25-0713 Ekifo Kyokka Katonda Kye Yeroboza Eky’okusinzizamu

Obubaka: 65-1128M Ekifo Kyokka Katonda Kye Yeroboza Eky’okusinzizamu

BranhamTabernacle.org

Ab’enju Ya Yesu Kristo Abaagalwa,

Waliwo ekigenda mu maaso nga bwe kitabangawo mu Mugole wa Kristo okwetoloola ensi yonna. Ebintu bye tuwuliddeko era bye twegombyenga okulaba kati byeyolekera mu maaso gaffe.

Omwoyo Omutukuvu ali mu kugatta Omugole We nga bwe yagamba nti Alikola, nga Akozesa ekkubo lye LYOKKA lye Yateekerawo olwaleero, Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.

Ali mu kubikkula n’okukakasa Ekigambo kyE obutalekaawo kabuuza nga bwe kitabangawo. Okufaananako n’oluzzi lw’ensulo, Okubikkulirwa kwesundira munda mu ffe.

Okwegatta okwo okw’omwoyo okwa Kristo n’Ekkanisa ye kati, ng’omubiri gufuuka Kigambo, n’Ekigambo nga kifuuka omubiri, nga kyoleseddwa, nga kikakasiddwa obutalekaawo kabuuza. Ekyo kyennyini Baibuli kye yagamba nti kiribaawo mu lunaku luno, kigenda mu maaso, buli lunaku. Lwaki, kyeyongera obungi ku bwangu obw’ekitalo ennyo ebweru awo, mu ddungu eryo, era ebintu nga bigenda mu maaso, okutuusa nga sisobola na kwekuumira mu mbeera ey’okumanya buli kyakagwawo.

Buli lunaku Okubikkulirwa okusingako era okusingako kuli mu kubikkulwa era ne kweyoleka gye tuli. Okufaananako ne nabbi, ebintu bigenda mu maaso era bituukawo ku bwangu obw’ekitalo, tetusobola na kwekuumira mu mbeera ey’okumanya buli kyakagwawo…EKITIIBWA!!!

Ekiseera kyaffe kituuse. Ebyawandiikibwa biri mu kutuukirira. Omubiri guli mu kufuuka Kigambo, n’Ekigambo kiri mu kufuuka omubiri. Ekyo kyennyini nnabbi kye yagamba nti kijja kubaawo kati kigenda mu maaso.

Lwaki ffe?

Tewali kizimbulukusa, tewali ddoboozi litategeerekeka, wadde okuvvuunula kw’omuntu mu masekkati gaffe. Tuli mu kuwuliriza buwuliriza Kigambo Ekituukirivu Ekirongoofu okuva mu kamwa ka Katonda nga bw’Ayogera naffe kamwa ku kutu.

Kati tulaba Ekigambo ekyo kye kimu ekyasuubizibwa, ekya Lukka, ekya Malaki, ebisuubizo bino ebirala byonna okuva leero, nga bifuuse omubiri, nga biwangaala naffe, gwe twawuliranga n’amatu gaffe; kati tuMulaba (n’amaaso gaffe) ng’Avvuunula Ekigambo kyE, tetwetaaga kuvvuunula kwonna kwa muntu .

Omugole, mu ngeri ennyangungu tekisobola kufuuka kirambulukufu nnyo kusukka awo. Ye Katonda, ng’Ayimiridde mu maaso g’Omugole we mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi, gwe tusobola okulaba n’amaaso gaffe, ng’Ayogera era ng’Avvuunula Ekigambo kyE, era ng’Akiteeka ku lutambi. Ekigambo Ekituukiridde ekyayogerwa Katonda yennyini era ne kikwatibwa Katonda yennyini ku lutambi, bwekityo tekyetaaga kuvvuunula kwonna kwa muntu.

  • Katonda ali mu kwogera butereevu eri Omugole wE, ku ntambi.
  • Katonda ng’Avvuunula Ekigambo kyE, ku ntambi.
  • Katonda nga Yeebikkula, ku ntambi.
  • Katonda nga Agamba Omugole wE, teweetaaga kuvvuunula kwa muntu kwonna, Ekigambo kyaNge ku ntambi kye byonna OMUGOLE WANGE BYE YEETAAGA.

