EKIRANGO KY’ENJAWULO

Omugole omwagalwa,

Mukama akitadde ku mutima gwange okuddamu okuba n’Obubaka obw’enjawulo n’olukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu mu kiro ekisembayo ng’Omwaka omuggya tegunnatandika omwaka guno nate. Kisingawo bukulu ki kye tuyinza okukola, mikwano, okusinga okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera gyetuli, nga tulya ku kijjulo kya Mukama waffe, n’okuddamu okuwaayo obulamu bwaffe eri obuweereza bwe nga bwe tuyingizaawo omwaka omuggya. Nga kinaaba kiseera kitukuvu okuggalira ensi ebweru, n’okwegatta n’Omugole olw’olukuŋŋaana luno olw’enjawulo mu Kigambo, nga bwe tugamba okuva mu mitima gyaffe, “Mukama, tusonyiwe ensobi zonna ze tukoze okuyita mu mwaka gwonna; kaakano  tusembera gy’Oli, nga tusaba oba onootukwata ku mukono n’otuluŋŋamya omwaka guno ogujja. Leka tukuweereze okusinga bwe twali tukikoze, era bwe kuba nga kwe kwagala Kwo okw’Obwakatonda, ka gubeere omwaka gw’Okukw     akkulibwa okukulu okugenda okw’okubaawo. Mukama, twagala bwagazi kudda waka tubeere naawe okuyita mu Butaggwawo.” Siyinza kulinda kukuŋŋaana okwetoloola Nnamulondo Ye olw’olukuŋŋaana luno olw’enjawulo olw’okwewongawo obuggya, Mukama atenderezebwe.

Kulw’abakkiriza mu kitundu kya Jeffersonville, njagala olutambi lutandikibwe ku ssaawa 1:00 (emu) ey’omu kawungeezi mu budde obw’omu kitundu kyaffe. Obubaka n’olukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu mu bulamba bwalwo lujja kuba ku Voyisi Leediyo mu kiseera ekyo, nga bwe tukozenga emabega. Tujja kubaawo n’obuta bw’envinyo ku Lwokusatu Omwezi Ogw’Ekkumi N’ebiri Ennaku Z’Omwezi 18, okuva ku ssaawa 7:00 (musanvu) ez’omu ttuntu – 11:00 (ez’omu kawungeezi), osobole okubucima ku kizimbe kya YFYC.

Kulwa mmwe abeera ebweru w’ekitundu kya Jeffersonville, nsaba mubeere n’olukuŋŋaana olwo olw’enjawulo mu kiseera ekibasaanira. Tujja kuba n’akayungiro akayinza okuwanulibwayo nga kaliko Obubaka n’olukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu mangu ddala.

Nga bwe tusemberera Oluwummula lwa Ssekukkulu, njagala okukwagaliza ggwe n’ab’omu maka go Entuuko z’Oluwummula ENNYUVU era ENTEBENKEVU, era MMERI KRISTOmaasi, ejjudde essanyu lya Mukama waffe Yesu eyazuukira…EKIGAMBO.

Katonda abawe omukisa,

Ow’oluganda Yusufu

Ensibuko : https://branhamtabernacle.org/en/bt/F6/110067