26-0208 Ebibuuzo N’Eby’Okuddamu #3

Obubaka: 64-0830M Ebibuuzo N’Eby’Okuddamu #3

BranhamTabernacle.org

Eyazaalibwa Eri Kristo Omwagalwa,

Omuntu ayinza atya okuteeka ebigambo obugambo ebigwaawo ku okwagala n’essanyu ebiri mu mitima gyaffe okumanya Okubikkulirwa okw’amazima okw’Ekigambo kye ku lw’olunaku lwaffe? Okulowooza, tetwalina kakwate konna ku kyo, naye YE, Omukulu NDI, olw’okulonda kwe, yatwawula edda okuba n’ekintu ekisinga obukulu ky’ayinza okutuwa, OKUBIKULIRWA KW’EKIGAMBO KYE KU LW’OLUNNAKU LWAFFE.

Yalinda, okutuusa ekiseera ekijjuvu lwe kyatuuka, okussa omukka ogw’obulamu mu ffe, tusobole okuwulira ng’ayogera naffe n’agamba nti:

Kati, nfubye nga bwe nsobola —oku —okubabuulira abantu n’okubakulembera nga taata bw’akulembera abaana be. Mmwe muli baana bange; Mbazadde eri Kristo okuyita mu Njiri eno gye mbuulira. Okilaba? Era nze —nze —njagala okubakuza nga abaana abakuze mu bujjuvu, oba —oba abaana. Era njagala okukuyanjula eri Kristo ku lunaku olwo, nga Pawulo bwe yagamba nti, “Embeerera enongoofu.” Tewali kintu mu Kigambo ekyo wabula omutima gwo kye gunayogera nti “amiina” ku kyo.

Katonda, ng’ayogera okuyita mu malayika we ow’amaanyi, atulungamya era atukulembera, Omugole wa Yesu Kristo. Ffe tuli mbeerera ye ekuze mu bujjuvu, enongoofu, abaana. Era olw’ekisa kye ekyewuunyisa, buli Kigambo kye tuwulira tukiteekako AMEN! Kwe kuvvuunulwa okutuukiridde okwe Ekigambo n’okukakasibwa okwo bw’Obwakatonda!

· Bwe kiba nti Eddoboozi lye tuwulira ku ntambi liri: kwe kutaputa Ekigambo okutuukiridde, kiki ekirala Omugole wa Yesu Kristo kye yetaaga?…TEWALI!

Alonze FFE, akabinja ke akatono ke yalonda n’omukono, okubeera n’Okubikkulirwa kw’Ekigambo kye okwa nnamaddala okw’olunaku lwaffe. Ffe be yalonda okubeera ku nsi, mu mibiri egikwatikako, mu myaka lukumi egy’obufuzi bwa Meliniyamu.

Bannange, ekyo ka tukimalire ko eddakiika emu.

Tujja kuba n’omubiri ogugulumiziddwa wano wennyini ku nsi. Tujja kuba tulya, tunywa, tuzimba amayumba, nga tubeera nga bwe tukola kati okumala emyaka lukumi. Kijja kuba honeymoon yaffe nga Omugole (FFE) naana wasa Omugole (Mukama Yesu Kristo) bafuuse OMU.

Tutunuulira era tulindirira ekiseera kino eky’ekitiibwa buli ddakiika ya buli lunaku. Ekisebedde kirabika kumpi tusobola okugikwatako. Nzikiriza, n’omutima gwange gwonna, kino kye kitutuukako leero:

Oh, okwegatta okwo okw’omwoyo okwa Kristo n’Ekkanisa Ye kati, ng’omubiri gufuuka Kigambo, n’Ekigambo nga kifuuka omubiri, nga kyeyolekera, nga kikakasibwa. Ekyo kyennyini Baibuli kye yagamba nti kye kyandibaddewo mu lunaku luno, kigenda mu maaso, buli lunaku. Lwaki, kyeŋŋaanyiza mangu nnyo ebweru awo, mu ddungu eryo, n’ebintu ebigenda mu maaso, nga sisobola kubivvunganya nabyo. Tuli kumpi n’Okujja kwa Yesu, okwegatta n’Ekkanisa ye, Ekigambo gye kifuuka Ekigambo.

Buli Bubaka bwe tuwulira,gye yeeyongera okutuwa okubikkulirwa’. Kikuŋŋaanyizibwa mangu nnyo nga tetusobola bulungi kuvvuunganyana kyo. Tulaba Ekigambo nga kifuuka Kigambo nga bwe kitabangawo. Tewali kisiikirize ne kimu eky’okubuusabuusa n’okumu; nga tuyita mu Kubikkulirwa, TUMANYI ddala kye tuli.

Ali kugatta Mugole we nga bwe yagamba nti ajja kumugatta, era tuli kitundu ku Kyo. Tukilaba nga kigenda mu maaso n’amaaso gaffe. Abalala bayinza obutakiraba oba okukitegeera. Si kyabwe, KYA FFE, ABAANA BE YAZAALA.

Omugole yalina ebibuuzo by’ayagala okubuuza nnabbi.

Kimala okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda lyOKKA ku ntambi? Katonda n’addamu n’agamba nti: YEE!!

Abaana baffe nabo basobola okufuna byonna bye beetaaga okubeera Omugole wa Kristo olw’kuwuliriza entambi: YEE!!

Bwe kityo, Omugole kye yeetaaga kyonna kiri KU NTAMBI.

Era tukimanyi nti Katonda awadde abaana be amakubo amalala mangi nnyo.

“Mwawonyezebwa olw’emiggo gye.” Kati, okusooka Ekigambo kigamba bwe kityo, ekyo kimalaira ddala, naye bw’oba tokikkiriza mu Kigambo, olwo waliwo ebirabo mu kkanisa, gamba ng’abasajja abaluŋŋamizibwa okumanya engeri y’okuyigiriza ekyo, ekyo ekijja kukifuula nga kitegeerekeka ennyo gy’oli, ekyo, n’okukkiriza okukkiriza.

Twebaza nnyo Katonda yawa abasajja abaluŋŋamizibwa okumanya okuyigiriza okuwonyezebwa n’Ekigambo kye okukitegeeza abalala, naye Omugole we ayagala ENGERI Ye ETUUKIRIDDE EMATIZA GYE YATEEKAWO. Kye kyokka kye TWETAAGA.

Njagala okukuyita okujja okwegatta ku Branham Tabernacle ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 P.M., obudde bwa Jeffersonville, nga bwe tuwulira: Ebibuuzo N’Eby’okuddamu #3 64-0830M.

Nga kirungi nnyo okuba n’Okubikkulirwa kw’Ekigambo kye n’okumanya nti tuli Kigambo ekyafuulibwa omubiri.

Owo. Joseph Branham.