Obubaka: 60-0522M Okutongozebwa #3
Omuwala Omulongoofu Omwagalwa,
Bwetunyiga Zannya, guba mubisi gw’enjuki mu lwazi, ssanyu eritoogerekeka, bwe bukakafu obuweereddwa omukisa, ye nnanga ewaniridde emmeeme yaffe, lye ssuubi lyaffe n’okubeerawo kwaffe, lye Lwazi lw’Edda n’Edda, buli kimu ekirungi, lye kkubo lya Katonda lye Yateekawo kulw’olwaleero.
Olw’okuba nga tunyiga Zannya, Eddoboozi lya Katonda Litwanjuddeyo; Litufumbizza eri Kristo, nga Omuwala Omulongoofu eri Ekigambo kyE. Tulina Omusomesa Omu yekka, Eddoboozi Limu, Nabbi Omu, ali mu kutukulembera nga akozesebwa Omwoyo Omutukuvu.
Wabula eno ye kkanisa, ndi mu kubayigiriza. Kino kigenda ku ntambi. Njagala abantu abawuliriza entambi bajjukire nti kino kiri eri ekkanisa yange.
Nga kukakasibwa nnyo gye tuli nti tuli mu Kwagala kwE okutuukiridde. Entambi zino zigendereddwa kugenda eri kkanisa ye. Atuyigiriza. Atugamba nti, muwulirize entambi.
Yatandika entambi ez’omuddiriŋŋanwa zino ez’Okutongozebwa ng’atubuulira ebyali byakabaawo mu nnaku ezaali zaakayita. Olwo, ku buli Bubaka, ayogera ku kaseera ako lwe yakyusibwa n’adda mu mubiri guli. Nga kiteekwa okuba nga kikulu nnyo Omugole okuwulira ebyaliyo n’Omugole bye yamugamba.
Nabbi waffe alisalirwa omusango okusinziira ku Kigambo kye yabuulira n’aleka ku ntambi. Omugole ku ludda luli olulala yamugamba nti alikkirizibwa Mukama waffe. Olwo alitwanjula gy’Ali ng’ebikompe by’obuwanguzi bw’obuweereza bwe , olwo tuddeyo ku nsi tubeere balamu emirembe gyonna.
Buli Kigambo kye tuwulira kiba kitole kya jjinja lya muwendo. Tukanya kuKiyooyoota n’okuKiyooyoota nga bw’Abikkula ebisingawo nga bwe tusoma wakati w’ennyiriri.
Nga twagala nnyo okukigabana ne baganda baffe ne bannyinaffe, “Bino mwawulidde?”
“Yatulonda mu Ye nga tewannabaawo yadde nsi”? Obwo bwe busika bwaffe. Katonda Yatulonda, n’Aleka Yesu ajje asasule omuwendo. Gwe guliwa? Okuyiwa kwE Omusaayi gwE, waleme okubaawo ekibi ekyonna ekitubalirwako. Mpaawo ky’okola nga ggwe.
Awo, amangu ddala oluvannyuma lw’ekyo, kano wakafunye?
“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama.” Amaaso go ogatunuuliza Kaaluvaliyo, era tewali kigenda kukuyimiriza! Entambula yokka ey’obulamu bwo, oli mu kutambulira mu Luguudo olugulumivu lwa Kabaka, ng’ofukiddwako Amafuta ag’omuwendo, ng’oyingira Awatutukuvu w’Awatukuvu. Whew! Amiina .
Twabadde nga omuggo gwa Alooni, omuggo omukadde ogwakalambala gwe yali atambudde nagwo okumala emyaka amakumi ana mu ddungu. Naye kati, olw’okuba nga tugalamidde mu Kifo ekyo Ekitukuvu nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera naffe ku ntambi, tutandise okuloka n’okutintimuka, nga tujjudde Omwoyo we Omutukuvu, era tuli Mugole wE Aleekaana okumalirayo ddala amawuggwe gaffe:
- Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama, entambi ze zisooka mu mitima gyaffe.
- Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama, Yatulonda nga ensi tennatandikibwawo.
- Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama, yeffe Mugole wa Yesu Kristo.
- Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama, tekikola njawulo yonna omuntu yenna ky’ayogera, tetuggyaayo ntambi ze tumaze kuta kusaasaanira mu bantu, twongera bwongezi kuzizannya.
- Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama, amaaso gaffe tugatunuulizza Kaluvaaliyo, era tewali kigenda kutuyimiriza.
Ndi musanyufu nnyo okugatta emitima n’abangi wano abamanyi nti Kino kye kigambo kya Katonda nnantakola nsobi. Olwo Kyo, Kiba buli Kigambo Mazima, buli Kigambo ekiri mu Kyo, buli mutendera gwakyo. Era n’olw’ekisa kya Katonda, nga bafunye omukisa okulaba Ensi eyo olunaku olumu gye tuligendamu.
Jjangu twegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga nnabbi atwala buli Kigambo n’akanya kuKiyooyoota. Ajja kuKitwala mu Olubereberye aKiyooyootere eyo, aKivvuunuse akizze mu Okuva addemu aKiyooyoote, ate aKigguse ne mu Kubikkulirwa; era ye Yesu, buli katundu akaKirimu!
Owol. Joseph Branham
Obubaka :
Okutongozebwa #3 60-0522M
Ebyawandiikibwa :
Matayo 28:19
Yokaana 17:7-19
Ebikolwa 9:1-6, Essuula 18 ne 19 zonna
Abaruumi 8:14-19
1 Abakkolinso 12:12-13
Abaggalatiya 1:8-18
Abeefeso Essuula 1 yonna
Abebbulaniya 6:4-6, 9:11-12