Obubaka: 60-1211E Ekkanisa y’Omulembe Gwa Lawodikiya
- 24-1208 Ekkanisa y’Omulembe Gwa Lawodikiya
- 23-0618 Omulembe Gw’ekkanisa Eyo Mu Lawodekiya
- 20-1227 Omulembe Gw’ekkanisa Eyo Mu Lawodekiya
- 19-0310 Omulembe Gw’ekkanisa Eyo Mu Lawodekiya
- 16-0410 Omulembe Gw’ekkanisa Eyo Mu Lawodekiya
Abalonde abaagalwa,
Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw’awulira eddoboozi lyange, n’aggulawo oluggi, nnaayingira gy’ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.
Obuweereza, mugguleewo enzigi zammwe eri malayika wa Katonda nga tebunnakeerewa nnyo. Muzze Eddoboozi lya Katonda mu bituuti byammwe nga muzannya entambi. Lye Eddoboozi lya Katonda lyokka eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza eri olunaku lwaffe nga lirina Ebigambo by’obwa nnantakola-nsobi. Lye Ddoboozi lyokka eririna Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama. Lye Eddoboozi lyokka Omugole yenna ly’asobola okuddiramu nti AMIINA.
Gwe mulembe ogusinga obukulu mu biseera byonna. Yesu ali mu kutuwa okunnyonnyola ku Ye ky’ali ng’ennaku ez’ekisa kyE zigenda zifundikira. Ebiseera bituuse ku nkomerero yabyo. Atubikkulidde engeri ze zennyini mu mulembe guno ogusembayo. Atutunuzza omulundi gumu ogusembayo ku Bulamba bwE obw’ekisa era obusukkulumu Ye nga Katonda Mwene. Omulembe guno kwe kubikkulirwa okw’ejjinja ery’oku ntikko kwa Ye Mwene.
Katonda yajja mu mulembe guno ogwa Laodikiya era n’ayogera ng’ayita mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi. Eddoboozi lye Likwatiddwa era ne Literekebwa okukulembera n’okutuukiriza Omugole-Ekigambo wE. Mu ngeri ennyangungu tewali ddoboozi ddala liyinza kutuukiriza Mugole We wabula Eddoboozi lyE ye Mwene.
Mu mulembe guno ogusembayo, Eddoboozi lye ku ntambi liteekeddwa ku bbali; liggyiddwa mu masinzizo. Okukyogera mu ngeri ennyangungu tebaggya kuzannya ntambi. Kale Katonda agamba nti, “Ŋŋenda kubalwanyisa mwenna. Ŋŋenga kubasesema okuva mu kamwa kange. Eno y’enkomerero.”
“Okumala emirembe musanvu ku ginnaagyo, sirina kirala kye ndabye okuleka abantu okussa ekitiibwa mu kigambo kyabwe okukigulumiza waggulu w’ekyaNge. Kale ku nkomerero y’omulembe guno mbasesema mmwe okuva mu kamwa kange. Byonna biwedde. Ngenda kwogera bulungi. Weewaawo, ndi wano wakati mu Kkanisa. Oyo Amiina wa Katonda, omwesigwa era ow’amazima ajja kwebikkula era ajja KUBA NABBI WANGE.”
Nga bwe kyali edda, bagenze mu maaso mu ngeri ebasuumirwamu nga bajjajjaabwe bwe baakola mu biseera bya Akabu. Baali ebikumi bina era bonna baali bakkiriziganya; era nga okuyita mu bonna okwogera ekigambo kimu, ne balimbalimba abantu. Naye nnabbi OMU, OMU BUMU, yali mutuufu n’abalala bonna nga bakyamu kubanga Katonda yali Okubikkulirwa akuwadde OMU YEKKA.
Kino tekitegeeza nti obuweereza bwonna bwa bulimba era nti bali mu kusiruwaza bantu. Era sigamba nti omusajja alina okuyitibwa okuweereza tasobola kubuulira wadde okuyigiriza. Ndi mu kugamba nti obuweereza obw’emirundi etaano OBUTUUFU bujja kuteeka ENTAMBI, Eddoboozi lya Katonda eri Omugole, nga Eddoboozi erisinga obukulu ly’OTEEKWA OKUWULIRA. Eddoboozi eriri ku ntambi lye ddoboozi LYOKKA erikakasiddwa Katonda yennyini obutalekaawo kabuuza okuba Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama.
Mwegendereze bannabbi ab’obulimba, kubanga gy’emisege egisikula.
Onoomanya otya mu bukakafu ekkubo ettuufu ery’olwaleero? Waliwo enjawukana obwenkanidde awo mu bakkiriza. Ekibinja ky’abantu ekimu kigamba nti obuweereza obw’emirundi etaano bujja kutuukiriza Omugole, ate ekirala kigamba nti Nyiga Bunyizi Zannya kyokka. Tetugenderera kwawukanyizibwa; tugenderera kwegatta nga OMGOLE OMU. Eky’okuddamu ekituufu kye kiruwa?
