Obubaka: 61-0730M Ebiragiro Bya Gabulyeri Eri Danyeri
Abamaliridde Okutuuka ku Kigendererwa Abaagalwa,
Nga Ntuuko za butiti za njawulo ze tubaddemu nga tuyiga ku Mirembe gy’Ekkanisa Omusanvu, n’oluvannyuma Katonda n’Atubikkulira n’ebisingawo mu Kitabo ky’Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo. Engeri essuula essatu ezaasooka mu Kubikkulirwa gye zaali Emirembe gy’Ekkanisa, n’oluvannyuma engeri Yokaana gye yasitulibwa mu ssuula ey’okuna n’ey’okutaano ng’atulaga ebintu ebyali bigenda okujja.
Mu ssuula ey’omukaaga, yabikkula engeri Yokaana gye yagwa okuva mu ggulu n’akomawo wansi ku nsi okulaba ebintu ebigenda mu maaso ebigenda okuva mu ssuula ey’omukaaga okutuuka mu ssuula ey’ekkumi n’omwenda ey’Okubikkulirwa.
Nga Omugole ajja kuba wa mukisa nnyo ku Ssande nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera okuyita mu malayika we ow’amaanyi ow’omusanvu n’Atubuulira ebigenda okuddako okubikkulwa.
Ndi musanyufu nnyo okulangirira nti kati tugenda kutandika okuyiga okukulu okwa Sabbiiti Ensanvu Eza Danyeri. Nabbi yagamba nti kujja kusibira munda Obubaka obusigadde nga tetunnagenda mu Bubonero Omusanvu; Amakondeere musanvu; Obubi Obusatu; omukazi mu njuba; okugobera ebweru sitaani omumyufu; emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi nnya egyateekebwako akabonero; byonna bibaawo wakati mu kiseera kino.
Ekitabo kya Danyeri ye kalenda yennyini ey’omulembe n’ekiseera kye tulimu, era ne bwe kinaalabika ng’ekizibu kitya, Katonda ajja kukitumenyeramenyera Akitufuulire ekyangu.
Era Katonda akimanyi nti ekyo kye nnoonya kati, nsobole okubudaabuda abantu be era mbabuulire ebiri okumpi okubaawo, ebibinja byombiriri abali wano enkya ya leero, n’abali ebweru okuyita mu nsi ez’enjawulo eyo entamb zino gye zijja okugenda, mu nsi yonna, nti tuli mu kiseera eky’enkomerero.
Yeffe bantu ba Katonda abalonde abeegomba era abasaba ku lw’olunaku olwo n’essaawa eyo. Era amaaso gaffe gatunudde mu Ggulu, era nga tutunuula nga tulindirira Okujja kwe.
Ffenna ka tubeere nga Danyeri twolekeze amaaso gaffe mu Ggulu, mu kusaba n’okwegayirira, nga bwe tumanyi okuyita mu kusoma Ekigambo n’okuwulira Eddoboozi lye, nti okujja kwa Mukama kusembera mangu; tuli ku nkomerero.
Tuyambe Kitaffe twambulenga buli ekizitowa, buli kibi, buli butakkiriza obutono obwegatta naffe. Kati ka tuluubirire okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita okwa waggulu, nga tumanyi nti ebiseera byaffe bitono.
Obubaka bugenze wonna. Buli kimu kiwedde kati; tulindirira era tuwummudde. Ekkanisa esibiddwako envumbo. Ababi beeyongera okukola ebibi. Amakanisa geeyongera okubeera ag’ekkanisa, naye abatukuvu bo beeyongera okusembera okumpi naaWe.
Tulina Eddoboozi ly’oyo ayogerera waggulu mu ddungu, nga liyita abantu okudda ku Bubaka nnakabala; okudda ku bintu bya Katonda. Tutegeera olw’Okubikkulirwa nti ebintu bino bigenda mu maaso.
Jjangu otwegatteko Ssande eno ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga Katonda Atubikkulira Ekigambo kye, nga tutandika okuyiga kwaffe okukulu okw’Ekitabo kya Danyeri.
Owol. Joseph Branham
61-0730M – Ebiragiro Bya Gabulyeri Eri Danyeri