Obubaka: 65-1127E Mpulidde Naye Kati Ndaba
Omugole Ayungiddwa ku Mukutu Omwagalwa,
Leero, Ebigambo bino Katonda bye yayogera ng’Ayita mu Mubaka wE Malayika ow’Omusanvu NE KAAKANO bikyatuukirizibwa okuyita mu FFE, OMUGOLE WA YESU KRISTO.
Bwemba sikkiririza mu kugenda mu kkanisa, lwaki nnina ekkanisa? Twabaleetedde bonna okwetoloola eggwanga, okweyunga ku mukutu ekiro kya luli, buli sikweeya mmayiro ebikumi bibiri byabaddemu emu ku kkanisa zange.
Baabadde mu masinzizo, mu maka, mu bizimbe ebitonotono, ne ku ssundiro ly’amafuta; nga basaasaanidde mu Amerika, nga bawuliriza, bonna mu kiseera kye kimu ddala Ekigambo nga kifuluma ne kigenda wonna.
Era leero, tukyali EMU KU MAKANISA GE. AKYALI MUSUMBA WAFFE. Ekigambo kye NE KAAKANO TEKYETAAGA KUVVUUNULA , era NE KAAKANO tukyakuŋŋaanyizibwa okwetoloola ensi yonna, NE TUYUNGIBWA KU MUKUTU, nga tuwuliriza EDDOBOOZI lya Katonda nga Lituukiriza Omugole wa Yesu Kristo.
Leero, Ekigambo kino kikyatuukirizibwa.
Lwaki ekyo baakikola mu kiseera ekyo? Lwaki abasumba baggalawo amakanisa gaabwe okuwulira Obubaka mu kiseera ekyo? Bandibadde balinda bulinzi kufuna ntambi, olwo bo ne babuulira Obubaka bennyini eri abantu baabwe oluvannyuma; era nkakasa bangi abatalina Kubikkulirwa baakola batyo.
Oba olyawo abamu baagamba ebibiina byabwe nti, “Kati muwulirize, tukkiriza Ow’oluganda Branham nnabbi wa Katonda, naye teyagamba nti tulina okumuwuliriza mu makanisa gaffe. Nze ŋŋenda okubuulira ku Ssande eno, ne buli Ssande; mufune entambi muziwulirize mu maka gammwe.”
Omugole mu kiseera ekyo, ddala nga Omugole bw’ali kati, yalina Okubikkulirwa, era nga baagala okuwulira Eddoboozi lya Katonda butereevu bo bennyini. Baayagala okubeera bumu n’Omugole okwetoloola eggwanga okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga bwe lifuluma okugenda wonna. Baayagala okwemanyisa nga abali emu ku kkanisa ze, amaka ge, oba wonna we baabeeranga, n’Obubaka, Eddoboozi, era kaakano, nga z’entambi.
Leero, Ekigambo kino kikyatuukirizibwa.
Lwaki bo baakiraba / ffe tukiraba ate abalala nebatakiraba? Olw’okumanyirawo, twayawulibwa okulaba Kino. Naye mmwe abataayawulibwa, temujja kuKiraba. Eŋŋaano ekiraba era etandise okwesika nga evaayo.
Tekitegeeza nti olina okulekera awo okugenda mu kkanisa yo. Era tekitegeeza nti omusumba wo alekere awo okuweereza. Kitegeeza butegeeza nti obuweereza bungi nnyo n’abasumba bangi nnyo beerabidde EKINTU EKIKULU, era tebagamba bantu baabwe nti EDDOBOOZI ERISINGA OBUKULU ly’oteekwa okuwulira lye EDDOBOOZI lya Katonda ku ntambi.
Okugenda mu kkanisa buli lunaku lwa buli wiiki tekikufuula Mugole; ekyo si kye kyetaago kya Katonda. Abafalisaayo n’Abasaddukaayo enjigiriza eyo baali baagikugukamu bulungi ddala. Baali bamanyi buli nnukuta ya buli Kigambo, naye Ekigambo Ekiramu kyali kiyimiridde AWO WENNYINI mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi, naye baakola ki? Ekintu kye kimu abangi ennyo kye bakola leero.
