24-0616 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu

Obubaka: 65-0220 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu

PDF

BranhamTabernacle.org

Mukyala Yesu Kristo Omwagalwa,

Singa twebuuza ekibuuzo ku kintu kyonna mu bulamu bwaffe, wateekwa okuba nga waliwo eky’okuddamu ekituufu. Wayinza okubaawo ekintu ekikifaananye, naye wateekwa okubaawo eky’okuddamu ekituufu, ekitereevu eri buli kibuuzo. N’olwekyo, buli kibuuzo ekijja mu bulamu bwaffe, wateekwa okubaawo eky’okuddamu ekituufu, ekigolokofu.

Bwetuba nga tulina ekibuuzo eky’omu Baibuli, wateekwa okubaawo eky’okuddamu eky’omu Baibuli. Tetukyagala kuba nga kiva mu kibinja ky’abasajja ekimu, okuva mu kuŋŋaaniro ly’abantu erimu, oba okuva mu musomesa omu, oba okuva mu kibiina ky’eddiini ekimu. Twagala kive butereevu mu Byawandiikibwa. Tuteekwa okumanya: ekifo kya Katonda ekituufu era ekigolokofu okumusinzizaamu kye kiruwa?

Katonda yasalawo okusisinkana omuntu; tekyali mu kkanisa, si mu kibiina kya ddiini, si mu nzikiriza, wabula munda mu Kristo. Ekyo kye kifo kyokka Katonda w’Anaasisinkaniranga omuntu, naye n’asobola okusinza Katonda, ye munda mu Kristo. Ekyo kye kifo kyokka. Si nsonga oba oli Mumethodist, Mubaputisiti, Mukatoliki, Mupulotesitante, kyonna ky’oyinza okuba, waliwo ekifo kimu kyokka ky’osobola okusinzizaamu Katonda mu butuufu, ekyo ye munda mu Kristo.

Ekifo kya Katonda kyokka ekigolokofu, era kyeYalonda okuMusinzizaamu ye munda mu Yesu Kristo; eryo ly’Ekkubo Lye lyokka lye Yateekawo.

Baibuli Yatusuubiza Empungu mu Malaki 4; Empagi y’Omuliro gye tulina okugoberera. Ajja kulaga ekkanisa ebadde ewabye nti Ye Abebbulaniya 13:8, Yesu Kristo aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Era twasuubizibwa mu Lukka 17:30 nti Omwana w’omuntu oli (Empungu) ajja kuba Yeebikkula eri Omugole we.

Mu Okubikkulirwa 4:7, kitugamba nti waaliwo Ebiramu bina, ng’ekyasooka yali mpologoma. Ekiramu ekyaddako yali nnyana. Awo, ekyaddako okujja yali muntu; omuntu oyo be baali abaddaabuluzi, obuyigirize bw’omuntu, amasomo g’eby’okusoma Katonda, n’ebirala.


Naye Baibuli yagamba nti mu budde obw’akawungeezi, Ekiramu ekyasembayo ekyali kigenda okujja yali Empungu ebuuka. Katonda yali wa kuwa Omugole We ow’ekiseera eky’enkomerero Empungu; Omwana w’omuntu yennyini, nga Yeebikkulira mu mubiri okukulembera Omugole we.

Baibuli era egamba nti ebintu byonna eby’edda, ebiri mu ndagaano enkadde, byali bisiikirize by’ebintu ebyali bigenda okujja. Ekisiikirize ekyo nga bwe kigenda kisemberera, ekisiikirize ky’ekifaananyi kigenda kimiribwa okufuuka ekifaananyi kiri kyennyini. Ebyaliwo mu kiseera ekyo kisiikirize ky’ebyo ebyali eby’okubeerawo leero.

Mu I Samwiri 8, endagaano enkadde etugamba nti Katonda yali awaddeyo Samwiri nnabbi okukulembera abantu. Abantu ne bamutuukirira ne bamugamba nti baagala kabaka. Samwiri n’agwamu ekikangabwa eky’amaanyi ennyo olw’akabi ke yali alabye omutima gwe katono gumutyemuke.

Katonda ebbanga lyonna yali Akulembedde abantu be ng’Ayita mu nnabbi ono eyawongebwayo mu butukuvu, eyakakasibwa mu Byawandiikibwa obutaleekaawo kabuuza era yawulira nti yali agaanibbwa. Yakuŋŋaanya abantu n’abeegayirira baleme kuva ku Katonda eyabasitula ng’abaana, n’abaaza n’abawa omukisa. Naye ne bawalaaza empaka.

