25-1207 Awo Yesu n’Ajja n’Ayita

Obubaka: 64-0213 Awo Yesu n’Ajja n’Ayita

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole w’ekigambo Omwagalwa,

Tuli mu ssaawa ezisinga okuba ez’ekkizikiza, naye tetulina KUTYA, Mukama waffe azze. Azze okutuukiriza Ekigambo kye ku lunaku olw’enkomerero. Kye yali mu kiseera ekyo, Kyaali ne leero. Okulabisibwa kwe n’okumanyibwa kwe kye kwali mu kiseera ekyo, bwe kuli ne leero. Akyali Kigambo kya Katonda, nga yeeyoleka mu mubiri gw’omuntu mu malayika we ow’amaanyi ow’omusanvu era atubikkulidde, tuli Mugole w’ekigambo kye omulamu.

Tetulina budde bwa kukubaganya birowoozo oba Okulumaŋŋanna; olunaku olwo twa luyiitamu dda; tugenda mu maaso, tulina okutuukayo. Omwoyo Omutukuvu azze mu ffe. Mukama waffe Yesu mu ngeri y’Omwoyo atubikkulidde era yeeyolese okuyita mu nnabbi we nti Ye lye Ddoboozi lya Katonda eri Omugole we.

Yagamba nti Ajja kujja. Yagamba nti kino ajja kukikola. Yagamba nti agenda kujja okulabikako mu nnaku ez’enkomerero akole ebintu bino nga bwe yakola bwe yajja mu mubiri omulundi ogwasooka, era wano abikola. Kiki ky’otya? TEWALI!!

Tuli mu kkubo lyaffe erigenda mu Kitiibwa! Tewali kigenda kutulemesa. Katonda agenda kunyweza Ekigambo kye. Sifaayo ku bigenda mu maaso. Ekiseera kituuse ekyo ku genda mu kukola. Ekiseera kituuse okukkiriza oba obutakkiriza. Layini eyo eyawula ejja ku buli musajja n’omukazi etuuse.

Wazaalibwa lwa kigendererwa. Ekitangaala bwe kyakukuba, Kyakuggyamu enzikiza yonna. Bwe wawulira Eddoboozi lye nga lyogera naawe ku ntambi, waliwo ekyaliwo. Kyayogera n’omwoyo gwo. Kyagamba nti, “Mukama waff azze era akuyita. Tokoowa, totya, nkuyita. Oli Mugole Wange”.

Oh abantu, mukakase! Tomala gatwala mukisa gwonna ogw’ekitundu ku kyo. Katonda alina pulogulaamu: Ekigambo kye Yakwata ku ntambi . Mukama waffe azze era akuyita. Jjangu oyite mu kkubo Katonda lye yateekawo.

Mukama agenda kuddamu okugatta Omugole we okwetoloola ensi yonna n’Eddoboozi lye. Agenda kutuzzaamu amaanyi, okutugumya, okutuwonya, okutuleeta mu Kubeerawo kwe okw’amaanyi n’okutugamba nti:

Mukama azze era akuyita. Oh, omwonoonyi, ayi, omuntu omulwadde, tolaba Mukama nga yeeyolekera mu bantu, wakati w’abakkiriza? Azze okuyita abaana be abakkiriza mu bulamu. Azze okuyita omwonoonyi okwenenya. Eyaddirila, Munnakkanisa, mukama waffe azze era akuyita.

Nga kufukibwako kwa Mwoyo Omutukuvu We Omugole kwa nnaaba nnakwo ku Ssande eno nga Katonda akuŋŋaanya abaana be wamu omulundi omulala nnakka mu maka gaffe, mu makanisa gaffe, mu nkuŋŋaana zaffe, n’atukoowoola n’atugamba nti, “Mukama waffe azze era atuyita. Kyonna kye mwetaaga, kiba kyammwe.”

Ebigambo ebyo binywere mu mitima gyammwe ab’oluganda. KYONNA KY’OBADDE WETAAGA, MUKAMA WAFFE AJJA ERA NAKIKUWA.

Kitaffe ow’omu ggulu, Ayi Mukama, kiddemu. Ebyo byonna bye njogedde nti, “Yesu azze n’akuyita.” Bw’ajja akola ki? Ayitta . Era kiddemu, Mukama. Omwoyo Wo Omutukuvu ajje mu bantu ekiro kino, Mukama waffe Yesu mu ngeri ya—ey’Omwoyo. Ajje ekiro kino yeebikkule, n’oluvannyuma yeeyolese.

W’oluganda. Joseph Branham,

Obubaka: 64-0213 Awo Yesu N’ajja N’ayita
Obudde: Ssaawa 12:00 P.M. Obudde bwa Jeffersonville

Ebyawandiikibwa: Yokaana Omutukuvu 11:18-28