Obubaka: 61-0108 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekitunda III
- 25-0112 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekitunda III
- 21-0103 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekitunda III
- 16-0417 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekitunda III
Abataggwaawo Abaagalwa,
Kye kiseera tuggyeko eky’okumutwe kyaffe eky’omu lutalo tusseeko endowooza yo ey’omwoyo, ‘kubanga Katonda Yeetegekera okuwa Omugole wE Okubikkulirwa kw’Ekigambo kye okusingawo.
Ajja kuba atubikkulira ebyama byonna eby’edda. Ajja kutubuulira ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Abalala bonna mu Baibuli bye baalaba obulabi oba bye baawulira obuwulizi, Ajja kubikkula buli katunnumba akatano mu Kigambo kyE era n’amakulu gaaKyo gyetuli.
Tugenda kuwulira era tutegeere amakulu g’obubonero bwa Baibuli: Ebiramu, Ennyanja y’Endabirwamu, Empologoma, Ennyana, Omusajja, Empungu, Entebe y’Ekisa, Abakuumi, Abakadde, Amaloboozi, Seliyoni, Zuunu.
Tujja kuwulira era tutegeere byonna ebikwata ku bakuumi b’endagaano enkadde. Yuda: Omukuumi w’Ebuvanjuba; Efulayimu: omukuumi w’ebugwanjuba;Lawubeeni: Omukuumi w’Ebukiikaddyo; ne Daani: Omukuumi w’Obukiikakkono.
Tewali kintu kyonna kiyinza kusembera wantu wonna okumpi n’entebe eyo ey’okusaasira nga tekisomose bika ebyo. Empologoma, amagezi g’omuntu; Ente: embalaasi enkozi y’emirimu; Empungu: Obwangu bwe.
Nga Eggulu, ensi, wakati, n’okwetooloola wonna, baali bakuumi. Era nga waggulu waabo bwe waaliwo Empagi ey’Omuliro. Tewali kyakwatanga ku ntebe eyo ey’okusaasira nga tekisoose kusomoka bika ebyo.
Kati waliwo abakuumi b’Endagaano Empya: Matayo, Makko, Lukka ne Yokaana, nga bagenda butereevu mu maaso. Omulyango ogw’ebuvanjuba gukuumibwa empologoma, omulyango ogw’ebukiikakkono gukuumibwa empungu ebuuka, Yokaana, omubuulizi w’enjiri. Awo omusawo ku ludda luno, Lukka, omuntu.
Enjiri ennya zikuuma Omukisa gwa Pentekooti na buli Byawandiikibwa okuwanirira ddala bye baayogera. Era kati Ebikolwa by’abatume bikakasa leero n’Enjiri ennya nti Yesu Kristo jjo, leero, n’emirembe gyonna aba bumu.
Omufukeko amafuta wa Katonda owa nnamaddala bw’ayogera, Libeera Eddoboozi lya Katonda! Tuba twagala kuleekaana buleekaanyi nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama!”
Tewali ngeri yonna gy’oyinza kugivaako. Mu butuufu, tetusobola kukivaako, kubanga Tekijja kutuvaako. Tuteekeddwako akabonero okutuusa ku lunaku lw’okununulibwa kwaffe. Tewali kintu kya mu maaso, tewali kintu kyonna kiriwo, kabi, enjala, ennyonta, okufa, oba EKINTU KYONNA, tekiyinza kutwawula ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu.
Nga ensi tennatondebwa amannya gaffe gaateekebwa ku kitabo ky’Omwana gw’endiga eky’Obulamu okulaba Ekitangaala KINO, okufuna Eddoboozi Lino, okukkiriza Obubaka Buno, okufuna Omwoyo Omutukuvu olw’olunaku lwaffe n’okuMutambuliramu. Omwana gw’endiga bwe yattibwa, AMANNYA GAFFE ne gawandiikibwa ku Kitabo mu kiseera kye kimu Erinnya ly’Omwana gw’Endiga we lyawandiikibwayo. EKITIIBWA!!
Bwe kityo, tewali kiyinza kutwawula ku Bubaka buno. Tewali kiyinza kutwawula ku Ddobozi eryo. Tewali kiyinza kutuggyako Okubikkulirwa kw’Ekigambo Kino. Kye kyaffe. Katonda Yatuyita n’Atulonda era n’Atutegekerawo. Buli kimu kyaffe, kyaffe.
Waliwo engeri emu yokka ey’okufunamu bino byonna. Oteekwa okunaazibwa n’amazzi g’Ekigambo. Olina okuwulira Ekigambo nga tonnayingira munda Eyo. Era waliwo engeri emu yokka gy’oyinza okutuukiriramu Katonda, eyo kwe kuyita mu kukkiriza. Era Okukkiriza kujja nga tuwulira, okuwulira Ekigambo kya Katonda, ekyo ekimulisibwa nga kiva Awatukuvu w’awatukuvu buteerevu okuyingira mu mubaka w’omulembe.
Kale, wano, malayika w’omulembe gw’ekkanisa ayakirwako ekitangaala ne kirabirwa mu mazzi ago Omusajja ono ky’Ali munda muno, ng’Ayakirwako okusaasira kwe, Ebigambo bye, okusalawo kwe, Erinnya lye. Byonna nga birabirwa mu gano wano w’oyawukanyizibwa nga okikkiriza. Okifuna?
Tolekerawo awo kuwuliriza ntambi, just stay with It. Sigala busigazi naKyo. Kyekebejje nga okozesa Ekigambo olabe oba Kituufu. Lye Kkubo lya Katonda ly’Ataddewo kulw’olwaleero.
Jjangu otwegatteko mu ntuuko z’obutiti zino nga twegatta wamu okuva mu nsi yonna tuwulire Eddoboozi lya Katonda nga libikkulira Omugole wE Ekigambo kyE nga bwe kitabangawo. Tewali kufukibwako mafuta okusinga okunyiga zannya n’okuwuliriza Eddoboozi lyE.
Okuva mu buziba bw’omutima gwange, nsobola okugamba nti: Ndi musanyufu nnyo nti nsobola okugamba nti ndi Omu Ku Bo na buli omu ku mmwe.
Owol. Joseph Branham
Obubaka: 61-0108 – “Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekitundu III”.
Obudde: Ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda)