25-0622 Ebikolwa Kwe Kukkiriza Okwolesebwa

Obubaka: 65-1126 Ebikolwa Kwe Kukkiriza Okwolesebwa

BranhamTabernacle.org

Ekigambo Ekifuuse Omubiri Abaagalwa,

Aleruuya! Akalimiro akagimu okumukulira ensigo mu mutima gwaffe kategekeddwa okuyita mu kuwulira Ekigambo era Kitubikkulidde nti, YE FFE Mugole wa Kristo ow’empisa; omwana wa Katonda ow’omuwendo, ow’empisa, atalina kibi, ng’ayimiridde n’Ekigambo Omugole ekiroongoofu, ekitatabikiddwamu birala, nga anaazibwa Amazzi g’Omusaayi Gwe Yennyini.

Tufuuse Ekigambo ekyoleseddwa ekifuuse omubiri, Yesu asobole okututwala ffe, be Yategekerawo nga ensi tennatondebwa, mu kifuba kya Kitaffe.

Ensi esobola okulaba okulaga mu bikolwa okw’Okukkiriza kwaffe ku ngeri gye twali tweyisaamu, n’okulaga nti tulina Okubikkulirwa okwa nnamaddala okuva eri Katonda okw’Ekigambo kyE ekyakakasibwa obutalekaawo kabuuza, era TETULIIMU KUTYA. Tetufaayo ku nsi yonna ky’eyogera oba ky’ekkiriza…TETULIIMU KUTYA. Okunyiga Zannya lye kkubo lya Katonda lye Yateekerawo Omugole wa Yesu Kristo.

Eriyo bangi abagamba nti bakkiriza Obubaka buno obw’ekiseera eky’enkomerero, bakkiriza Katonda yatuma nnabbi, bakkiriza nti William Marrion Branham ye yali omubaka malayika ow’omusanvu, bakkiriza nti yayogera Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama, naye TEBAKKIRIZA nti Eddoboozi eryo lye ddoboozi erisinga obukulu ly’oteekwa okuwulira. Tebakkiriza nti yayogera Ebigambo by’obwa nnantakola-nsobi. Tebakkiririza mu kuzannya ntambi mu masinzizo gaabwe.

Ekyo kitegeeza ki? KITEGEEZA NTI TEKINNABABIKULIRWA!

Kuno kubikkulirwa. Akikubikkulidde olw’ekisa kyE. Si kintu kyonna kye wakola. Teweekolerera kuyingira mu kukkiriza. Bulijjo obaddenga olina okukkiriza, kukuweebwa kisa kya Katonda. Era Katonda akikubikkulira, n’olwekyo okukkiriza kubikkulirwa. Era Ekkanisa ya Katonda yonna ezimbiddwa ku kubikkulirwa.

Olw’OKUKKIRIZA kitubikkuliddwa nti Obubaka buno lye Ddoboozi lya Katonda ku ntambi eryakwatibwa ku ntambi, ne literekebwa, okuliisa n’okutuukiriza Omugole wa Yesu Kristo.

KWE KUKKIRIZA okwa nnamaddala, okutatabikiddwamu birala mu ekyo Katonda kye yagamba nti ge Mazima. Era Kusudde ennanga mu mutima ne mu mmeeme zaffe era tewali kigenda kuKusigula. Kugenda kusigala awo wennyini okutuusa nga nabbi wE atwanjudde eri Mukama waffe.

Tetusobola kweyamba. Yatuteekateeka okusembeza n’okukkiriza Ekyo ng’ensi tennatondebwa. Yakimanya nti tujja kusembeza Eddoboozi lyE mu mulembe guno. Yatumanyirawo era n’Atwawulirawo okuKisembeza.

Olwo, emirimu Omwoyo Omutukuvu gy’Akola leero, okuyita mu kwolesebwa kuno okutalemereddwako, ebisuubizo ebitalemereddwako, obubonero bwonna obw’abatume obwasuubizibwa mu Baibuli, obwa Malaki 4, era, oh, Okubikkulirwa 10:7, ebyo byonna biri mu kutuukirira; era nga bikakasiddwa ebya ssaayansi, mu buli ngeri endala. Era bwemba nga sibagambye Mazima, ebintu bino tebyandibaddewo. Naye bwemba nga mbagambye Amazima, bino bwe bujulizi nti mbagambye Amazima. Akyali y’omu, jjo, leero, n’emirembe gyonna, era okwolesebwa kw’Omwoyo gwe kuli mu kweddiza ku bbali Omugole. Leka okukkiriza okwo, okubikkulirwa okwo kugwe mu mutima gwo, nti, “Eno y’essaawa.”

Eno y’essaawa. Buno bwe Bubaka. Lino lye ddoboozi lya Katonda eriyitayo Omugole wa Yesu Kristo. Ayi Ekkanisa, nsaba Mukama Ategeke obulimiro obugimu okumukulira ensigo obw’omutima gwo okubeera n’Okukkiriza era Akubikkule nti okuwulira Eddoboozi lino, ku ntambi, kye kijja okutuukiriza n’okugatta Omugole wa Yesu Kristo.

Nziramu okubayita okujja okutwegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), okutwala OKUKKIRIZA kwammwe ku ddala erya waggulu ko, era mutuule wamu naffe mu bifo eby’omu ggulu nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lituteekateekera okujja kwE okubindabinda.

Owol. Joseph Branham

Nsaba mutukumire mu ssaala sabbiiti ejja nga tutandika enkambi yaffe esooka eya Still Waters Camp.

Obubaka : Ebikolwa Kwe Kukkiriza Okwoleseddwa 65-1126

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma:
Olubereberye 15:5-6, 22:1-12
Ebikolwa 2:17
Abaruumi 4:1-8, 8:28-34
Abeefeso 1:1-5
Yakobo 2:21-23
Omut. Yokaana 1:26, 6:44-46