Obubaka: 60-0515E Okutongozebwa #1
Abatongozeddwa Abaagalwa,
Kaakano tuli mu kulya ebintu bya Katonda ebigumu era tulina okutegeera okutangaavu okw’Ekigambo kyE. Katonda atuwadde Okubikkulirwa okw’amazima okw’Ekigambo kyE. Endowooza yaffe ey’omwoyo eggiddwamu okutabulwatabulwa kwonna.
TuMANYI ddala y’Ani nga omuntu. TuMANYI ddala ky’ali. TuMANYI bulungi gye tugenda. TuMANYI ddala kye tuli. TuMANYI gwe twakkiriza, ne tutegeerera ddala ng’Ayinza okukuumanga kye twamuteresa okutuusa ku lunaku luli..
Ayogedde n’Atubikkulira ebyama byonna ebibadde bikwekeddwa okuva ensi lwe yatandikibwawo. Atubuulidde engeri abalala gye bazze bagaana bulijjo ekkubo lye lyeYateekawo ne bayaayaanira obukulembeze obw’enjawulo, naye Yabangawo n’akabinja akatono akaasigalanga nga keesigwa eri Ekigambo kyE.
Okwetooloola ensi yonna, tebajja kukuŋŋaanyizibwa mu kifo kimu okubeera n’ebintu bye bafaanaganya. Wabula obubinja bwabwe obutono bujja kuba busaasaanidde wonna mu nsi.
Ekitiibwa, tusaasaanidde wonna mu nsi, wabula nga tugattiddwa nga Omu okuyita mu Kunyiga Zannya n’okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga lyogera gyetuli.
Ka tulengereyo-kko era tuloze ku by’Agenda okutugamba ng’Ayita mu malayika we ow’amaanyi ku Ssande.
Abalonde bange abaagalwa, kaakano mutudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu. Si awantu wonna wabweru, wabula mu bifo “Eby’omu Ggulu”; kye kifo kyo ng’omukkiriza. Osabye ne wecca era oli mwetegefu okufuna Obubaka. Mwekuŋŋaanyizza wamu ng’abatukuvu, nga mubatiziddwa n’Omwoyo Omutukuvu, nga mujjudde emikisa gya Katonda. Mwayitibwa, mwalondebwa, era omwoyo gwo guleeteddwa mu mbeera ey’omu Ggulu.
Kiki ekiyinza okubaawo. Omwoyo wange Omutukuvu ajja kuba atambulira ku buli mutima. Muzziddwa buggya era mufuuse ekitonde ekiggya mu Kristo Yesu. Ebibi byammwe byonna biri wansi w’Omusaayi. Muli mu kusinza okutuukiridde, ng’emikono gyammwe n’emitima gyammwe giwanikiddwa waggulu Gyendi, nga munsinziza wamu mu bifo eby’omu Ggulu.
Wategekerwawo , Walondebwa, mu Kumanyirawo kwange byonna nga tebinnabaawo. Olondeddwa, otukuziddwa, oggyiddwako omusango olw’Okwawulibwawo byonna nga tebinnabaawo. Tekisoboka ggwe okulimbibwa. Nnakwawula ng’ensi tennatandikibwawo. Oli katonda omutono, eyassibwako akabonero n’Omwoyo Omutukuvu ow’ekisuubizo; si kuzaalibwa mu maka kyokka, wabula Batabani bange ne Bawala bange abatongozeddwa.
Nja kukuwa omukisa n’okuwonyezebwa okw’obwakatonda, okumanyirawo byonna nga tebinnabaawo, okubikkulirwa, okwolesebwa, amaanyi, ennimi, okuvvuunula, amagezi, okumanya, n’emikisa gyonna egy’omu Ggulu, n’essanyu eritoogerekeka era erijjudde Ekitiibwa.
Buli mutima gujja kujjula Omwoyo Wange. Mujja kuba mutambulira wamu, nga mutuula wamu, mu bifo eby’omu Ggulu. Nga tewali kirowoozo kibi na kimu mu mmwe, nga tewali ssigala n’omu afuuyibwa, wadde ekiteeteeyi ekimpi n’ekimu, nga tewali kino, ekyo, oba kiri n’ekimu, nga tewali kirowoozo kibi na kimu, nga tewali alina nsonga ku munne, nga buli omu ayogerera mu kwagala n’okukwatagana, buli muntu ng’alina endowooza emu mu kifo kimu.
Olwo amangu ago okuwuuma kujja kuba mu ggulu ng’empewo ewuuma n’amaanyi era nja kubawa buli mukisa gwonna ogw’omwoyo. Olwo ojja kuba nga Dawudi, ng’ozinira mu maaso ga Ssanduuko, ng’ogamba ensi nti tokwatibwa nsonyi, GWE MUGOLE WANGE OW’OLUTAMBI! Onyiga zannya n’okkiriza BULI KIGAMBO kye Njogera. Tojja, era toyinza kusigulwa!
Abalala bayinza okukigaana, oba obutakitegeera, naye gy’oli, Ke kabonero ko ak’Ekitiibwa. Nga Dawudi bwe yagamba mukazi we nti; “olowooza kino kibadde kintu, lindako enkya, tujja kuba tuwuliriza entambi endlala, nga tutendereza Mukama, nga tujjudde Omwoyo gwE; kubanga tubeera kaakano mu Kanani, nga tugenda mu nsi ensuubize.”
Olwo nja kutunula wansi okuva mu Ggulu mbagambe nti:
“Mmwe Mugole atuukiriza ddala ekiri ku mutima gwange.”
Emikisa gino naawe giyinza okuba egigyo. Jjangu, otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), era weewulirire ku kubeerawo kwa Mukama waffe nga bwe kitabangawo nga bwe tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda ery’olwaleero nga lyogera naffe era nga Lituleetera Obubaka: Okutongozebwa#1 60-0515E.
Jjukira nti kino kiri eri ekkanisa, so si eri ow’ebweru. Kyama ekiri mu ngero gy’ali, talisobola kukitegeera, kiyita waggulu w’omutwe gwe, ky’akimanyiiko tekisingako ku butakimanyaako. Naye, eri ekkanisa, gwe mubisi gw’enjuki mu lwazi, ssanyu eritoogerekeka, bwe bukakafu obw’omukisa, ye nnanga ewanirira emmeeme, lye ssuubi n’okubeerawo kwaffe, lye Lwazi olw’Edda n’edda, oh, kye buli kimu ekirungi. Kubanga eggulu n’ensi biriggwaawo, naye Ekigambo kya Katonda tekiriggwaawo.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga Obubaka tebunnatandika:
Yoweri 2:28
Abeefeso 1:1-5
I Abakkolinso 12:13
I Peetero 1:20
Okubikkulirwa 17:8
Okubikkulirwa 13