omubiri mu kiseera kyaffe.

Katonda ali mu lusiisira lwaffe era tuli mu kkubo erigenda mu Kitiibwa nga tukulemberwa Empagi y’Omuliro, nga ye Katonda yennyini ayogera ng’ayita mu nnabbi we eyakakasibwa owa Malaki 4. Tulya Manu eyo Eyakwekebwa, amazzi amalamu Omugole gwokka ng’ayinza okulya.

Katonda takyusa makubo ge, era ne sitaani takyusa makubo ge. Kye yakola emyaka 2000 egiyise, Era akola ekintu kye kimu leero, okuggyako nti yeyongedde bukujjukujju.

Kati, oluvannyuma lw’emyaka ebikumi bina, olunaku lumu Katonda yatambulira ddala wakati waabwe. Okusinziira ku Byawandiikibwa, Yalina okwambala omubiri n’okubeera mu bo. “Erinnya lye liriyitibwa Ateesa ebigambo, Omulangira ow’Emirembe, Katonda Omuyinza, Kitaffe Ataggwaawo.” Era bwe yajja mu bantu, ne bagamba nti, “Tetujja kuba na Musajja ono okutufuga!…”

Okusinziira ku Byawandiikibwa, Omwana w’Omuntu yajja omulundi omulala n’abeera omulamu ne yeeyoleka mu mubiri gw’omuntu, era n’akola, era boogera ekintu kye kimu. Mazima ddala, bajuliza era ne babuulira Obubaka, naye tebajja ku kkiriza musajja oyo kubafuga.

Kino kyennyini kye kigenda mu maaso:

Era nga bwe kyali mu kiseera ekyo, kati bwe kiri! Baibuli yagamba nti ekkanisa y’e Laodikiya yamuteeka ebweru, era yali akonkona, ng’agezaako okuyingira Waliwo ekikyamu awantu. Kati, lwaki? Baali beekoledde ensiisira yaabwe.

Omusajja asobola okugamba nti, “Nkimanyi era nzikiriza nti Ow’oluganda Branham yali nnabbi. Yali malayika ow’omusanvu. Ye yali Eriya. Tukkiriza Obubaka buno. Oluvannyuma nnanoonya Akasongasonga, kakibeere kyonna kye kiri, obutazannya Ddoboozi lya Katonda LYOKKA eryakakasibwa mu kkanisa yaabwe… Waliwo ekikyamu awantu. Kati, lwaki? Baali bakoze olusiisira lw’abwe.

Bino byogera si kwawula kkanisa, Ekigambo kya Katonda kye kikikola. Njagala twegatte wamu, tubeere EKITUNDU KIMU ne bannaffe era naye, naye waliwo engeri emu yokka ey’okukola ekyo: kwe kwetoloola Eddoboozi lya Katonda ku ntambi . Eyo ye BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA YOKKA eya Katonda.

Katonda atubikkulidde ekkubo lye erituukiridde. Kya kitiibwa nnyo ate nga kyangu nnyo. Buli Bubaka bwetuwulira nga atugamba, atugumya, nga atuzzaamu amaanyi, nti FFE MUGOLE WE. Tuli mu kwagala kwe okutuukiridde. Twetegese nga TUMUWULIRA.

Obubaka buno buppya nnyo osinga olupapula lw’amawulire olw’enkya Tuli bunnabbi obutuukirizibwa. Ffe tuli Kigambo ekyayolesebwa. Katonda atukakasa buli Bubaka bwe tuwulira nti leero, Ekyawandiikibwa kino kituukiridde.

Wandibaawo abamu ebweru okwetoloola amawanga, okwetoloola ensi yonna, nti olutambi luno lwe lunasisinkana mu maka gaabwe oba mu Kkanisa gaabwe. Twandisabye, Mukama, nti ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso, ku —ku…oba olutambi nga luzzannyibwa, oba ekifo kyonna kye tuyinza okuba mu, oba —oba embeera yonna, Katonda omukulu ow’omu Ggulu aseemu ekitiibwa obwesimbu buno obw’emitima gyaffe enkya ya leero, era awonye abali mu bwetaavu, abawe bye beetaaga.

Lindako katono….Eddoboozi lya Katonda eri ensi lyakamala kulagula ki ne ligamba ki?….abantu bandibadde bazzannya entambi mu maka gaabwe oba mu makkanisa gaabwe.

Naye tuvumirirwa n’okunenyazabwa nga bagamba nti TETUYINZA kuba na Kkanisa Ey’ewaka Eyolutambi? Ow’oluganda Branham tagambangako kuzzannya ntambi mu MAKKANISA gammwe?

EKITIIBWA KIDDE ERI KATONDA, KIWULIRE, KISOMA,KIRI BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA. Era teyakoma ku kukyogera, wabula nga muzzannya entambi mu maka gammwe ne mu makanisa gammwe, Katonda omukulu ow’eggulu ajja kussamu ekitiibwa obwesimbu bw’emitima gyaffe era awonye abali mu bwetaavu era atuwe KYONNA KYE TWEETAAGA!!

Kino ekinokwoddwa ekimu KIKAKASA nti abantu bawuliriza basumba baabwe era TE BAWULIRA KIGAMBO, oba bandibasomoozezza ne babakakasiza mu KIGAMBO nti tuli mu KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE, era kiri mu KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE OKU ZZANNYA ENTAMBI MU KKANISA ZAABWE.

Sikyusakyusa oba kujuliza Kigambo bubi nga bangi bwe bagamba nti bwe nkola. Kiwulire era okisome ggwe kennyini. Kyangu nnyo era kituukiridde nnyo, NNYIGA BUNNYIZI ZZANNYA owulire Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naawe. Ogambe nti “Amiina” ku buli Kigambo ky’owulira. Tolina na kukitegeera, olina okukkiriza.

“Njagala kugenda nga sirina olusiisira. Ne bwe kinaaba kinfiiriza ki, nja kutwala omusaalaba gwange ngugumire buli lunaku. Nja kusukka olusiisira. Abantu ne bwe banaayogera ki, njagala kumugoberera wabweru w’olusiisira. Ndi mwetegefu okugenda.”

Jjangu osukkulume ku kiziyiza ky’eddoboozi mu Kigambo kya Katonda naffe ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 P.M., obudde bwa Jeffersonville. Tekiriiko kkomo Katonda ky’asobola era ky’agenda okukola n’omntu omwetegefu okusukka olusiisira lw’omuntu.

Ow’oluganda. Joseph Branham

Obubaka: 64-0719E Okusukka Olusiisira

Ebyawandiikibwa: Abebbulaniya 13:10-14 / Matayo 17:4-8