Obubaka: 60-1209 Omulembe Gw’ekkanisa Ey’Omusaadi
- 24-1117 Omulembe Gw’ekkanisa Ey’Omusaadi
- 23-0528 Omulembe Gw’ekkanisa Ey’Omusaadi
- 20-1206 Omulembe Gw’ekkanisa Ey’Omusaadi
- 19-0217 Omulembe Gw’ekkanisa Ey’Omusaadi
- 16-0401 Omulembe Gw’ekkanisa Ey’Omusaadi
Abantu b’Entambi Abaagalwa,
Nga twenyumiriza nnyo mu kuyitibwa “Abantu b’Entambi”. Emitima gyaffe gikuba n’essanyu buli wiiki nga tumanyi nti tujja kwegattira awamu okwetoloola ensi yonna nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera gyetuli.
Tukimanyi, awatali kisiikirize kya kubuusabuusa wadde ekimu, tuli mu Kwagala kwa Katonda okutuukiridde nga tusigala n’Ekigambo kye; okuwuliriza Eddoboozi lye ng’Ayita mu mubaka we malayika ow’omusanvu ow’amaanyi.
Omubaka gwe Yalonda ku lw’olunaku lwaffe ye William Marrion Branham. Ye ttabaaza ya Katonda eri ensi, nga emulisa ekitangaala kya Katonda. Ali mu kuyitayo Omugole-Ekigambo We Omulongoofu gwe Yalonda nga Ayita mu malayika We.
Okuyita mu kuyiga nkaliriza n’obwegendereza ku Kigambo kyE, Atubikkulidde nga Ayita mu Mwoyo wE Omutukuvu nti William Marrion Branham ye malayika gwe Yalonda okuwa Okubikkulirwa kwE n’Obuweereza bwE kulw’olunaku lwaffe. Tulaba malayika wE, EMMUNYEENYE YAFFE, nga ali mu mukono gwE ogwa ddyo nga bw’Amuwa amaanyi gE okubikkula Ekigambo kyE n’okukoowoolayo Omugole wE.
Atuwadde Okubikkulirwa okujjuvu okwa Ye Mwene. Omwoyo Omutukuvu nga Yeemanyisa gye tuli okuyita mu bulamu bw’omubaka wE malayika ow’omusanvu; malayika gwe Yalonda okubeera amaaso gE kulw’olunaku lwaffe.
Nga emitima gyaffe gitutyemuka munda mu ffe nga bw’Atugamba mu buli Bubaka nti kye kigendererwa kyE okutuleeta gy’Ali; nti tuli Mugole-Kigambo wE.
Ayagala nnyo okutubuulira emirundi n’emirundi engeri gye Yatulondamu nga ensi tennatandikibwawo MU YE. Engeri gye twamanyibwawo Ye era n’Atufuula Abaagalwa bE.
Engeri gye twagala ennyo okumuwulira ng’Ayogera n’okutugamba nti twanunulibwa Omusaayi gwe era TETUSOBOLA kujja mu kusingibwa musango. Tetulisobola kubeerayo mu kusalirwa omusango, kubanga ekibi tekiyinza kutubalirwako.
Engeri gye tunaakkalira wamu naYe nga bw’Adda ku nnamulondo yE eya Dawudi ey’oku nsi, ne tufuga naYe; nga bwe Yakola mu ggulu, ng’Alina amaanyi n’obuyinza ku nsi yonna. Ebigezo n’okugezesebwa kw’obulamu buno bijja kulabika ng’ebitali kantu mu kaseera ako.
Naye era Atulabudde engeri gye tulina okwegendereza. Nti okuyita mu mirembe gyonna emizabbibu ebiri gyamerera wamu nga giriranaganye. Engeri omulabe gy’abadde okumpi ennyo bulijjo; nga mukugu nnyo mu kuwuddiisa obusimu bw’omubiri. Ne Yuda yalondebwa Katonda, era n’ayigirizibwa mu mazima. Yalegako ku kumanya ebyama. Yalina obuweereza obw’amaanyi obwamuweebwa era yawonya abalwadde n’agoba emizimu mu Linnya lya Yesu. Naye teyasobola kugenda lugendo lwonna.
Tosobola kugenda mu maaso na kitundu butundu ku Kigambo, olina okutwala Ekigambo KYONNA. Waliwo abantu abalabika nga beenyigira mu bintu bya Katonda kumpi kikumi ku buli kikumi, naye si bwe bali.
