Obubaka: 60-0515M Kabaka Eyagaanibwa
- 25-0427 Kabaka Eyagaanibwa
- 21-0613 Kabaka Eyagaanibwa
- 18-0527 Kabaka Eyagaanibwa
- 16-0217 Kabaka Eyagaanibwa
Emikwano Egy’omuwendo Abaagalwa,
Abaagalwa bange, abaagalwa bange ennyo mu Njiri, abaana bange be nzadde eri Katonda.
Nga wiikendi yabadde nnungi nnyo gye twamazeeko ne Mukama waffe. Kyabadde kyanjawulo ku kintu ekirala kyonna, okumala obumazi naYe ebiseera, nga twogera naYe, nga tuwulira Eddoboozi lyE, nga tuMusinza, nga tuMwebaza, n’okuMubuulira engeri gye tuMwagala ennyo.
Nga kitiibwa nnyo okubeera omulamu mu lunaku luno n’okubeera ekitundu ku Byawandiikibwa nga bituukirizibwa. Ebigambo ebiva mu mibiri egifa biyinza bitya okulaga byonna ebiri mu mutima gwaffe? Nga nnabbi bwe yagamba, Si nze, mulimu Ekintu buziba munda, ekisindika era ekyesundira mu nze; oluzzi olw’ensulo olw’Omwoyo Omutukuvu. Ye Mugole nga Yeetegekera Omugole Omusajja.
Omugole omukyala nga acamuka ng’embaga ye tennatuuka. Omutima gwe gutandika okukubira ku bwangu obw’ekitalo nga obutikitiki obusembayo buyitawo….aba akimanyi nti obudde bumaze ne butuuka. “Mmaze okweteekateeka. Ajja okuncima. Kati tujja kuba OMU.”
Mazima ddala tuli kaakano mu biro ebisembayo eby’okubala ebiseera. Omugole mu bbanga ttono ajja kukwakkulibwa era ayitibwe okugenda ku ky’eggulo kyaffe mu kiwejjowejjo ky’abaakafumbiriganwa (Anemmuunu). Atutwala waggulo ko ku wetubadde tumanyidde. Tewakyali kubuusabuusa; tewakyali kwewuunya; FFE MUGOLE.
Era tannamaliriza. Akyayagala okuwa omukisa n’okuzzaamu amaanyi Omugole wE omulonde omwagalwa. Engeri gy’Ayagala ennyo okumuzzaamu amaanyi n’okumubuulira nga bw’Amwagala. Nga bw’Amwenyumirizaamu.
Nate Alina Okubikkulirwa okulala okw’enjawulo ennyo okw’okumuwa. Nga waliwo amaloboozi mangi nnyo mu nsi agagaana okuzannya entambi, ayagala nate okugumya Omugole nti bali mu Kwagala kwE okutuukiridde n’Ekkubo lyE lye Yateekawo.
Bulijjo enteekateeka yE ebadde egaanibwa. Bulijjo Omugole wE abadde ayigganyizibwa. Abantu bulijjo baagaddenga kkubo lyabwe bbo, ekirowoozo kyabwe. Baagala omukulembeze ow’enjawulo okubakulembera. Wabula Katonda Yatuma omukulembeze OMU okukulembera Omugole wE, Ye Mwene, Omwoyo Omutukuvu, era Omwoyo Omutukuvu ow’ennaku zino, nga bwe kibaddenga mu NNAKU ENDALA ZONNA, YE NNABI WA KATONDA.
Bulijjo baagaddenga basajja okubakulembera. Mu kiseera kya Samwiri, Katonda Yagamba nti baali baMugaana okuyita mu butaagala Samwiri kubakulembera . Kyalabika ng’ekitali kya bulijjo anti Samwiri naye yali musajja, wabula enjawulo yali nti Samwiri ye yali omusajja Katonda gwe Yalonda okubakulembera. Teyali Samwiri, Yali Katonda ng’Akozesa Samwiri. Yali DDOBOOZI LYA KATONDA EDDONDE ERA OMUNTU WA KATONDA OMULONDE OKUBAKULEMBERA, wabula bbo nga baagala maloboozi malala.
Sawulo yakimanya nti abantu batya Samwiri, kale yalina okulangirira nti, “Sawulo NE Samwiri”. Yalina okutiisa abantu basobole okumugoberera. Mazima, yali yayitibwa. Mazima, yali yafukibwako amafuta Samwiri okubeera kabaka waabwe, naye Katonda ERA YASIGALA alina Ekkubo lyE lye Yateekawo, ne nnabbi gwe Yalonda okubakulembera, ne Sawulo waakwo okumukulembera. Katonda Yayogera ne nnabbi wE n’Abuulira Sawulo eky’okukola. Sawulo bwe Yasalawo nti naye yafukibwako amafuta, era n’atayagala kuwulira nnabbi yekka, Katonda obwakabaka bwe Yabuggyawo.
