25-0803 Ebintu Ebirina Okubeerawo

Obubaka: 65-1205 Ebintu Ebirina Okubeerawo

BranhamTabernacle.org

Ebikula Bya Katonda Abaagalwa,

Buli Kigambo ekyayogerwa mu Bubaka buno bbaluwa ya mukwano eri Omugole wE. Okulowooza nti Kitaffe ali mu Ggulu atwagala nnyo, nti teyakoma bukomi ku kwagala tusome Kigambo kyE, naye Yayagala tuwulire Eddoboozi lyE nga Lyogera era emitima gyaffe asobole okutugamba:; “Mmwe lugero lwaNge olulamu, ekikula kyange ekiramu, kye nsobola okwolesa eri ensi.”

Olwo okulowooza nti oluvannyuma lw’okwewaayo kwe kwonna kwe yakola wano ku nsi, obulamu bwe Yabeeramu, ekkubo lye Yatambuliramu, yasaba ekintu kimu kyokka:

“Nze gye ndi, nabo babeere eyo.” Yasaba kussa kimu naffe, ekyo kye kintu kyokka kye yasaba Kitaffe mu ssaala, okuba naawe ng’omubeesa-beesa wE oba munne bwe bayita awamu emirembe gyonna.

Gye ndi, “ Ekigambo kyE,” naffe gyetulina okuba, okufuna okussa ekimu kwE, okubeesa-beesa kwE, emirembe gyonna. N’olwekyo, tulina okutambulira ku buli Kigambo kye Yayogera naffe ku ntambi tubeere Omugole w’Ekigambo kyE Embeerera, ekitufuula ekitundu ku Omugole Omusajja.

Okwo kwe kubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu ssaawa eno.; Si ekyo kyeYali mu kiseera ekirala, wabula ky’Ali KATI. Ekigambo kya leero. Awo Katonda w’Ali leero. Okwo kwe Kubikkulirwa okw’olwaleero. Kaakano kuli mu kukula munda mu Mugole, nga kutubumba okudda mu kigera ekijjuvu eky’abaana ab’obulenzi n’abawala abatuukiridde.

Tweraba mu Kigambo kyE. Tumanyi kye tuli. Tukimanyi nti tuli mu nteekateeka yE. Lino lye Kkubo lya Katonda lye Yateekawo kulw’olwaleero. Tukimanyi nti Okukwakkulibwa kuli kumpi. Mu bbanga ttono abaagalwa baffe bajja kulabika. Olwo tujja kumanya nti:; Tutuuse. Ffenna tugenda mu Ggulu…weewaawo, Eggulu, ekifo ekya nnamaddala era nga kino.

Tugenda mu kifo kya nnamaddala gye tugenda okukola ebintu, gye tugenda okubeera. Tugenda kukola. Tugenda kunyumirwa. Tugenda kuwangaalirayo. Tugenda mu Bulamu, mu Bulamu Obutaggwaawo obwa nnamaddala. Tugenda mu Ggulu ekifo ekirungi, mu lusuku ekifo ekirungi. Ddala nga Adamu ne Kaawa bwe baakolanga emirimu, ne bawangaalirayo, ne balya, ne banyumirwa, mu lusuku Adeni nga ekibi tekinnayingirawo, tuli mu kkubo lyaffe nga tuddayo eyo wennyini nate, nga tuddayo bulungi, bulungi dddala. Adamu eyasooka, okuyita mu kibi, yatufulumyayo ne tudda ebweru. Adamu ow’okubiri, okuyita mu butuukirivu, Atukomyawo nate; Atuwa obutuukirivu n’Atuzzaayo munda.

Omuntu yenna ayinza atya okuteeka mu bigambo kino kye kitegeeza gye tuli? Obwannamaddala obw’okuba nga tugenda mu lusuku olulungi gyetubeera abalamu obutaggwawo bwonna nga tuli wamu. Nga tewakyali nnaku, nga tewakyali bulumi oba ennaku, wabula okutuukirizibwa kwokka okwongezebwa ku kutuukirizibwa.

Emitima gyaffe gijaganya, emmeembe zaffe ziri ku muliro munda mu ffe. Sitaani yeeyongera okututeekako akazito buli lunaku, naye era tusanyuka . Lwaki:

● TUMANYI, FFE B’ANI.
● TUKIMANYI, TETUMUYIYE, ERA TETULI-MUYIWA.
● TUKIMANYI, TULI MU KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE.
● TUKIMANYI, ATUWADDE OKUBIKKULIRWA OKW’EKIGAMBO KYE OKUTUUFU.

Ow’oluganda Yusufu, buli wiiki owandiika ekintu kye kimu. EKITIIBWA, nja kukiwandiika buli wiiki kubanga Ayagala omanye nga bw’Akwagala. Kiki ky’oli. Wa gy’ogenda. Ekifaananyi ekirimu ekizikiza kati kiri mu kufuuka ekifaananyi ekya nnamaddala eky’oku lupapula. Ye ggwe Kigambo nga kifuuka Ekigambo.

Ensi abaagalwa, mujje mutwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), ku mukutu ogweyungibwako, si lwakuba nti “nze” nkuyita, wabula lwakuba nti “YE” akuyita. Si lwakuba nti “Nze” nalonze olutambi, wabula okuwulira Ekigambo nga oli wamu n’ekitundu ky’Omugole okwetoloola ensi yonna mu kiseera kye kimu.

Tuyinza okukizuula, nti kisoboka Omugole okuwulira Eddoboozi lya Katonda, okwetoloola ensi yonna, bonna mu kiseera kyennyini? Oyo alina okuba nga Katonda. Katonda Yaleetera nnabbi okukikola nga malayika wE ali wano ku nsi. Yakubiriza Omugole okwegatta mu kusaba, BONNA MU BUDDE BW’E JEFFERSONVILLE BWE BUMU, 9:00, 12;00, 3:00;, kisingawo kitya kati, nti Omugole asobola okwegatta nga OMU okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera nabo bonna mu kiseera kye kimu?

Owol. Joseph Branham

Obubaka: Ebintu Ebirina Okubeera 65-1205

Ebyawandiikibwa:
Omut. Matayo 22:1-14
Omut. Yokaana 14:1-7
Abebbulaniya 7:1-10