Ka tuggule emitima gyaffe nga tuli wamu tuwulire Katonda by’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi we eri Omugole. Kubanga ffenna tukkiriziganya, Ow’oluganda Branham ye mubaka wE, malayika ow’omusanvu.
Ku musingi ogw’enneeyisa ey’obuntu yokka, omuntu yenna akimanyi nti awali abantu abangi era wabaawo endowooza ezaawukana ku nsonga entonotono ez’enjigiriza enkulu bonna gye bakwata awamu. Kale ani agenda okuba n’amaanyi ag’obwa nnantakola-nsobi agagenda okuzzibwawo mu mulembe guno ogusembayo, kubanga omulembe guno ogusembayo gugenda kuddayo mu kwolesa Omugole-Ekigambo Omulongoofu? Ekyo kitegeeza nti tujja kuddamu okufuna Ekigambo omulundi gumu nate nga bwe kyaweebwa butuukirivu ddala, era ne kitegeerwa butuukirivu ddala mu nnaku za Pawulo. Nja kubabuulira ani agenda okugafuna. Ajja kuba nnabbi nga akakasiddwa obutalekaawo kabuuza ddala nga, oba n’okukirawo okukakasibwa obutalekaawo kabuuza mu bujjuvu okusinga nnabbi yenna mu mirembe gyonna okuva ku Enoka okutuusa leero, kubanga omusajja ono ajja kuba n’obuweereza buli obw’obunnabbi obw’ejjinja ery’oku ntikko, era Katonda ajja kumulaga. Tajja kwetaaga kweyogerako, Katonda ajja kumwogerera nga Ayita mu ddoboozi ly’akabonero kali. Amiina .
Bwe kityo, Obubaka buno obwayogerwa omubaka wE bwaweebwa butuukirivu ddala, era butegeerwa butuukirivu ddala.
Kirala ki Katonda kye Yayogera ku mubaka we malayika ow’omusanvu n’Obubaka bwe?
- Aliwulira okuva eri Katonda yekka.
- Aliba ne “bw’Ati bw’Ayogera Mukama” era ayogere ku lwa Katonda.
- Aliba kamwa ka Katonda.
- YE , NGA BWE KYALANGIRIRWA MU MALAKI 4:6, ALIKYUSA EMITIMA GYABAANA ERI BAKITAABWE.
- Alikomyawo abalonde ab’olunaku olw’oluvannyuma era bajja kuwulira nnabbi eyakakasibwa obutalekaawo kabuuza ng’awa amazima gennyini-nnyini nga bwe kyali ku Pawulo.
- Alizzaawo amazima nga bwe baagalina.
- Era awo kiki kye Yatwogerako ffe?
Era n’abo abalonde abaliba naye ku lunaku olwo be baliba abo aboolesa mu mazima Mukama waffe era babeere Omubiri gwe era babeere eddoboozi Lye era bakole emirimu gye. Aleluuya! Okiraba?
Bw’oba okyalimu okubuusabuusa kwonna, saba Katonda nga Ayita mu Mwoyo wE akujjuze era akukulembere, kubanga Ekigambo kigamba nti, “ABALONDE BENNYINI TEBASOBOLA KUSIRUWAZIBWA”. Mpaawo musajja yenna ayinza kukusiruwaza singa oba Mugole.
Abamesodisiti bwe baalemererwa, Katonda Yayimusaawo abalala era bwe kityo bwe kigenze mu maaso okuyita mu mirembe okutuusa ku lunaku luno olw’oluvannyuma lwe wazzeewo abantu abalala mu nsi, nga abo wansi w’omubaka waabwe be bajja okuba eddoboozi erisembayo eri omulembe ogusembayo.
Yee ssebo. Ekkanisa tekyali “kamwa” ka Katonda. Ye kamwa kaayo yennyini. Kale Katonda ali mu kugikyukira kugirumba. Ajja kugireetera okutabulwatabulwa mu birowoozo ng’ayita mu nnabbi n’omugole, kubanga eddoboozi lya Katonda lijja kuba mu Mugole. Weewawo bwe kiri, kubanga kigamba mu ssuula esembayo ey’Okubikkulirwa olunyiriri olwe 17 nti, “Omwoyo n’omugole boogera nti Jjangu.” Nate ensi ejja kuwulira butereevu okuva eri Katonda nga ku Pentekooti; naye era nga bwekisuubirwa Omugole-Kigambo oyo ajja kugaanibwa ng’omuntu atakyasaanira nga mu mulembe ogwasooka.
Omugole ddala alina eddoboozi, naye lijja kwogera byokka ebiri ku ntambi. Kubanga Eddoboozi eryo LIRI BUTEREEVU OKUVA ERI KATONDA, bwe kityo teryetaaga kuvvuunula anti lyaweebwa butuukirivu ddala era litegeerewa butuukirivu ddala.
Jjangu twegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira Eddoboozi eryo nga Litubikkulira: Ekkanisa y’Omulembe Gwa Lawodikiya 60-1211E.
Owol. Joseph Branham