24-0623 Okufumbiriganwa n’Okwawukana

Obubaka: 65-0221M Okufumbiriganwa n’Okwawukana

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole w’Ekigambo Omulongoofu Atatabikiddwamu Birala Omwagalwa,

Yeffe Mukyala We omutono omwagalwa; atatabikiddwamu birala, atakwatibwako kibiina kya muntu yenna ekitegeke, endowooza yonna ekoleddwa omuntu. Ffe Mugole w’Ekigambo, atatabikiddwamu birala bulongoofu ddala! Ffe muwala wa Katonda ali olubuto.

Yeffe baana ab’Ekigambo kye Ekyogere, ekyo nga kye Kigambo kye nnakabala! Temuli kibi mu Katonda, bwe kityo temuli kibi muffe, nga bwe tuli ekifaananyi kye Ye Mwennyini. Tuyinza tutya okugwa? Tekisoboka….TEKISOBOKA! Tuli kitundu ku Ye, EKIGAMBO kye NNAKABALA.

Kino tuyinza tutya okukimanya awatali kubuusabuusa kwonna? OKUBIKKULIRWA. Baibuli yonna, Obubaka buno, Ekigambo kya Katonda, kyonna Kubikkulirwa. Bwetutyo bwetumanyi amazima wakati w’Eddoboozi lino n’amaloboozi amalala gonna, kubanga kuba Kubikkulirwa. Era Okubikkulirwa kwaffe kukwataganira ddala n’Ekigambo, so tekukontana na Kigambo.

Era ku lwazi luno” (okubikkulirwa okw’omwoyo okw’Ekigambo kye lwekuli) “Ndizimba Ekkanisa Yange; n’emiryango gy’emagombe tegiriginyeenya kugisuula wansi.” Omukyala we tajja kukemebwa na basajja balala. “Ndizimba Ekkanisa Yange, n’emiryango gy’emagombe tegiriyinza kuginyeenya.”

Tujja kuba ba mazima era abeesigwa eri Ekigambo kye n’Eddoboozi lye, lyokka. Tetulyonoonebwako musajja mulala kukola bwenzi. Tujja kusigala nga Tuli Mugole w’Ekigambo kye Embeerera. Tetujja kutunula, kuwuliriza newankubadde okupepeya n’ekigambo ekirala kyonna.

Kiri wansi mu mitima gyaffe. Tetuliyinza yadde okuba n’omwami omulala, wabula OMWAMI waffe OMU, Yesu Kristo, Omusajja omu, Katonda, Imanueri. Omukyala we aliba enkumi emirundi enkumi z’enkumi. Ekyo kiraga nti Omugole ateekeddwa kuva mu Kigambo. “Mukama waffe Yesu omu, n’Omugole we bangi, nnamunigina.”

Tulina okujjukira n’okutegeera kino si kya buli muntu, kya kibinja kya nnabbi KYOKKA. Abagoberezi be ababe nga ye. Obubaka buno buli eri bo bokka, ekisibo ekitono Omwoyo Omutukuvu kye yamuwa okulabirira.

Katonda Alimubalirako obuvunaanyizibwa bw’ebyo by’atugamba, era Katonda Alitubalirako, abaakyusibwa ye okuva mu nsi yonna, b’akulembedde eri Kristo, Alitubalirako obuvunaanyizibwa bw’okukkiriza buli Kigambo mu kyo n’obutekkiriranya.

Nga kya kitalo nnyo gye tuli okutuula ne tuMuwuliriza ng’Atubuulira nga bwe tuli abalonde be. Nga Omugole We eyasooka, n’Omugole we ow’okubiri, gye yaMulemererwa; naye ffe, Omugole We ow’ekitalo ow’ekiseera eky’enkomerero TETULI MULEMERERWA. Tujja kusigala nga tuli Mugole we ow’Ekigambo embeerera, omwesigwa, ow’amazima, okutuusa ku nkomerero.

Okukkiriza kwaffe mu kigambo kye kweyongera buli lunaku. Tuli mu kwetegeka nga tuwuliriza era nga tugondera buli Kigambo Kye, nga tuwulira Eddoboozi lye nga lyogera naffe, nga tusoma Bayibuli zaffe, nga tuMusaba era nga tuMusinza olunaku lwonna.

Tukimanyi nti Ajja mangu nnyo. Eddakiika yonna kati. Okufaananako ne Nuuwa, twali tusuubira nti yali ajja jjo; mpozzi enkya ku makya, mu ttuntu, akawungeezi, naye tukimanyi nti Ajja. Nabbi wa Katonda n’Ekigambo kye tebakola nsobi, AJJA. Tuwulira nga luno lwe lunaku lw’omusanvu, era tulaba ebire nga bitkwata n’amatondo g’enkuba amanene ennyo nga gagwa; ekiseera kituuse.

Tuli butebenkevu era tuli ntende mu Lyato, nga tulindirira n’okusuubira okungi. Jjangu twegatteko nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Litubudaabuda Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwetuwulira: Okufumbiriganwa N’Okwawukana 65-0221M .

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Omut. Matayo 5:31-32 / 16:18 / 19:1-8 / 28:19
Ebikolwa 2:38
Abaruumi 9:14-23
1 Timoseewo 2:9-15
1 Abakkolinso 7:10-15 / 14:34
Abebbulaniya 11:4
Okubikkulirwa 10:7
Olubereberye essuula 3 yonna
Eby’Abaleevi 21:7
Yobu 14:1-2
Isaaya 53 yonna
Ezeekyeri 44:22