25-0727 Okukwakkulibwa

Obubaka: 65-1204 Okukwakkulibwa

BranhamTabernacle.org

Omugole Ataliiko Bukwakkulizo Omwagalwa,

Mukama Yatuwadde obudde akaseera akanyuvu ennyo katyo bwetwabadde mu nkambi sabbiiti ewedde nga bw’Atubikkulira Ekigambo kyE. Yakakasizza, nga Ayita mu Kigambo kyE, nti Abusoluuti waffe ye: Ekigambo kye, Obubaka Buno, Eddoboozi lya Katonda ku ntambi; byonna biri ekintu kye kimu, Yesu Kristo aba obumu jjo, leero n’emirembe gyonna.

Twawulidde engeri sitaani gy’agezaako okwawula Obubaka ku mubaka, naye ettendo libe eri Mukama waffe Yesu, Katonda yennyini yayogedde ng’Ayita mu malayika we ow’amaanyi n’Atugamba nti:

Tukizuula nti omusajja bw’ajja, ng’atumiddwa okuva eri Katonda, nga ayawuliddwa Katonda okuMuweereza, ng’alina BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA, obubaka n’omubaka biba ekintu kimu era bye bimu. Kubanga aba atumiddwa okukiikirira BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA, Kigambo ku Kigambo, n’olw’ekyo ye n’obubaka bwe kiri ekintu kye kimu.

Tosobola kwawula Bubaka ku mubaka, biri ekintu kye kimu, BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Si nsonga eyafukibwako amafuta ow’obulimba yenna ky’ayogera, Katonda yagamba nti biri ekintu kye kimu era tebisobola kwawuzibwamu.

Awo n’Atugamba nti tetwetaaga kagoye kakuŋŋuunta okusengejjamu ebiwuka eby’engeri yonna nga tuwuliriza entambi, kubanga mu Bubaka Buno temuli biwuka wadde oluzzi-zzi oluva mu mibiri gy’ebiwuka oluBwetabiseemu. Lwe luzzi lwE olw’Ensulo olukulukuta bulijjo nga lulongoofu era nga luyonjo. Bulijjo luba lufukumula amazzi okuva ebuziba, terukalira, lugenda bugezi mu maaso nga lufukumula nga lufukumula, nga lutuwa Okubikkulirwa kw’Ekigambo kyE okusingawo era okusingawo.

Yatujjukizza OBUTEERABIRANGA nti endagaano yE naffe teyinza kwegaanibwa, Teteesebwako, naye okusinga byonna, Teriiko bukwakkulizo.

Ka kibeere okwagalwa, okuwagirwa, oba okwewaayo, ekintu bwe kiba nga tekiriiko bukwakkulizo kiba ABUSOLUUTI era nga tekigoberera nkola ez’engeri emu oba obukwakkulizo: kiba kijja kubaawo ne bwe watuukawo ekintu eky’engeri yonna ekirala.

Awo n’Ayagala okunyweza omusumaali, n’Atugamba nti leero Ebyawandiikibwa byE biri mu kutuukirira mu maaso gaffe.

Nti (s-u-n) enjuba y’emu eva mu buvanjuba ye (s-u-n) enjuba y’emu egwa mu bugwanjuba. Era (S-o-n) Omwana wa Katonda y’omu eyajja ebuvanjuba ne Yeekakasa obutaleekawo kabuuza nga Katonda Ayoleseddwa mu mubiri, ye (S-o-n) Omwana wa Katonda y’omu mu kitundu ky’ensi eky’eky’omu bugwanjuba w ano (ensi bwo’gy’awuzaamu wakati bibiri), oyo Ali mu kwemanyisa mu masekkati g’ekkanisa ekiro kyaleero, aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Ekitangaala ky’Omwana eky’akawungeezi kizze. Leero Ekyawandiikibwa kino kituukiridde mu maaso gaffe.

Omwana w’Omuntu azzeemu okujja mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi mu kiseera kyaffe, nga bwe Yasuubiza nti Alikola, okuyitayo Omugole. Ye Yesu Kristo nga Ayogera butereevu gyetuli, era Tekyetaaga kuvvuunula kwa muntu yenna. Kye twetaaga kyokka, kye twagala, lye Ddoboozi lya Katonda okwogera ku lutambi nga liva eri Katonda yennyini.

Kwe kubikkulirwa kw’okwolesebwa kw’Ekigambo nga kifuulibwa eky’amazima. Era tuwangaalira mu lunaku olwo kati; Katonda atenderezebwe; okubikkulirwa kw’ekyama kyE.

Nga kiseera kya kitiibwa Omugole ky’Alimu, ng’agalamidde mu maaso g’Omwana, ng’ayengera. Eŋŋaano ekomyewo nate mu kikula ky’eŋŋaano, era mu ffe temuli kizimbulukusa. Eddoboozi lya Katonda eddoongoofu lyokka nga lyogera naffe, nga Litubumba era nga litwola okudda mu kifaananyi kya Kristo, Ekigambo.

Tuli batabani era bawala ba Katonda, ekikula kyE kye Yateekateekerawo okujja mu mulembe guno, omulembe ogusinga obukulu mu byafaayo by’ensi. Yakimanya nti tetujja kulemererwa, tetujja kwekkiriranya, wabula tujja kuba Omugole wE ow’Ekigambo omutuufu era omwesigwa, Ensigo ye ennangira ekira ku ya bulijjo eya Ibulayimu gye yasuubiza eyali egenda okujja.

Okukwakkulibwa kuli kumpi. Ekiseera kituuse ku nkomerero. Ajja okucima Omugole wE eyeetegese naye ng’atudde mu Maaso g’Omwana, ng’awulira Eddoboozi lyE nga liyambaza Omugole wE. Mu bbanga ttono tujja kutandika okulaba abaagalwa baffe abali ebusukka w’olutimbe lw’ebiseera, abalindiridde era abayaayaana okubeera naffe.

Entambi lye kkubo lya Katonda ly’Ataddewo okutuukiriza Omugole wE. Entambi zino kye kintu kyokka ekijja okugatta Omugole wE. Entambi zino lye Ddoboozi lya Katonda eri Omugole wE.

Nkuyita okujja okutwegattako, ekitundu ku Mugole wE Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira byonna ebikwata ku bigenda okubaawo mu bbanga ttono ddala: Okukwakkulibwa 65-1204 .

Owol. Joseph Branham