Yagamba nti tekimala okuba nga Yeekwataganyizza n’ekkanisa yonna, oba n’okuba nga Yeekwataganyizza n’obuweereza obw’emirundi etaano obw’Abaefeso nnya. Yatulabula nti mu buli mulembe ekkanisa ebula, era si abagoberezi bokka wabula ekibiina ky’abakulembeze b’enzikiriza — abasumba bakyamu n’endiga bweziri mu ngeri y’emu bw’etyo.
N’olwekyo olw’okuteesa okuweweddwa ne kulyoka kuweebwa okw’okwagala kwe Ye Mwene, Yeereeta ku kifo mu mulembe gwaffe ng’Omusumba Omukulu mu buweereza bw’omubaka wE malayika ow’omusanvu okukulembera abantu bE okudda mu mazima n’amaanyi amangi okukirawo ag’amazima ago.
Ali mu mubaka wE era oyo anaaba ne Katonda mu bujjuvu bwE nga Katonda ajja kugobera omubaka oyo anti omubaka oyo mugoberezi wa Mukama waffe nga Akozesa Ekigambo kya Mukama waffe.
Njagala mbeere ne Katonda mu bujjuvu bwE nga Katonda era ngoberere omubaka wE. Bwe kityo, eri ffe, Branham Tabanako, engeri yokka ey’okugoberera omubaka nga bw’agoberera Mukama waffe nga akozesa Ekigambo kya Mukama waffe, kwe KUNYIGA ZANNYA n’okuwulira Eddoboozi lya Katonda Eddongoofu nga Lyogera gyetuli ebigambo eby’obwa nnantakola-nsobi.
Tetwetaaga kuteebereza oba kukebera bye tuwulira, tulina kunyiga bunyizi Zannya ne tukkiriza buli Kigambo kye tuwulira.
Nnawulira Ow’oluganda Branham ng’ayogera okunokola kuno wammanga amakya agamu ku Voyisi leediyo. Bwe nakiwulira, kyajja ku mutima gwange nti eno yennyini y’engeri nze / ffe gye tuwuliramu ku kwogera nti:
TUNYIGA BUNYIZI ZANNYA NE TUWULIRA ENTAMBI.
Gyendi kyawulikika nga enjatula etegeeza Okukkiriza kwaffe.
Eyo y’ensonga lwaki nzikiririza mu Bubaka buno, eri nti kubanga Buva mu Kigambo kya Katonda. Era ekintu kyonna ekiri ebweru w’Ekigambo kya Katonda, sikikkiriza. Kyandiba nga kiri kityo, naye era nja kusigala busigazi ne Katonda kye Yayogera, na bwentyo mbe mukakafu nti ndi mutuufu. Kati, Katonda asobola okukola ky’Ayagala. Ye Katonda. Naye kasita mba nga nsigala n’Ekigambo kye, awo mmanyi nti ekyo kyonna kiri bulungi. Nzikiriza ekyo.
Ekitiibwa, yakyogera BUTUUKIRIVU nnyo butyo. Obuweereza obulala bwonna bwandiba nga, kubanga Katonda asobola okukola ky’Ayagala, n’oyo gw’Ayagala okukikola naYe, Ye Katonda. Naye kasita mba nga nsigala n’Ekigambo kyE, Eddoboozi lyE, Entambi, awo nmanya nti ekyo kyonna kiri bulungi. Nzikiriza ekyo.
Nkimanyi bangi basoma ebbaluwa zange ne bategeera bubi bye njogera ne kye nzikiriza nti kwe Kwagala kya Mukama waffe eri ekkanisa yaffe. Mu bwetoowaze ka njogere nate nga nnabbi bwe yogera nti: “Ebbaluwa zino zigendereddwa eri kkanisa yange yokka. Abo abaagala okuyita Branham Tabanako ekkanisa yaabwe. Abo abaagala OKWERAGIRA AWAMU N’ABANTU B’ENTAMBI ERA ABAYITIBWA EKYO”.
Bw’oba tokkiriziganya na bye njogera ne bye nzikiriza, ekyo tekirina buzibu kikumi ku kikumi baganda bange ne bannyinange. Ebbaluwa zange tezigendereddwa eri mmwe oba okuwakanya mmwe oba ekkanisa zammwe. Ekkanisa yo yeemalirira era olina okukola nga bw’owulira nga okulembeddwa okukola, naye okusinziira ku Kigambo, bw’etyo n’eyaffe nayo yeemalirira, era kino kye tukkiriza nti lye kkubo Katonda lye Yatuwa.
Bonna bulijjo baanirizibwa okwegatta naffe buli Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda). Sabbiiti eno, Emmunyeenye ya Katonda ey’omulembe gwaffe, William Marrion Branham, egenda kutuleetera Obubaka, 60-1209 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Saadi.
Owol. Joseph Branham