24-0929 Ekisumuluzo Ky’Oluggi

Obubaka: 62-1007 Ekisumuluzo Ky’Oluggi

PDF

BranhamTabernacle.org

Abakutte Ebisumuluzo by’Okukkiriza Abaagalwa,

 “Nze Omulyango oguyingira mu kisibo ky’endiga. Nze Ekkubo, Ekkubo lyokka, Amazima, n’Obulamu, era tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze. Nze Omulyango oguyingira eri ebintu byonna, n’okukkiriza kye kisumuluzo ekisumulula Omulyango ogwo ggwe osobole okuyingira.”

Waliwo omukono gumu gwokka ogusobola okukwata ekisumuluzo kino, era ogwo gwe mukono gw’OKUKKIRIZA. OKUKKIRIZA kye kisumuluzo kyokka ekisumulula ebisuubizo bya Katonda byonna. OKUKKIRIZA mu mulimu gwE oguwedde kusumulula buli mulyango eri buli kya bugagga ekiri munda mu Bwakabaka bwa Katonda. OKUKKIRIZA kye Kisumuluzo kya Katonda kiri ki Muggula-buli-kinyolo ekisumulula BULI LUJJI LW’OMUGOLE WE era Tukutte Ekisumuluzo ekyo mu MUKONO gwaffe OGW’OKUKKIRIZA.

Ekisumuluzo ekyo eky’okukkiriza kiri mu mitima gyaffe, era tugamba nti, “Kye Kigambo kya Katonda; By’ebisuubizo bya Katonda gye tuli, era ffe tukutte ekisumuluzo”. Era awo, na buli katundu k’okukkiriza ke tulina, nga tetubuusabuusa yadde akatundu akamu, tusumulula buli mulyango oguyimiridde wakati waffe n’emikisa Katonda gy’Atutegekedde. Kuzikiza effujjo ly’omuliro. Kusumulula okuwonya eri abalwadde. Kusumulula obulokozi bwaffe. Tutuuse ku Mulyango era kyonna kye tukola mu kigambo oba mu bikolwa, byonna tubikola mu Linnya Lye, nga tumanyi nti tulina ekisumuluzo ky’okukkiriza; era nga kisumuluzo ekikoleddwa mu Byawandiikibwa.

Tetufaayo ku muntu yenna ky’alowooza, waliwo ekintu kimu ekikakafu: Katonda Yatuyita FFE, Yatutegekerawo FFE, Yatubikkulira Ekigambo kye FFE, N’Atubuulira kye tuli, era tuli bamalirivu okugoberera Ekigambo kye, kubanga Atuyise okubeera Omugole We.

Kitaffe yakwata emmunyeenye ze omusanvu, ababaka be omusanvu, abatumibwa eri emirembe omusanvu mu mukono Gwe. Abakutte mu mukono Gwe, bwe batyo bakwatagana n’amaanyi ge. Ekyo omukono kye gutegeeza. Kitegeeza amaanyi ga Katonda! N’obuyinza bwa Katonda.

Tukutte Ekigambo kye mu mukono gwaffe ogw’Okukkiriza, ekitegeeza nti amaanyi n’obuyinza bwa Katonda buli mu MIKONO GYAFFE era Atuwadde EKISUMULUZO okusumulula buli mulyango ku buli kimu kye twetaaga. Kye Kisumuluzo Mukama wa buli lujji ekigenda okusumulula BULI LUJJI.

Kaakano mmanyi lwaki Katonda Yatuwa engalo 5 mu buli mukono; si 4, si 6, wabula 5, kibe nti buli lwe tunatunuulira emikono gyaffe tujja kujjukira, tulina OKUKKIRIZA okusumulula buli luggi.

Kabonero ak’olubeerera eri olulyo lw’omuntu bwetutyo tulemenga okwerabira; bulijjo tujjukirenga era tufunenga obuvumu, nti OKUKKIRIZA okwo tukukutte mu mikono gyaffe. Era Ajja kukuza okukkiriza kwaffe okw’akasigo ka kalidaali era Atuwe OKUKKIRIZA KWE OKW’EKITALO MU KIGAMBO KYE EKITALEMERERWA, EKISIGALAWO LUBEERERA EKITALIREMERERWA!!!

Tusobola okuwanika emikono gyaffe nga gitunudde eri Eggulu, ne twanjuluza engalo zaffe 5 ku buli mukono ne tuMugamba nti, “Kitaffe, tukkiriza era tulina OKUKKIRIZA mu buli Kigambo kyeWayogera. Kye Kisuubizo Kyo, Ekigambo Kyo, era Ojja kutuwa OKUKKIRIZA KWE TWETAAGA singa tunakkiriza bukkiriza….era TUKKIRIZA.”

Nga bwetutajja kuba na Lukuŋŋaana lwaffe Olw’Okussa Ekimu okutuusa ku Ssande akawungeezi, njagala okubakubiriza okulondawo Obubaka bwemugenda okuwulira n’Ekkanisa yammwe, ab’omu maka gammwe, oba ssekinnoomu, ku Ssande ku makya, mu kiseera ekikusaanira. Mazima ddala tewali ngeri ndala esinga ey’okwekenneenyaamu Okukkiriza kwaffe esinga ku kuwulira Ekigambo; kubanga OKUKKIRIZA kujja na kuwulira, okuwulira Ekigambo, n’Ekigambo kyajja eri nnabbi.

Olwo ffenna twegatte wamu ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi. (mu budde obw’omu kitundu ky’olimu) okuwuliriza Obubaka, 62-1007 Ekisumuluzo Ky’Olujji. Nga bwe kyalangiddwa, nnandyagadde okufuula luno Olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’Okussa Ekimu, olugenda okuzannyibwa ku Voyisi Leediyo ku ssaawa 5:00 11:00 (kkumi n’emu)  ez’omu kawungeezi (mu budde bwe Jeffersonville, z’essaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttumbi e Uganda). Osobola okuwanula n’okuzannya olukuŋŋaana luno mu Lungereza oba ennimi endala ng’onyiga wano: MUKUTU GUNO.

Okufaananako n’enkuŋŋaana endala ez’Okussa Ekimu Okw’Awaka eziyise, ku nkomerero y’olutambi Ow’oluganda Branham ajja kusabira omugaati ne wayini. Wajja kubaawo ennyimba ezikubibwa ennanga okumala eddakiika eziwerako okubasobozesa mwenna okumaliriza ekitundu ky’Olukuŋŋaana eky’Okussa Ekimu. Olwo, Ow’oluganda Branham ajja kusoma Ebyawandiikibwa ebikwata ku kunaaza ebigere, era Ennyimba z’Enjiri zijja kugoberera okusoma kwe okumala eddakiika eziwerako, okubasobozesa mwenna okumaliriza ekitundu ky’Olukuŋŋaana eky’okunaaza ebigere.

Nga mukisa nnyo gwe tulina okuyita Mukama waffe Yesu okulya na buli omu ku ffe mu maka gaffe, mu makanisa gaffe, oba wonna w’oli. Munsabire bwe muba mwogerako naye, nga nange ddala bwe njija okuba nga mbasabira.

Katonda abawe omukisa,

Ow’oluganda Joseph Branham