Jjukira nti bw’ova wano, tandika okuva mu kisusunku kati; ogenda kufuuka mpeke, wabula galamira mu Maaso g’Omwana. Toyongerako, bye njogedde; totoolako, bye njogedde. Kubanga, njogera Amazima okusinziira nga bwe Ngamanyi, nga Kitaffe bw’Agampadde. Olaba?

Katonda ateereddewo Omugole EKKUBO LYOKKA ETTUUKIRIVU mw’ayinza okukolera nga bwe Yatulagira okukola. Kino tekisobokangako, okutuusa leero. Tewali kuteebereza, tewali kwewuunya, tewali kubuusabuusa oba waliwo ekintu kyonna ekyongeddwako, ekitooleddwako, oba ekivvuunuddwa. Omugole aweereddwa Okubikkulirwa okwa nnamaddala: OKUZANNYA ENTAMBI LYE KKUBO LYA KATONDA ERITUUKIRIDDE.

Okukikakasa obulungi singa kiba tekiggumidde, kanziremu nkyogere. Okubikkulirwa kwange kuli nti Omugole wa Yesu Kristo, so si abalala, OMUGOLE, TEYEETAAGA KIRALA KYONNA wabula Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.

Naye Omwoyo Omutukuvu ddala…Ekigambo ekya nnamaddala bw’Amala okuyingira mu ggwe(Ekigambo, Yesu), olwo, ow’oluganda, Obubaka buba tebukyali kyama gy’oli olwo; oba oKimanya, ow’oluganda, Kyonna kiba kimulisiddwako ekitangaala mu maaso go. 

Obubaka si kyama gyendi. Yesu Kristo y’omu jjo, leero n’emirembe gyonna. Eggulu n’ensi byonna biyitibwa Yesu. Yesu ye Kigambo.

Era Erinnya liri mu Kigambo kubanga Ye Kigambo. Amiina! Olwo Ye ki? Ekigambo ekivvuunuddwa kwe kwolesebwa kw’Erinnya lya Katonda.

Katonda ali mu kugatta Omugole We nga akozesa Eddoboozi lye, lye yakwata ku lutambi n’Aliterekera olwaleero, asobole okugatta Omugole We wamu nga Ekitole Ekimu. Omugole ajja kukiraba era akitegeere nti y’ENGERI YOKKA gy’Ayinza okugatta Omugole wE.

Yakikola emyaka egisukka mu 60 egiyise okutulaga engeri gy’agenda okukikola leero. Tuli “emu ku kkanisa ze eziyungiddwa ku mukutu gw’oku ssimu.”

Bwemba sikkiririza mu kugenda mu kkanisa, lwaki nnina ekkanisa? Twabaleetedde bonna okwetoloola eggwanga, okweyunga ku mukutu ekiro kya luli, buli sikweeya mmayiro  ebikumi bibiri byabaddemu emu ku kkanisa zange.

Abaweereza bangi bagamba amakanisa gaabwe nti okubeera ku “mukutu gw’oku ssimu” oba “okuwuliriza butereevu mu kiseera ekyo kyennyini”, “okuwuliriza Obubaka bwe bumu mu kiseera kye kimu”, si kugenda mu kkanisa. YAAKAMALA OKUKYOGERA NTI BWEKIRI, KUBA KUGENDA MU KKANISA! Mu ngeri ennyangungu tebamanyi bumanya Kigambo oba tebasobola kusoma ya mukwano nga Omugole bw’asobola.

Ekkanisa kye ki? Ka tulabe Ow’oluganda Branham kye yagamba nti ekkanisa ky’eri.

Amakuŋŋaaniro mangi nnyo galina ekizimbe kino aweggamibwa nga mwenna bwe mukirina wano ku tabanako. Era nago gayungiddwa ku mukutu gw’ku ssimu mu Phoenix, ne kiba nga buli awali olukuŋŋaana, guyingira bulungi ddala mu…Era bakuŋŋaana mu masinzizo ne mu maka , n’ebintu ng’ebyo , okuyita mu jjengo essendeekerevu ennyo .

