25-0511 Okutongozebwa #2

Obubaka: 60-0518 Okutongozebwa #2

PDF

BranhamTabernacle.org

Bakabona bakabaka Abaagalwa,

Buli muntu luma olugalo lwo, suna ku mmeeme yo, era suna ku mutima gwo. Leero, Omugole wa Yesu Kristo ali mu kuleekaana nti:

Leero, obunnabbi buno butuukiridde mu maaso gaffe.

Nzikiriza, olumu ku nnaku zino ez’ekitiibwa, ekibiina kino eky’omukago ogugatta amakanisa ekigattiddwa awamu bwe kinaajja awamu, era Paapa oyo omuggya n’afunibwa okuva mu Masaza Amagatte aga Amerika n’ateekebwa eyo okusinziira ku bunnabbi, olwo bajja kukolera ensolo eri ekifaananyi ekigifaanaana.

Eddoboozi lya nnabbi wa Katonda lyakyogera Omwezi Ogw’ekkumi ebiri Ennaku Z’Omwezi 19 1954, era oluvannyuma lw’emyezi 9, Robert Prevost, kati amanyiddwa nga Paapa Leo XIV, n’azaalibwa. Kaakano ye Paapa omuggya ow’e Rooma. “Bw’Ati bw’Ayogera Mukama” atuukiridde.

Omwezi Ogw’okutaano Ennaku Z’Omwezi 7 1946, KATONDA yateeka nnabbi we mu Green’s Mill, Indiana, okumuwa okutumibwa kwe n’okulangirira eri ensi, ono ye mubaka malayika Wange ow’amaanyi ow’omusanvu, Eddoboozi lyange eri ensi. Mumuwulire.

Malayika wa Mukama bwe yansisinkana ebweru awo e Green’s Mill, Indiana, emyaka munaana egiyise, oluvannyuma lw’okubeera nga okuva mu buto, nga angoberera, nga andaga okwolesebwa, bwe nagenda gy’Ali, yagamba nti, “Bw’onooba omwesimbu, n’oleetera abantu okukukkiriza, tewali kigenda kuyimirira mu maaso g’essaala eyo.”

William Marrion Branham ye Ddoboozi lya Katonda lye yalonda eri ensi. Nnabbi ow’amaanyi Ekigambo kya Katonda gwe kijja gy’Ali. Okusinziira ku Kigambo, ye muvvuunuzi w’Ekigambo kya Katonda ow’obwakatonda YEKKA.

Yakakasibwa Katonda yennyini obutalekaawo kabuuza, yakakasibwa Empagi y’Omuliro.

Omwezi Ogw’okutaano Ennaku Z’omwezi 7 2025, SITAANI yateeka Olutuula olw’ekyama olwa Bakalidinaali mu lutikko eyitibwa Sistine Chapel e Roma okulonda Abatuulira mu kifo kya Kristo, okutuukiriza Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama.

Yakakasiddwa omusajja nga alina AKALE AKAKWAFU AK’OMUKKA OMWEERU.

Omugole wa Kristo okwetoloola ensi yonna ali mu kusanyuka, ali mu kuleekaana, aleekaanira waggulu n’okutendereza Mukama nga bwe tuwulira, era nga tulaba n’amaaso gaffe, obunnabbi bwa nnabbi nga butuukirizibwa.

Kiringa abaabadde tulaba Ennyanja Emmyufu ng’eyawulwamu mu maaso gaffe. Emmaanu ensu ng’egwa okuva mu bbanga. Obukadde n’obukadde bw’obugubi nga buliibwa Omugole. Amazzi nga gava mu Lwazi. Omuliro nga gukka ne gwokya ssaddaaka nga bwekyali ku Eriya.

Obunnabbi butuukirizibwa buli lunaku. Ekigambo kya Katonda ekyasuubizibwa kiri mu kwolesebwa mu bulamu bwaffe. Ebintu bigenda mu maaso wonna okutwetooloola. Omugole yeetegese ng’awulira n’okukkiriza Ekigambo. Tuli Kigambo ekifuuse omubiri.

Mazima ddala, tutuuse. Ebiseera bisembedde. Omugole asanyuka era nga yeegatta wamu okwetoloola ensi yonna nga bwe kitabangawo. Nabbi agumya Omugole ng’atugamba nti tuli bakabaka bakabona ba Katonda, kika kitukuvu, bantu ba nvuma abaayitibwayo, abaalondebwa, abeerobozebwa, ne bateekebwa ku bbali.

KAAKANO TULI Batabani na Bawala ba Katonda, nga tukulemberwa Omwoyo wa Katonda; si muntu, wabula Omwoyo. Tumanyi, awatali kisiikirize na kimu eky’okubuusabuusa, FFE MUGOLE WE. OKUKKIRIZA kwaffe kuli mu kutuuka ku ddala erya waggulu-ko buli lunaku. Tewali kutuyimiriza oba kutusala sipiidi, Katonda akitubikkulidde era n’asuula ennanga yakyo mu mutima gwaffe ne mu mmeeme.

Omugole afunye okutegeera mu bujjuvu okw’ekyo kye tuli. Tuli mu Nsi yaffe ensuubize ey’omwoyo, nga tulina obwa nnannyini obujjuvu ku buli kimu. Tulina emirembe egy’omu Ggulu, Emikisa egy’omu Ggulu, Omwoyo ogw’omu Ggulu. BULI KIMU KYAFFE. Tuli mu kwetegekera bwetegesi by’azzaako okutuwa.

Ekkondeere lya Mukama lirivuga, n’abafu mu Kristo be balisooka okuzuukira.

Emibiri gino egy’omu nsi ey’omu bbanga gijja kukka gyambale emibiri egy’oku nsi eno, egiteekeddwako ekitiibwa era gijja kukyusibwa mu kaseera katono, mu kutemya kikoowe. Tujja kusitulwa waggulu wamu nabo, okusisinkana Mukama waffe mu bbanga.

Nga lunaku. Nga kiseera. Tewali ngeri gye nnyinza kwogera mu bigambo by’abantu ffenna bye tuwulira mu mmeeme zaffe. Emitima gyaffe gitujjira ku bwangu obw’ekitalo.  Siffe abali mu kukikola, Omwoyo Omutukuvu alinga oluzzi olw’ensulo olwesundira munda mu ffe. Omugole abadde alinze akaseera kano okuva mu nnaku za Adamu…ERA KATI TULI WANO.

Tukwaniriza. Tukuyita. Tukwegayirira. Jjangu otwegatteko mu kiseera ekisinga okwewuunyisa ensi kye yali etegeddeko, nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga litubikkulira ekigambo kye Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira : 60-0518 Okutongozebwa#2 .

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga Obubaka tebunnatandika:

Olubereberye 1:26
Abeefeso Essuula Esooka yonna
Abaruumi 8:19
Abaggalatiya 1:6-9
Abebbulaniya Essuula ey’omukaaga yonna
Yokaana 1:17