Obubaka: 65-1206 Ebigenda Mumaaso Ng’Obunabbi Bwabirambulula
- 25-0810 Ebigenda Mumaaso Ng’Obunabbi Bwabirambulula
- 21-1206 Ebigenda Mumaaso Ng’Obunabbi Bwabirambulula
- 20-0726 Ebigenda Mumaaso Ng’Obunabbi Bwabirambulula
- 18-0121 Ebigenda Mumaaso Ng’Obunabbi Bwabirambulula
- 15-1207 Ebigenda Mumaaso Ng’Obunabbi Bwabirambulula
Omugole Ow’Amazima era Omulamu Omwagalwa,
Yesu, Kigambo Mwennyini, bweYajja ku nsi emyaka 2000 egiyise, yajja nga bweYagamba nti bw’Alijja, nga Nabbi. Ekigambo kyE kirangirira nti nga tannajja nate, okulabisibwa okujjuvu okw’Omuntu Yesu Kristo kujja kuddamu okulabisibwa mu mubiri, mu nnabbi. Nabbi oyo azze, erinnya lye ye William Marrion Branham.
Omuntu yenna ayinza atya okukiraba naye n’atakitegeera nti okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera nabo butereevu ku ntambi kwe Kwagala kwa Katonda okutuukiridde? Tukimanyi nti Ekigambo bulijjo kijja eri nnabbi wE; Tekisobola kujja mu ngeri ndala yonna. Kiteekeddwa okujja nga kiyita mu kkubo lya Katonda omukutu gwE gwe Yatugamba nti gulibaawo. Eyo y’engeri yokka gye Kirijjangamu lubeerera. Katonda atambula mu ngeri gye yasuubiza nti ajja kukikola. Talinaayo lw’Alemererwa kukikola mu ngeri y’emu gy’Akozenga bulijjo.
Buli omu ku bo yalya ekintu kyekimu, bonna baazinira mu Mwoyo, bonna baali bafaanaganya ebintu byonna byebaalina; naye bwe kyatuuka ku kiseera eky’okwawukana, Ekigambo kye kyakola okwawukanya. Bwe kityo bwe kiri ne leero! Ekigambo kyakola okwawukanya! Ekiseera bwe kyatuuka…
Tulaba ekiseera ekyo nga kigenda mu maaso kati, Ekigambo kiri mu kwawukanya. Omugole alumirizibwa ogw’okuyitiriza nnabbi bwe bagamba nti, “Waliwo abasajja abaayitibwa Katonda abalala, abajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu okukulembera Omugole leero. Mweetaagayo-kko ebirala, si kuba na ntambi zokka. Katonda alina abasajja b’Ataddewo leero okukulembera ekkanisa.”
“Ogezaako okulowooza nti ggwe wekka mu kibinja. Ekibiina kyonna kitukuvu!” Katonda taakolangako bw’atyo. Kye yali amanyi kyali kirina okuba nga kisingako awo. Era n’agamba nti, “Kale, ekibiina kyonna kitukuvu. Ogezaako okwefuula nti…” Bwetuba ba kukyogera leero, y’enjogera ekozesebwa gye tuyitira egamba nti, “Ejjinja lyokka ku lubalama.”
Era Musa yali akimanya nti Katonda Yamutuma emmanga eyo kukola mulimu ogwo.
Katonda ddala alina abasajja abajjudde Omwoyo Omutukuvu okukulembera Omugole wE; ekitegeeza okubakulembera ERI BW’AYOGERA MUKAMA, NABBI OMUBAKA . Kubanga Obubaka n’omubaka bye bimu. Eryo lye kkubo lya Katonda nnantakyukakyuka lye Yateekawo kulw’olwaleero, n’okuva edda n’edda bulijjo.