Ow’oluganda Branham ayogera butangaavu ddala nti abantu mu “maka” gaabwe ne “ebintu ng’ebyo” baali emu ku kkanisa ze eziyungiddwa ku mukutu. Na bwegatyo amaka, amasundiro g’amafuta, ebizimbe, ab’enju ababa bakuŋŋaanidde awamu nga bali ku mukutu kyabafuula kkanisa.

Katusome ebisingawo katono mu BBALUWA EY’OMUKWANO.

Tusabira amakanisa gonna n’ebibiina ebikuŋŋaanye okwetooloola — obu— obuzindaalo obubaka amaloboozi obutono ebweru emitala, okuva mu ggwanga lino, okugendera ddala okutuuka ku lubalama lw’omu bugwanjuba, engulu mu nsozi za Arizona, emmanga mu biwonvu bya Texas, awala okuyingira mu lubalama lw’Ebuvanjuba, wonna okwetooloola eggwanga, Mukama, gye bakuŋŋaanidde. Essaawa nnyingi zeetwawukana, mu budde bw’olunaku, bwetuli, naye, Mukama, tuli wamu ekiro kino nga ekitole kimu, abakkiriza, nga tulindirira Okujja kwa Masiya.

N’olwekyo okubeera ku mukutu, okuwuliriza Ow’oluganda Branham FENNA MU KISEERA KYEKIMU; baali wamu nga ekitole ekimu, abakkiriza, nga balindirira Okujja kwa Masiya.

Naye ggwe ogamba bw’okola ekyo leero, ekyo tekuba kugenda mu kkanisa, kikyamu, tekuba kukuŋŋaana n’okusingawo ddala nga bwe tulaba olunaku olwo nga lusembera, tekuba kugenda mu kkanisa?

Ka nkubuuze ekibuuzo era okiddemu ekibiina kyo. Singa Ow’oluganda Branham abadde wano leero, mu mubiri, era ng’osobola okuwuliriza buteerevu oba okweyunga ku mukutu okumuwulira buli Ssande ku makya, ffenna mu kiseera kye kimu n’Omugole okwetoloola ensi yonna, abasumba, MWANDYEEYUNZE KU MUKUTU ne muwulira Ow’oluganda Branham oba mwandibuulidde?

Ow’oluganda Branham ayogera butangaavu ddala nti obuvuunaanyizibwa bwo ye kkanisa yo. Singa wali wano emyaka 60 egiyise era nga Ow’oluganda Branham alina olukuŋŋaana, naye ng’ekkanisa yo tegenda kugendayo wabula ng’erina okusaba kwabwe (abaweereza bangi kye baakola mu kiseera ekyo), wandigenze mu “kkanisa yo”, oba wandigenze mu “Branham Tabernacle” okuwulira Ow’oluganda Branham?

Nja kukuwa eky’okuddamu kyange. Nnandibadde nnyimiridde ku mulyango mu nkuba, omuzira oba omuyaga ogw’amaanyi okuyingira mu Weema eyo okuwulira nnabbi wa Katonda. Singa NNALI ŋŋendanga mu kkanisa eyo endala, nnandikyusizza ekkanisa yange gyensabira okutandika n’ekiro ekyo.

Wabula omukyala oyo, yali tamanyi oba amaanyi gaali mu muggo ogwo oba nedda, naye yali akimanyi nti Katonda ali mu Eriya. Awo Katonda we yali: mu nnabbi wE. Yagamba nti, “Nga Mukama bw’Ali omulamu n’emmeeme yo nga bw’eri ennamu, sijja kukuleka.”

Nkuyita okutwegattako n’okubeera emu ku kkanisa z’Ow’oluganda Branham ezeeyunze ku mukutu Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lituleetera Obubaka: Ekifo Kya Katonda Kyokka Kye Yateekawo Eky’Okusinzizaamu 65-1128M.

Owol. Joseph Branham