Obubaka: 61-0730E Ebigendererwa Omukaaga Eby’Okukyala Kwa Gabulyeri Eri Danyeri
- 25-0209 Ebigendererwa Omukaaga Eby’Okukyala Kwa Gabulyeri Eri Danyeri
- 16-1125 Ebigendererwa Omukaaga Eby’Okukyala Kwa Gabulyeri Eri Danyeri
Omugole Omusanyufu Omwagalwa,
Tutadde amaaso gaffe eri Eggulu mu kusaba n’okwegayirira okuzuula olunaku n’essaawa yennyini gye tulimu.
Nga bwe kitabangawo, tutudde wamu mu bifo eby’omu ggulu, okuva mu nsi yonna, nga tuwulira Katonda ng’Ayogera era ng’Atubikkulira ekigambo kyE ng’Ayita mu mubaka wE malayika ow’amaanyi. Omubaka malayika ow’oku nsi Kitaffe gwe yasindika eri Omugole wE mu lunaku luno olw’oluvannyuma okubikkula Ekigambo kyE.
Gabulyeri ye malayika agenda eri abantu ba Katonda abalonde, Abayudaaya. Wabula eri Omugole We ow’amawanga, Merukizeddeeki yennyini yajja n’Ayogera ng’Ayita mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi mu malayika ow’oku nsi ayitibwa William Marrion Branham, asobole okwogera n’okubikkula Ekigambo kyE KYONNA eri Omugole wE omwagalwa ow’oku mutima.
Yasiima ne Kikwatibwa ku lutambi, ne kiterekebwa, ne kikuumibwa, bw’atyo Omugole yandibadde n’Emmere Ye ey’omwoyo, Emmaanu eyakwekebwa, ku ntoli z’engalo zaabwe buli ddakiika ya buli lunaku okutuusa ku nkomerero y’ebiseera.
Omuntu waffe ow’omunda ajjudde okufukibwako amafuta okw’ekitalo nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga litubikkulira Ekigambo kyE. Engeri gy’Ayanja Ekigambo kye tusobole okulaba butangaavu ddala n’okutegeera amakulu gaakyo. Kiri mu kubikkula essaawa yennyini gye tubeeramu, kiri mu kutubuulira kye tuli n’ebigenda okubaawo mu bbanga ttono ddala; Okukwakkulibwa kwaffe okujja mu bbanga ttono.
N’okuba Akubikkulira Omugole we ebigenda okubaawo wano ku nsi nga tuli naye ku kijjulo ky’embaga ey’obugole. Engeri gy’Alizibula amaaso amazibe ag’abantu be abalonde; abo be yaziba amaaso ku lw’Omugole we omunnamawanga.
Mikwano, nkimanyi nga bwe tukooye ennyo ensi eno era nga tuyaayaanira okujja kwe okututwala, naye ate leka tusanyukire era tweyanzize mu bigenda mu maaso mu kiseera kino mu maaso gaffe gennyini.
Leka tuyimuse emikono gyaffe, emitima gyaffe, amaloboozi gaffe, tusanyuke. Tetukoma ku kwesunga bwesunzi by’agenda okutukolera mu bbanga ttono ddala, wabula tusanyuke olw’ebyo by’Abikkula n’ebyo by’Atukolera kati KATI.
Atugamba nti tuli Mugole we eyategekerwawo ali mu kwegatta wamu nayE n’Ekigambo kyE. Atukakasa emirundi n’emirundi, tuli mu Kwagala kwE okutuukiridde nga tusigala n’Eddoboozi lyE, Ekigambo kyE, malayika wE. Atuwadde OKUKKIRIZA mu kumanya n’okutegeera kye tuli:
EKIGAMBO KYE EKIRAMU MU MUBIRI.
Tetulina kye tutya; Tewali kyeraliikiriza; Tewali kya kunakuwalira. Ekyo nkimanyi ntya? KATONDA BW’ATYO BWEYAGAMBA! KALE LEKA TUSANYUKE, TUSABE, TWEBAZE; EKIGAMBO EKIRAMU KIBEERA ERA KIWANGAALIRA MU FFE. YE FFE ZZADDE LYE EDDANGIRA ESSUKULUMU.
Mazima nzikiriza nti Mukama naye alina okuba nga acamuka mu kumanya nti ekiseera kituuse era twetegese okuyita mu kusigala nga tuli ba mazima era abeesigwa eri ekigambo kyE.
Okufaananako n’akalenzi akato akaatunula mu ndabirwamu omulundi gwako ogwasooka, naffe tutunula mu Kigambo kyE, nga tulaba kye TULI. Mukama…YE NZE. Nze Omugole Ekigambo Wo omulamu. Ye nze gwe walonda GGWE. Ndi mu Ggwe, Oli mu nze, tuli Omu.
Tuyinza tutya obutajaguza n’okubeera abantu abasinga essanyu abaali babaddewo ku nsi? Abatukuvu ne bannabbi bonna abaatusooka baali baagala okuba abalamu mu lunaku luno n’okulaba ebisuubizo bino nga bituukawo. Naye olw’Ekisa kya Katonda, yateekawo FFE wano.
Tetusobola kulinda:
Brrrrr! Owange! Whew! Mu ngeri endala, omulabe bw’amala okugobwa, enkomerero y’okusobya eba etuuse, okuyingiza obutuukirivu obutaliggwaawo kuba kutuuse, Sitaani aba asibibwa mu bunnya obutakoma, n’okumanya kwa Mukama kulijjula ensi ng’amazzi bwe gajjula ennyanja. Amiina! Ekitiibwa kibe eri Katonda! Kijja muganda wange, kijja!
Nga okufukibwako amafuta kwa kiktalo okugenda okubaawo Ssande ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga tukuŋŋaana okuva mu nsi yonna okuwulira malayika wa Katonda, Eddoboozi lya Katonda eri Omugole, nga lituleetera Obubaka: Ekigendererwa Eky’emirundi Omukaaga Eky’okukyala kwa Gabulyeri eri Danyeri 61-0730E.
Owol. Joseph Branham