Kubanga baawuliriza ensobi. Musa, omukakase wa Katonda obutalekaawo kabuuza, era omukulembeze okubalaga ekkubo erigenda mu nsi ensuubize, era nga baali batuuse wala nnyo nga byonna bibadde bulungi, naye olwo bwe bataayagala kweyongerayo mu maaso naye…. Kati, abakkiriza basobola OkuKiraba, naye abatakkiriza tebasobola kulaba Ekyo nga kikakasibwa obutalekaawo kabuuza.
Tewalondebwa bulondebwa okusembeza Okubikkulirwa kuno okw’ekitalo okw’ekiseera eky’enkomerero okw’ennaku zino, wabula Katonda, nga Ayita mu mu ngeri y’entambi zE ez’Emmere eyaterekebwa mu ggwanika, ayogera eri Omugole wE omwagalwa wakati w’ennyiriri.
Olwo bw’oba mutabani oba muwala wa Katonda, wabeeranga mu Katonda ebbanga eryo lyonna. Naye Yali amanyi kalimiro ki na budde ki mw’ogenda okusimbibwa. Kale kati ofuuliddwa ekitonde, mutabani oba muwala wa Katonda ayoleseddwa okweŋŋanga okusoomoozebwa kw’ekiseera kino okulaga mu ngeri emalawo okubuusabuusa kwonna Katonda omutuufu era omulamu ow’essaawa eno, Obubaka obuli mu kufuluma nga busaasaana wonna mu kiseera kino. Ekyo kituufu! Wakolebwa eyo ng’ensi tennatondebwa.
Nga bbaluwa ya mukwano nnyo eri wakati w’ennyiriri eri Omugole We, EKITIIBWA!!! Teyakoma ku kutumanya n’Atulonda ng’ensi tennatondebwa, wabula wano Atugamba nti Yatulonda tubeere batabani ne bawala bE abooleseddwa olw’OLUNAKU lwa LEERO . Yatuteeka wano ku nsi leero, okusinga abatukuvu abalala bonna okuva ku lubereberye, kubanga Yakimanya nti tujja kweŋŋanga okusoomoozebwa kw’essaawa eno okulaga mu ngeri emalawo okubuusabuusa kwonna Katonda omutuufu era omulamu ow’essaawa eno, Obubaka obuli mu kuvaayo nga busaasaana wonna mu kiseera kino.
Twali mu Katonda, nga akaayi mu mubiri gw’ekitonde akalambiddwako empisa zaakyo ez’obuzaale, ekigambo, ekimu ku bikula bye okuva ku lubereberye, naye KATI tuli mu bifo eby’omu Ggulu mu Kristo Yesu, nga tuwuliziganya naYe nga tuyita mu Kigambo kyE, okuyita mu Kigambo kye; kubanga TULI KIGAMBO KYE, era Kiriisa emmeeme zaffe.
Tetusobola, era tetujja kukuba bulamu bwaffe mpiso ya kintu kirala kyonna okuggyako Ekigambo kya Katonda ekitatabikiddwamu birala. Tukimanyi era tukkiriza nti Lye kkubo lya Katonda lye Yateekerawo olwaleero.
Twandyagadde nnyo ggwe okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira EDDOBOZI LYOKKA, Eddoboozi lya Katonda ku ntambi, ly’osobola okuddiramu AMIINA, ku buli Kigambo ky’owulira.
Owol. Joseph Branham
Obubaka: Ebigenda Mumaaso Ng’Obunabbi Bwabirambulula 65-1206
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Olubereberye 22
Ekyamateeka 18:15
Zabbuli 16:10 / 22:1 / 22:18 / 22:7-8 / 35:11
Isaaya 7:14 / 9:6 / 35:7 / 50:6 / 53:9 / 53:12 / 40:3
Amosi 3:7
Zekkaliya 11:12 / 13:7 / 14:7
Malaki 3:1 / 4:5-6
Omut. Matayo 4:4 / 24:24 / 11:1-19
Omut. Lukka 17:22-30 / 24:13–27
Abebbulaniya 13:8 / 1:1
Omut. Yokaana 1:1
Okubikkulirwa 3:14-21 / 10:7