25-0615 Okwegatta Kw’Omugole Wa Kristo Okutalabika

Obubaka: 65-1125 Okwegatta Kw’Omugole Wa Kristo Okutalabika

BranhamTabernacle.org

Mukyala wa Katonda Omulonde Omwagalwa,

Tewali ngeri yonna ya kukyebalama, mmwe ndaga-butonde ya Katonda ey’Omwoyo, okulagibwa kw’ebikula by’ebirowoozo byE, era mwali mu Ye nga ensi tennatondebwa.

Tetusobola kweyongerayo, tufaananira ddala empeke yennyini eyagenda mu ttaka. Yeffe Yesu y’omu, mu kifaananyi ky’Omugole, nga tulina amaanyi ge gamu, Ekkanisa y’emu, Ekigambo kye kimu nga kiwangaalira era nga kituula mu ffe nga kiri mu kwebumba okudda mu kikula eky’omutwe, NGA TWETEGEKEDDE OKUKWAKKULIBWA.

Yatugamba nti twayawukanyizibwa ne tuva mu kwegatta kwaffe okwasooka, okuyita mu kufa okw’omwoyo, era nga kaakano tuzaaliddwa omulundi ogw’okubiri, oba tufumbiddwa omulundi ogw’okubiri, ne tudda mu kwegatta kwaffe okuggya okw’Omwoyo. Tewakyali bya bulamu bwaffe obw’obutonde obukadde n’ebintu by’ensi, wabula eby’Obulamu Obutaggwaawo. Akaweke akaali mu ffe ku lubereberye, katuzudde!

Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti ekitabo kyaffe ekikadde kigenze n’omukago gwaffe omukadde, kikyusiddwa. KAAKANO guli mu “Kitabo kya Katonda Ekiggya”; si ekitabo eky’obulamu… nedda, nedda, nedda… wabula mu Kitabo ky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga. Abo Omwana gw’endiga bye yanunula. Ye satifikeeti yaffe ey’obufumbo Akaweke kaffe akataggwawo aka nnamaddala mwe kanyweredde.

Oli mwetegefu? Kiikino kijja. Wandyesunako ne weetegekera okuleekaana n’okuyisaamu eddoboozi nti ekitiibwa, hallelujah, Mukama atenderezebwe, eno ya midumu ebiri ate nga ng’epakiddwamu eby’eggulu.

“Otegeeza kuŋŋamba nti ekitabo kyange ekikadde n’ensobi zange zonna, okulemererwa kwange kwonna…” Katonda yakiteeka mu Nnyanja y’Okwerabira kwE, era tosonyiyiddwa kyokka, wabula oggyiddwako omusango…Ekitiibwa! “Ng’oggyiddwako omusango.”

Era ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti n’okukikola tokikolangako mu Maaso ga Katonda.
Oyimirira butuukirivu ddala mu maaso ga Katonda . EKITIIBWA! Yesu, Ekigambo, yakwata ekifo kyo. Yafuuka ggwe, ggwe, omwonoonyi omucaafu, osobole okufuuka Ye, EKIGAMBO. TULI KIGAMBO.

Ekyo kitufuula Akaweke ke akatono akaategekerwawo okuva ku lubereberye. Tuli Kigambo ekiri mu kuggyira ku Kigambo, ku Kigambo, ku Kigambo, ku Kigambo, era nga tuli mu kuyingira mu kikula kya Kristo ekijjuvu Asobole okujja okutucima okubeera Omugole wE.

Kiki ekigenda mu maaso KATI?

Kwe Kwegatta Okutalabika Okw’Omugole Wa Kristo ali mu kukuŋŋaana okwetoloola Ekigambo, okuva mu nsi yonna.

Kino kigenda wonna mu ggwanga. Mu New York, kati ziri eddakiika abiri mu ttaano ezaakayita ku ssaawa ttaano. Wala engulu eyo mu Philadelphia n’okwetooloolamu okuyitamu eyo, abatukuvu abo abaagalwa nga batudde awo nga bawuliriza, kati kati, mu masinzizo okwetoloola wonna. Wala engulu eyo, emmanga ddala okwetooloola Mexico, ewala engulu okwetoloola mu Canada n’okwetoloola, emitala. Mayiro ebikumi bibiri, wonna munda mu ssemazinga wa North America wano, kumpi, abantu bali ku kyo, nga bawuliriza kati kati. Enkumi emirundi enkumi, nga bawuliriza.

Era obwo bwe Bubaka bwange gyemuli, Ekkanisa, mmwe abali omugatte gumu, omugatte ogw’omwoyo ogugattiddwa Ekigambo,

Agambye nti Kwegatta kwa mwoyo okwa Kristo n’Ekkanisa yE, era kuli mu KUGENDA MU MAASO KATI KATI. Omubiri guli mu kufuuka Kigambo, n’Ekigambo kiri mu kufuuka omubiri. Twoleseddwa, era ne tukakasibwa obutalekaawo kabuuza; ekyo kyennyini Baibuli kye yayogera nti kya kubaawo mu lunaku luno, era Kigenda mu maaso kaakano, olunaku ku lunaku mu buli omu ku ffe.

Katonda agenda kuba n’Ekkanisa ey’empisa. Omugole we ow’amazima, omwesigwa, ow’Ekigambo. YEFFE MUKAZI WA Mukama waffe Yesu Kristo OMULONDE.

Tuli mu ssaawa mmeka kaakano, Ssebo?

Tufunye okubikkulirwa mu nnaku zino ez’oluvannyuma, okusobozesa Obubaka bwa Mukama Katonda okukuŋŋaanya Omugole we awamu. Tewali mulembe mulala gwasuubizibwa kino. Kyasuubizibwa mu mulembe guno: Malaki 4, Lukka 17:30, Omutukuvu Yokaana 14:12, Yoweri 2:38. Ebisuubizo ebyo bifaananira ddala nga Yokaana Omubatiza bwe yeeyanjula mu Byawandiikibwa.

Ani yatuukiriza ebyawandiikibwa bino?

Malayika we ow’amaanyi ow’omusanvu, William Marrion Branham. Bulijjo yakikolanga mu ngoberegana y’emu. Buli mulundi yakikolanga mu ngoberegana eyo. Addamu okukikola mu kiseera kyaffe, ng’Akoowoolayo n’Akuŋŋaanya Omugole wE ow’empisa mu lunaku luno olw’oluvannyuma nga Ayita mu nnabbi wE.

Nga kiseera kya kitiibwa Omugole ky’alimu. Buli lukuŋŋaana lweyongera obuyitirivu obulungi n’obuyitirivu obulungi era lweyongera obuwoomi n’obuwoomi. Tewabangawo kiseera nga kino. Okubuusabuusa kwonna kuweddewo.

Jjangu twegatteko nga tuwulira Ekigambo ekyatusuubizibwa eky’olunaku lwaffe nga kyogera, era nga kitubuulira kye tuli n’ebigenda mu maaso mu kiseera kyaffe. Owegatta Okutalabika Ow’omugole Wa Kristo 65-1125.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa :
Omut. Matayo 24:24
Omut. Lukka 17:30 / 23:27-31
Omut. Yokaana 14:12
Ebikolwa by’Abatume 2:38
Abaruumi 5:1 / 7:1-6
2 Timoseewo 2:14
1 Yokaana 2:15
Olubereberye 4:16-17 / 25-26
Danyeri 5:12
Yoweeri 2:28
Malaki 4.