Obubaka: 64-0823E Ebibuuzo N’eby’okuddamu #2
- 26-0201 Ebibuuzo N’eby’okuddamu #2
- 24-0505 Ebibuuzo N’eby’okuddamu #2
- 22-1009 Ebibuuzo N’Eby’okuddamu #2
- 18-0211 Ebibuuzo N’eby’okuddamu #2
Obuwungu abaagalwa,
Ewali Ennyama ensu, awo Omugole w’agenda okukuŋŋaanyizibwa. Era gye tuli, waliwo ekifo kimu kyokka ekituukiridde kye tusobola okufunirmu Manna eyo ey’ennyama ensu: nga tunyiga zzannya era ne tuwulira Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.
Yogera ku Manu ensu, tuyinza n’okuyinza okutandika okulowooza Kubiki bye tulina ku ngalo zaffe ddala? Eddoboozi lya Katonda lyenyini nga lyogera n’Omugole we omwagalwa ku lutambi, awatali kuteebereza, ewatali kwewuunya, tewali kwebuza wadde okubuusabuusa bye tuwulira ye Katonda, ng’akozesa eddoboozi ly’omuntu, okw’ogera Bw’ati Bw’ayogera Mukama eri Omugole We.
Nga tuyita mu kubikkulirwa, tukkiriza nti Kye kifo KYOKA kye tusobola okugendamu ne tuwummuza ememe zaffe nti Ebigambo bye tuwulira si kigambo kya muntu, era n’okutaputa kwe oba ekirowoozo kye ekigattibwako, wabula Kye Kigambo kya Katonda ekirongoofu ekyogera naffe obuwungu, nga kibikkula Ekigambo kye.
Tussa kimu okwetoloola Ekigambo. Tusoma Ekigambo kye mu Bayibuli zaffe. N’okuwulira tuwulira Katonda ng’ayayawula n’okuyita abantu abajjudde Omwoyo we Omutukuvu, ng’abajuliza n’okubuulira Ekigambo kya Katonda, naye mu kiseera kyaffe, Katonda yatuwa ekifo we tusobola okuwulira EKIGAMBO KYE EKITUUKIRIDDE EKYOGERE, nga tunyiga zzannya.
Kitaffe n’okuwa yawa Omugole we omukisa okubuuza ebibuuzo ebyali ku mutima gwaffe tusobole okufuna eky’okuddamu ekituukiridde:
- · Sitaani asobola okukozesa ekirabo ky’ennimi oba obunnabbi mu muntu alina Omwoyo Omutukuvu?
- · Yesu yali ategeeza ki mu Matayo 12, olunyiriri 32?
- · Nsaba onnyonnyole Abakkolinso Ekisooka 13:8-12.
- · Abakyala bakkirizibwa okukola emirimu gya gavumenti nga balina omwami n’abaana abalamu obulungi?
- · Kikyamu omukyala okukola amayengo mu enviiri?
Katonda ataddeyo engeri nnyingi nnyo ez’okuwa omukisa n’okunyweza Omugole we, naye waliwo ekifo kyokka ky’awadde Omugole we w’asobola okuba n’obwesige 100% bye bawulira kye KIGAMBO KYE EKITUUKIRIDDE. Ensulo emu ey’Amazzi Amalamu Obuwungu mwe busobola okunywa okuva awo awatali bikyafu byonna. KUNYIGA ZZANNYA.
Nkuyita okujja okunywa okuva mu Nsulo eyo ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 P.M., obudde bwa Jeffersonville, gye tujja okuwuliriza 64-0823E “Ebibuuzo N’Eby’okuddamu #2.”
Ow’oluganda. Joseph Branham.