Kale awo bwe baakola ekyo, okuwangulwa okunene bwe kwatuuka, Sawulo n’abaaga ente ennume ennene bbiri n’azisindika eri abantu bonna. Era singa muneetegereza wano, Sawulo bwe yasindika ebinywa by’ente ennume ezo eri Isirayiri yenna, n’agamba nti, “Leka buli muntu ataagoberere Samwiri ne Sawulo, leka oyo, ente eno ennume, abe nga yo.” Olaba engeri gye yagezaako okwesiigira ekifaananyi mu maaso g’abantu mu ngeri egenderedde okuwuddiisa nga yeekulubeeseza ku musajja wa Katonda? Nga —nga kyali kya butalibukristaayo nnyo! Okutya kw’abantu kwali lwakuba Samwiri. Naye Sawulo yabaleetera bonna okumugoberera ye olw’okuba nga abantu baali batya Samwiri. “Leka bajjire nnyuma wa Samwiri ne Sawulo.”
Olunaku lumu Sawulo yatawanyizibwa nnyo muli. Yali tasobodde kufuna kuddibwamu okuva eri Katonda. Yali tasobola kufuna kubudaabudibwa. Yali ayagala afune okwanukulwa okutali kumu. Yali amanyi wa gy’alina okugenda okufuna eky’okuddamu kye yali ayagala; waaliwo ekifo kimu kyokka, NABBI WA KATONDA, SAMWIRI. Yali amaze okusomoka, naye yasigala akyali DDOBOOZI LYA KATONDA, NE MU LUSUKU LWA KATONDA.
Kitaffe Yayagala Omugole wE amanye ani Ye gwe Yalonda okukulembera Omugole wE mu lunaku luno olw’oluvannyuma, bw’Atyo n’Atwala malayika wE ow’amaanyi okusukka olutimbe lw’ebiseera asobole okuddamu okutugamba, okutubudaabuda, n’okutuzzaamu amaanyi nti tuli mu Kwagala kwE okutuukiridde era kweYatuteerawo.
Wuliriza nga oteekeddeyo ddala omwoyo BYONNA nabbi by’ayogera.
Kati, sandyagadde mmwe kino mukiddemu. Kino kiri mu maaso g’ekkanisa yange , oba endiga zange ezo ze nsumba .
Nga tannatubuulira kintu kyonna, asooka kwagala tukimanye nti kino kya FFE FFEKKA, EKKANISA YE, ENDIGA ZE, EZO Z’ASUMBA. Bwe kityo, bw’oba tosobola kugamba nti, “Ow’oluganda Branham ye musumba WANGE NZE,” nkyogedde emabegako, wabula tekyetaagisa kwongera kusoma yadde, kino si kikyo, ko teyayagala ffe wadde okukiddiramu omuntu omulala wabula eri abo abakkiriza era abagamba nti, “Ow’oluganda Branham ye musumba wange”.
Awo wennyini we wali eky’okuddamu kyaffe eri kibuuzo kye tukolokotwako ennyo olw’okugamba nti: “Ow’oluganda Branham ye musumba waffe.” (Abo be bantu bali ab’entambi.) Batuufu, ye kyo, naffe ffe bbo.
Bambi temunnyiigira, bino sibyogera kunyiiza muntu yenna, ekyo kiba kikyamu, naye ky’ekyo ky’ayogera eri Omugole. Sikiteekako ntaputa yange, Ali mu kukyogera bwanjulukufu…Ekigambo kya Katonda tekyetaaga kutaputa.
Ne bwe kiba nga kyali, nga nnali mu mubiri guno oba bweru waagwo, oba nga kwali kuwaanyisibwa kwa mibiri, tekyali ng’okwolesebwa kwonna kwe nnali nfunye.
Kati atugamba nti kino tekyali ng’okwolesebwa kwonna kwe yali afunye. Yagenda mu kifo ekimu gye yali tagendangako. N’okusinga kyali KIKULU okusinga okwolesebwa kwonna kwe yali alabye. Teyali mu kirooto, yalaba omubiri gwe ku kitanda; YALIYO MU BULIWO.
Omugole wa Yesu Kristo, leka ekyo kinnyikire munda bulungi ddala. Yali Mugole wa Yesu Kristo ku ludda luli olulala, mu kiseera eky’obuliwo, be abajja nga badduka gy’ali, nga bakuba enduulu era nga bamubaka, nga bamuwambatizaako emikono gyabwe nga bamugamba nti, “Oh, muganda waffe ow’omuwendo!”
Yaliyo; yali asobola okukiwulira n’obusimu bw’omubiri gwe; yali asobola okubawulira n’amatu ge. Baali banyumya naye. Yayimirira, n’atunula, yali muto. Yatunula emabega ku mubiri gwe omukadde nga gugalamidde awo ng’emikono gye gizingiddwa emabega w’omutwe gwe.
Kaakano tukikakasizza nti YALIYO, era Yali Mugole wa Yesu Kristo gwe yali alaba. Kati ka tuwulire eddoboozi okuva waggulu kye lyali limugamba.
Era awo Eddoboozi eryo eryali lyogera, okuva waggulu wange, ne ligamba nti, “Omanyi, kyawandiikibwa mu Baibuli nti bannabbi baakuŋŋaanyizibwa wamu n’abantu baabwe.”
