24-1231 Okumeggana

Obubaka: 62-1231 Okumeggana

BranhamTabernacle.org

Omugole Omwagalwa,

Nneesiga nti buli omu ku mmwe yabadde ne Ssekukkulu ennungi wamu ne mikwano gyo n’ab’omu maka go. Nga nneeyanzeege nnyo leero okumanya nti Mukama waffe Yesu talemedde mu kisibo ng’ensi bw’eMulaba leero, wabula Mulamu era Ali mu masekkati g’Omugole wE, nga Yeebikkula okuyita mu ddoboozi lyE nga bwe kitabangawo, MUKAMA ATENDEREZEBWE.

Nga bwennamaze edda okulangirira, nandyagadde okuddamu okuba n’Okussa Ekimu mu maka gaffe oba mu makanisa gaffe ku lunaku lw’Olusooka Omwaka, Desemba nga 31. Kulw’abo abaagala okulwetabamu, tujja kuwuliriza Obubaka, 62-1231 Okumeggana, n’oluvannyuma tugendere ddala mu lukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu, Ow’oluganda Branham lw’ayanjula ng’akomeka Obubaka.

Kulw’abakkiriza ab’omu kitundu kino, tujja kutandika olutambi ku ssaawa 1:00 (emu) ey’omu kawungeezi. Wabula, eri abo abali mu bitundu ebyawukanamu mu ssaawa, nsaba mutandike Obubaka mu ssaawa ezibasaanira. Oluvannyuma lw’Ow’oluganda Branham okuleeta Obubaka bwe obw’Omwaka Omuggya, tujja kuyimiriza olutambi ku nkomerero y’akatundu namba 59, era tubeere n’eddakiika nga 10 ez’ennyimba ezizannyibwa ku nnanga nga bwe tulya Ekyeggulo kya Mukama waffe. Olwo tujja kuddamu tutandikire wetwakomye ku lutambi ng’Ow’oluganda Branham aggalawo okusaba. Ku lutambi luno, alekayo ekitundu ky’olukuŋŋaana eky’okunaaza ebigere, kye tujja okulekayo naffe.

Endagiriro ku ngeri ey’okufunamu wayini, n’engeri y’okufumbamu omugaati ogw’Okussa Ekimu osobola okubisanga ku mikutu gino wammanga. Osobola okuluzannyira ku mutimbagano oba okuluwanulayo olutambi lw’eddoboozi okuva ku mukutu, oba osobola okumala gazannya lutambi oluli ku Voyisi Leediyo ku apu ya Layifulayini (olugenda okuzannyibwa mu Lungereza ku ssaawa 1:00 (emu ey’omu kawungeezi) mu budde bw’e Jeffersonville.)

Nga tusemberera omwaka omulala ogw’okuweereza Mukama waffe, leka tumulage okwagala kwaffe nga tusooka kuwulira Eddoboozi lyE, n’oluvannyuma tulye ekyeggulo kyE. Nga kino kinaaba kiseera kya kitiibwa era kitukuvu nga bwe tuddamu okuwaayo obulamu bwaffe eri Obuweereza bwE.

Katonda abawe omukisa,

Ow’oluganda Yusufu