Bajja kugamba nti, “ebyo byali bibiina bya madiini bye yali ayogerako. Baali bagaanye okukkirizza Ow’oluganda Branham okuyingira mu makanisa gaabwe okubuulira, naye ffe tubuulira Ekigambo ne twogera ekyo kyennyini kye yayogera.”
Ekyo kirungi bya nsusso. Mukama atenderezebwe. Ekyo ky’osaanidde okukola. Naye ate bagamba nti, leero kya njawulo, kikyamu okuzannya entambi z’Ow’oluganda Branham mu kkanisa yo. Tolina njawulo na Bafalisaayo n’Abasaddukaayo, oba amadiini.
Oli munnanfuusi.
Nga bwe kyali mu kiseera ekyo, Ye Yesu, ng’Ayimiridde ku mulyango ng’Akonkona, ng’Agezaako okuyingira okwogera butereevu n’Ekkanisa Ye, era tebajja kuggulawo nzigi zaabwe, era tebajja kuzannya ntambi mu masinzizo gaabwe. “Tajja kujja mu kkanisa yaffe ate abuulire”.
Omulabe agenda kukikyusa ekyo era akiruke-luke mu njuyi nnyingi nnyo anti AKYAWA okwasanguzibwa, naye wadde kiri kityo, kiri mu kweyolekera mu maaso gaffe gennyini era bangi bali mu kwesikamu nga bavaayo.
“Ku lubereberye waaliwo” [Ekibiina kigamba nti, “Ekigambo,” —Ed.] “Kigambo n’aba awali” [“Katonda,”] “Kigambo n’aba” [“Katonda.”] “Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeerako gye tuli.” Ekyo kituufu? Kaakano tulaba Ekigambo ekyo kyennyini ekyasuubizibwa, ekya Lukka, ekya Malaki, ebisuubizo bino ebirala byonna okuva leero, nga bifuuka omubiri, nga biwangaala naffe, oyo gwe twawulira n’amatu gaffe; kaakano tuMulaba (n’amaaso gaffe) ng’Avvuunula Ekigambo kyE, tetwetaaga kuvvuunula kwonna kwa muntu. Ayi Ekkanisa ya Katonda omulamu, abali wano n’abali ku masimu, zuukuka mangu, nga tebunnakeerewa!
Mugguleewo emitima gyammwe muwulire Katonda bye Yaakabagamba mmwe, amakanisa ge gonna. Kaakano tuMulaba, n’amaaso gaffe, NGA AVVUUNULA EKIGAMBO KYE YE. Tetwetaaga kuvvuunula kwonna kwa muntu!! ZUUKUKA NGA TEBUNNAKEEREWA!!
Ebintu bino tubiwuliddeko obulamu bwaffe bwonna ebyali bigenda okubaawo mu kiseera eky’enkomerero. Kaakano tulaba n’amaaso gaffe nga bigenda mu maaso.
Yatugamba nti, waliwo EKKUBO LIMU LYOKKA, ERYO LY’EKKUBO LYA KATONDA LYE YATEEKERAWO OMUGOLE WE. OTEEKWA OKUSIGALA N’EDDOBOOZI LYA KATONDA KU NTAMBI.
Mpita ensi okujja okutwegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), tuwulire Ekkubo lya Katonda lye Yateekawo kulw’olwaleero. Olwo naawe oyinza okugamba nti, “Nkuwuliddeko, naye kati nkulaba”.
Owol. Joseph Branham
Obubaka: 65-1127E Mpulidde Naye Kati Ndaba
Ebyawandiikibwa
Olubereberye 17
Okuva 14:13-16
Yobu essuula 14 ne 42:1-5
Amosi 3:7
Makko 11:22-26 ne 14:3-9
Lukka 17:28-30