Katonda yali takoma ku kulaga na kuzzaamu maanyi nnabbi we, wabula waaliwo n’ebisingawo bingi nnyo eby’ekuusa ku Kyo. Yali wa kukomawo atubuulire si wa gye tugenda na butya bwe kirifaanana akome awo, wabula n’okutugamba nti tuli mu Kwagala kwE okutuukiridde nga Tunyiga Zannya era eyo y’engeri gy’oyinza okutuukamu eyo Omugole gy’ali.
Ow’oluganda Branham yagamba nti yali ayagala kulaba Yesu mubi nnyo. Naye ne bamugamba nti:
“Kaakano, Ali waggulu ko katono, waggulu ddala ku luuyi olwo.” Yagamba nti, “Olunaku lumu ajja kujja gy’oli.”
Baagenda mu maaso n’okumubuulira YE Y’ANI .
“Watumibwa, okukola omukulembeze. Era Katonda ajja kujja. Era bw’Anaajja, ajja kusooka kusalirwa omusango okusinziira ku bye wabayigiriza, oba bayingira oba nedda. Tujja kuyingira okusinziira ku kuyigiriza kwo.”
Ani yatumibwa ng’omukulembeze? Tugenda kusalirwa omusango okusinziira ku ebyo ani bye yatuyigiriza? Tujja kuyingira mu Ggulu okusinziira ku njigiriza y’ani ?
Omuntu asobola okugamba nti, Njigiriza abantu bange ekyo kyennyini Ow’oluganda Branham kye yagamba…amiina, ky’olina okukola era nzikiriza nti abamu bakikola, wabula tokifuula “Ow’oluganda Branham nange.”
Ka tweyongereyo tusome anti ayagala OKUKAKASA nti tutegeera butangaavu okusingawo.
Era abantu bo nebakuba enduulu, ne bagamba nti, “Ekyo tukimanyi. Era tukimanyi nti tugenda kuddayo naawe, olunaku lumu, ku nsi.” Ne bgamba nti, “Yesu ajja kujja, era ojja kusalirwa omusango okusinziira ku Kigambo kye watubuulira.
Tujja kusalirwa omusango okusinziira ku Kigambo YE kye yatubuulira. Bwe kityo, ensala y’omusango eva kuva mu ebyo Eddoboozi lya Katonda bye Lyayogera ku ntambi. Omuntu yenna ayinza atya okwogera nti Eddoboozi eriri ku ntambi si lye DDOBOOZI ERISINGA OBUKULU ly’oyinza okuwulira?
“N’oluvannyuma bw’onookkirizibwa mu kiseera ekyo, ate nga bwekiriba,” .
Oli mwetegefu. Kino kijja kunyweza omusumaali ku kuluwa Okwagala kwa Mukama waffe eri Omugole wa Yesu Kristo. Omugole ategeeza nabbi NABBI ky’ANAAKOLA. Si omuntu mulala yenna. Si kibiina. Si omusumba mulala, nnabbi wa Katonda, WILLIAM MARRION BRANHAM.
“ olwo ojja kutwanjula gy’Ali, ng’ebikompe by’obuwanguzi bw’obuweereza bwo.”
Ani agenda okutwanjula eri Mukama waffe Yesu?
Ennaku z’okuwuliriza nabbi yekka zaggwaako?
Ow’oluganda Branham tagambangako kuzannya ntambi?
Omugole ali mu kuleekaana nga agamba nti bw’oba oyagala okubeera Omugole kisingako n’Onyiga Zannya.
Era tonnamatira? Kaale, waakyaliyo n’ebisingawo.
Baagamba nti, “Ojja kutuluŋŋamya otutwale gy’Ali , era, ffenna awamu, tujja kuddayo ku nsi, tubeere balamu emirembe gyonna.”
Ani alina okutulungamya okututwala gy’Ali? Ani akulembera Omugole? Omugole ali mu kumugamba nti AJJA KUKULEMBERA OMUGOLE AMUTWALE GY’ALI, olwo tuddeyo ku nsi tubeere balamu emirembe gyonna.
Bwe wabaawo Okubikkulirwa waakiri okutono ennyo KWONNA mu ggwe. Bw’oba ogamba nti okkiririza Obubaka Buno, nsaba Katonda akubikkulire nti OTEEKWA okuteeka Eddoboozi lyE, entambi, KU MWANJO.
Abasumba mukomyewo nabbi ku bituuti byammwe. Entambi ze Ddoboozi erisinga obukulu ly’oteekwa okuwulira anti ogenda kusalirwa omusango kusinziira ku DDOBOOZI ERYO.
Okusinziira ku Kigambo, tuli mu Kwagala kwE okutuukiridde era kwe Yateekawo olw’olunaku lwaffe nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.
Katonda bw’Aba azibudde amaaso go eri Okubikkulirwa okw’amazima eri Ekigambo kye, nkuyita okutwegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira 60-0515M Kabaka Agaaniddwa .
Owol. Joseph Branham