Ne bagamba Samwiri nti, “Tobangako mukyamu mu bukulembeze bwo. Tobangako atali mwesimbu mu nkwata yo ey’eby’ensimbi. Okoze kyonna ekisoboka okutukuuma nga tukwatagana n’Ekigambo kya Mukama. Tusiima ebyamagero, amagezi, enteekateeka n’obukuumi bwa Katonda. Tukkiririzaamu. Tukyagala nnyo. Era n’ekirala tetwagala kubaawo nga tetukirina. Ensonga eri bubeezi nti twagala kabaka atukulembera mu lutalo.

Kati kirabikirawo nti buli bwe tufuluma okulwana kikyali kigendererwa kyaffe okuba nga bakabona batusooka mu maaso nga Yuda abagoberera, era tujja kufuuwa amakondeere tuleekaane era tuyimbe. Tetugenderera kukomya kintu kyonna n’ekimu ku ebyo. NAYE TWAGALA KABAKA NGA MUNTU AVA MUFFE ATUKULEMBERE .”
    

Bano si be baali abantu b’ebibiina by’amadiini ab’olunaku olwo. Bano n’okuba mu bukakafu, be bantu abaali bagamba nti ddala YE NABBI wa Katonda Katonda gwe Yalonda okubakulembera.

“Weewaawo, oli nnabbi. Tukkiriza Obubaka. Katonda Akubikkulira Ekigambo kye, era tukyagala nnyo Ekyo, era tetwagala kubeerawo weKitali, naye twagala omuntu omu ng’oggyeko GGWE atukulembere; o’w’omu bantu baffe. Tukyagenderera okugamba nti tukkiriza Obubaka bwewatuleetera. Kye Kigambo. Ggwe nnabbi, naye si ggwe Eddoboozi lyokka oba erisinga obukulu.”

Waliwo abantu abatalina buzibu mu nsi leero, amakanisa amalungi. Naye waliwo Mukyala Yesu Kristo omu, era ffe Ye, Abo b’Ali mu kujjja okucima; Omugole Ekigambo We embeerera omulongoofu anaasigala n’EDDOBOZI LYA Katonda LYOKKA ERYAKAKASIBWA OBUTALEKAAWO KABUUZA ERA ERYALAGIBWA NTI LIRI BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.

Bw’oba oyagala okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), tujja kuba tukyali ku mukutu ogw’oku mpewo ku ssimu okwetoloola ensi yonna nga tuwuliriza. Kino kye kigenda okubaawo.

Tambulira ku baganda bange, bannyinaze, mikwano gyange, wano mu kifo kino ekiro kino n’ebweru eyo ku ssimu. Amasaza ag’enjawulo agawerako nga gawuliriza, okuva ku lubalama lw’ebuvanjuba okutuuka mu bugwajuba. Nsaba, Katonda Omwagalwa, ewala emmanga okuyita mu ddungu eyo mu Tucson, okugendera ddala okutuuka mu California, engulu mu Nevada ne Idaho, ewala nnyo mu Buvanjuba n’okwetooloola, emmanga mu Texas; nga okuyitibwa kuno kuweebwa, abantu nga bayingira — mu masinzizo amatono, mu masundiro g’amafuta, mu maka, nga bawuliriza okuva eno. Ayi Katonda, leka omusajja oyo eyabula oba omukazi, omulenzi oba omuwala, mu ssaawa eno, ajje gy’Oli. Leka kibe kati kati. Tukisaba mu Linnya lya Yesu, nti banaafuna ekifo kino eky’obutebenkevu ng’ekiseera kikyali kino.

Kaakano Mukama, okusoomoozebwa kuno kusisinkaniddwa, nti Sitaani, ekiguumaaza ekinene, talina ddembe kusigaza mwana wa Katonda yenna. Ye kitonde ekiwanguddwa. Yesu Kristo, ekifo kyokka eky’okusinzizaamu, Erinnya lyokka ettuufu, Yamuwangula e Kalvario. Era tukoowoola Omusaayi gwe mu kiseera kino, nti Yawangula buli bulwadde, buli ndwadde.

Era ndagira sitaani okuva mu kibiina kino. Mu Linya lya Yesu Kristo, va mu bantu bano, era bafuulibwe ba ddembe.

Buli muntu akkiriza okuwonyezebwa kwe ku musingi gw’Ekigambo ekyawandiikibwa, kola obujulizi bwo ng’oyimirira ku bigere byo era ogambe nti, “Kaakano nzikiriza okuwonyezebwa kwange mu Linnya lya Yesu Kristo.” Situka ku bigere byo.

Katonda Atenderezebwe! Weerabireko n’agago. Weetegereze wano, ku balema n’ab’ebirala nga bagolokoka. Katonda Atenderezebwe! Ekyo bwe kiri . Kkiriza kyokka. Ali wano.

Owol. Joseph Branham

Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’okusinzizaamu 65-0220

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Ekyamateeka 16:1-3
Okuva 12:3-6

Malaki Essuula 3 & 4

Luk 17:30

Abaruumi 8:1

Okubikkulirwa 4:7