Obubaka: 60-1231-Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekiunda 1
- 24-1229 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekiunda 1
- 20-1231 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekiunda 1
- 16-0413 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekiunda 1
Abatukuvu Abambaziddwa Ebyambalo Ebyeru Abaagalwa,
Bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naffe, waliwo ekibaawo munda mu mmeeme yaffe. Obutonde bwaffe bwonna bukyusibwa n’ensi etwetoolodde erabika ng’egenda esangukawo.
Omuntu ayinza atya okulaga ebigenda mu maaso mu mitima gyaffe, mu birowoozo byaffe, ne mu mmeeme zaffe, ng’Eddoboozi lya Katonda bwe libikkula Ekigambo kyE na buli Bubaka bwe tuwulira?
Okufaananako ne nnabbi waffe, tuwulira nga tukwatiddwa waggulu mu ggulu ery’okusatu (heavens) era omwoyo gwaffe gulabika nga guva mu mubiri guno ogufa. Tewali bigambo bisobola kulaga kye tuwulira nga Katonda Atubikkulira ekigambo kyE nga bwe kitabangawo.
Yokaana yateekebwa ku kizinga Patumo era n’asabibwa okuwandiika bye yalaba era abiteeke mu kitabo ekiyitibwa Okubikkulirwa, bwe bityo bibe nga bijja kugendera ddala okuyita mu mirembe. Ebyama ebyo bibadde bikwekeddwa okutuusa lwe byatubikkulirwa okuyita mu mubaka we malayika ow’omusanvu gweYalonda.
Awo Yokaana n’awulira Eddoboozi eryo lye limu waggulu we era n’asitulibwa mu ggulu ery’okusatu (heavens). Eddoboozi eryo lyamulaga emirembe gy’ekkanisa, okujja kw’Abayudaaya, okuyiwa ebibonyoobonyo, Okukwakkulibwa, Okudda nate, Emyaka Olukumi, n’Amaka Agataliggwawo ag’Abalokoleddwa bE. Yamutwala waggulu ekintu kyonna ng’omuzannyo bweguliba nga bwe Yagamba nti Ajja kukola n’Akyegezaamu nga Yokaana alaba.
Naye Yokaana yalaba ani bwe yalaba okwegezaamu okwo? Tewali yali amanyi ddala okutuusa leero.
Ekintu kye yasooka okulaba mu kujja okwo yali Musa. Yakiikirira abatukuvu abaafa abaali bagenda okuzuukizibwa; emirembe gyonna omukaaga egyebaka.
Naye Musa teyali yekka nga ayimiridde awo, wabula n’Eriya naye yali awo.
Ani yali Eriya oyo eyali ayimiridde?
Naye Eriya yali awo; omubaka w’olunaku olw’oluvannyuma, n’ekibinja kye, eky’abo abakyusiddwa emibiri gyabwe, Abakwakkuddwa.
EKITIIBWA…ALERUUYA…ani Yokaana gwe yalaba ng’ayimiridde awo?
Tewali mulala okuggyako omubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu, William Marrion Branham, wamu n’EKIBIINA KYE EKY’ABAKYUSIDDWA EMIBIRI GYABWE, EKIKWAKKUDDWA…BULI OMU KU FFE!!
Eriya yakiikirira ekibinja ekiriwanyisibwa mu ndabika. Jjukira nti Musa ye yasooka, n’oluvannyuma Eriya. Eriya yali wa kubeera omubaka w’olunaku olw’oluvannyuma, nti ye n’ekibinja kye okuzuukira kulibaleeta…kulibaleeta oku…kale, kulibaleeta okukwakkulibwa, kye ntegeeza. Musa yayingizaawo abalijjira mu kuzuukira ate Eriya n’ayingizaawo ekibinja eky’Abalijjira mu kukwakkulibwa . Era, awo, bombi abo baali bakiikiriddwa awo wennyini .
Yogera ku kumaamula ekibikkako ku kintu ekibadde ekibikkeko, okubikkula, n’Okubikkulirwa.
Kiikino wano! TuKirina bulungi kiri naffe kati, Omwoyo Omutukuvu, Yesu Kristo, aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Oli mu ku…Kiri mu kukubuulira enjiri, Kiri mu kukuyigiriza, Kiri mu kugezaako okukuleetera okulaba ekituufu n’ekikyamu. Ye Mwoyo Omutukuvu yennyini nga Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi, ng’Akolera emirimu gye wakati mu bantu ab’oku nsi, ng’Agezaako okulaga okusaasira n’ekisa .
Yeffe Abatukuvu abambaziddwa Ebyambalo Ebyeru malayika wE be yalaba nga bava mu nsi yonna okulya Omugaati ogw’Obulamu. Yatusaba obufumbo ne tuMukkiriza era tuli mu bufumbo naye era tuwulidde okunywegera kwe okw’omusajja gw’okkirizza okuwa obufumbo mu mutima gwaffe. Tweyamayo ffe gy’ali, era eri Eddoboozi lye lyokka. Tetukikozeeko emabega, era tetujja kukila eky’okweyonoona n’eddoboozi eddala lyonna.
Omugole yeetegekera okugenda waggulu nga Yokaana bwe yakola; okugenda mu Maaso ga Katonda. Tujja kusitulibwa mu kaseera ako nga Ekkanisa Ekwakkulibwa. Ekyo nga kuwuzuumya buwuuzumya emmeeme yaffe!
Kiki ky’agenda okuddako okutubikkulira?
Okusala kw’emisango; ejjinja erya sadio, na ki kye likiikirira; kitundu ki kye lyazannya. Yasepi, n’amayinja gonna ag’enjawulo. Bino byonna agenda kubikulukusa abiyise mu Ezeekyeri, abikomyewo mu Olubereberye, abizzeeyo ebussuka mu Okubikkulirwa, kkirira wansi mu masekkati ga Baibuli, bisibire wamu kaganda; amayinja gano gonna ne zi lanji ezo ez’enjawulo.
Ye Mwoyo Omutukuvu y’omu, Katonda y’omu, nga Alaga obubonero bwe bumu, ebyewuunyo bye bimu, ng’Akola ekintu kye kimu ddala nga bwe Yasuubiza. Ye Mugole wa Yesu Kristo nga Yeetegeka ng’awulira Eddoboozi lyE.
Tukwaniriza okutwegattako nga tuyingira mu bifo eby’omu ggulu ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), okuwulira Eriya, omubaka wa Katonda eri omulembe guno ogw’oluvannyuma, ng’abikkula ebyama ebibadde bikwekeddwa mu mirembe gyonna.
Owol. Joseph Branham
Obubaka: 60-1231 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekitundu I
- Bambi mujjukire Obubaka bwaffe obw’omwaka omuggya, ku Lw’okubiri ekiro: Okumeggana 62 -1231. Tewali ngeri ndala esinga eno ey’okutandika omwaka omuggya.