25-0413 Akabonero Ak’okutaano

Obubaka: 63-0322 Akabonero Ak’okutaano

BranhamTabernacle.org

Abawummudde Abaagalwa,

Tuli wano. Tutuuse. Okukakasibwa obutalekaawo kabuuza okw’Ekigambo kukakasizza nti Okubikkulirwa kwaffe okw’Obubaka Buno kuva eri Katonda. Tuli mu KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE nga tusigala n’Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.

Kikulu kitya okunyiga Zannya? Ebigambo bye tuwulira ku ntambi bya makulu nnyo, bitukuvu nnyo, ne kiba nti Katonda yennyini teyasobola kubyesigisa wadde Malayika…wadde omu ku Bamalayika be ab’omu ggulu. Kyalina okubikkulwa n’okuleetebwa eri Omugole we nga kiyita mu nnabbi we, kubanga oyo Ekigambo kya Katonda gwe kijjira, nnabbi we, YEKKA.

Katonda yayuzaako Envumbo, n’Akikwasa omubaka we malayika ow’omusanvu ow’oku nsi, n’Amubikkulira Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyonna. Olwo, Katonda n’Ayogera ng’Ayita mu malayika wE ow’oku nsi era n’Abikkula BULI KIMU eri Omugole we.

Buli katundu akatono konna kaayogerwako era kaabikkulwa gyetuli. Katonda yatufaako nnyo ne kiba nti teyakoma ku kutubuulira bibaddewo wano ku nsi okuva ku ntandikwa y’ebiseera, wabula Yayogera ng’Ayita mu malayika we n’Atubuulira ebigenda mu maaso mu kifo ng’olusuku lwa Katonda mu kiseera kino.

Yali tayagala tweraliikirire, oba obutaba bakakafu ku biseera eby’omu maaso bye binaatuleetera nga tuvudde mu lusiisira luno olw’oku nsi. Kale, Katonda yennyini yatwala malayika we ow’amaanyi ow’omusanvu okusukka olutimbe lw’ebiseera, asobole okuBiraba, okuBiwulira n’enneewulira ey’omubiri gwe, n’okwogera ayogere n’abo abali eyo. Tekwali kwolesebwa, yaliyo EYO.

Katonda yamutwalayo asobole okudda atugambe nti: “Nnaliyo, nakiraba. Kigenda mu maaso KATI KATI…Ba maama baffe, ba taata baffe, baganda baffe, bannyinaffe, batabani baffe, bawala baffe, abakyala, abaami, bajjajjaffe, Musa, Eriya, ABATUKUVU BONNA abaatusooka okugenda bali eyo mu Byambalo Ebyeru, nga bawummudde era nga batulinze FFE”.

Tetuliddamu kukaaba, ‘kubanga liriba ssanyu gyereere. Tetuliddamu kunakuwala, ‘kubanga kuliba kusanyuka kwereere. Tetulifa nate, ‘kubanga eyo bulamu bwokka. Tetusobola kukaddiwa, ‘kubanga ffenna tujja kuba bato emirembe gyonna.

Kwe kutuukirira…yongerako okutuukirira…yongerako okutuukirira, era tugendayo!! Era nga Musa, tetujja na kulekawo wadde ekisinziiro ky’ensolo, FFENNA TUGENDA…AB’ENJU YAFFE FFENNA.

Kikulu kitya OKWAGALA malayika oyo ow’amaanyi ow’omusanvu?

Era ne baleekaana, ne bagamba nti, “Bonna bewali oyagadde…” empeera y’obuweereza bwange. Seetaaga mpeera yonna. Yagamba nti, “Bonna bewali oyagadde, ne bonna abakwagala, Katonda abakuwadde.

Ekyo leka tuddemu tukisome bambi: Yagamba ki?….Katonda abakuwadde GGWE !!

Era tujja kwegatta nabo tuleekaane nti, “Tuwummulidde kw’ekyo”

Kiki kye tuwummulizzaako ekifo kyaffe gyetunaakomekkereza mu butaaggwawo? BULI KIGAMBO EKYAYOGERWA KU NTAMBI. Nneebaza nnyo Mukama nti atuwadde Okubikkulirwa Okutuufu nti Okunyiga Zannya kye kintu EKISINGA OBUKULU Omugole ky’ateekwa okukola.

Wandyagadde okuwummulako naffe? Jjangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira byonna ebikwata ku biri mu biseera eby’omu maaso, gye tugenda, n’engeri y’okutuukayo, nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera n’okubembula: Akabonero Ak’Okutaano 63-0322 .

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Danyeri 9:20-27
Ebikolwa By’Abatume 15:13-14
Abaruumi 11:25-26
Okubikkulirwa 6:9-11 / 11:7-8 / 22:8-9