Obubaka: 63-0319 Akabonero Ak’Okubiri
Abawuliriza b’Entambi Abaagalwa,
Ekibuuzo: Tuli mu Kwagala Kwe okutuukiridde nga tuzannya Entambi?
Okwanukula: WEEWAAWO.
Ekibuuzo: Omugole yeetaaga ebisinga ku ebyo ebyogerwa ku Ntambi?
Okwanukula: NEDDA.
Ekibuuzo: Waliwo kyetuba tusubwa bwetuwuliriza Entambi ZOKKA?
Okwanukula: NEDDA.
Ekibuuzo: Tusobola okubeera Omugole nga tuwuliriza Ntambi ZOKKA?
Okwanukula: WEEWAAWO emu, etaliiko kabuuza newankubadde okubuusabuusa!
Kati jjukira nti, “Mpaawo kinaabikkulibwa, Katonda taliiko ky’Alikola, n’akatono, okutuusa nga Asoose okukibikkulira abaddu be, bannabbi.”
Bwe kityo, BYONNA bye twetaaga byamala okwogerwa era biri ku ntambi; oba, malayika wE ow’omusanvu nga Akomyewo ku nsi, OYO y’ajja okutubuulira mu kaseera ako.
Oh Omugole, leka tufune ekifaananyi mu birowoozo byaffe eky’ebyo ebigenda mu maaso ku Omugole wa Kristo okwetoloola ensi yonna. Kitaffe ali mu kukuŋŋaanya Omugole wE awamu nga Akozesa Eddoboozi lyE era ali mu Kubwatuka nti, “Bw’Ati bw’Ayogera Mukama.”
Jjukira, yatugamba Ebibwatuka byali ki: “okubwatuka kw’Ekibwatuka okw’omwanguka lye ddoboozi lya Katonda”. Era Eddoboozi lya Katonda eri Omugole lye liruwa? Omubaka wa Katonda ow’omusanvu, William Marrion Branham.
Yagamba nti wagenda kujjawo Ebibwatuka musanvu ebisusse ku kutegeera kw’omuntu okwa bulijjo n’okuwandiikibwa ebitaawandiikibwa wadde n’akatono. Era nti okuyita mu Bibwatuka ebyo Omusanvu, bijja kugatta Omugole awamu olw’okukkiriza okw’okukwakkulibwa.
Ekigambo kya Mukama kijja eri bannabbi be. Singa yalina enkola esingako obulungi, Yandigikozesezza. Yeeroboza enkola esinga obulungi ku lubereberye era tasobola, era tali-kyuka.
Na bwerityo, Eddoboozi lya Katonda, nga lyogera okuyita mu malayika we ow’omusanvu, liri mu kugatta Omugole wE era nga lituwa Okukkiriza Okw’okukwakkulibwa.
Ekkanisa teyewuunyizzaako okuva mu 1933, wammanga ku mugga ku lunaku olwo, nti William Marrion Branham ye Ddoboozi lya Katonda, Nga Libwatuka, “Bw’Ati bw’Ayogera Mukama,” era nti yatumibwa okuyitayo, okukuŋŋaanya, n’okukulembera Omugole.
Njagala okubayita okujja okuwuliriza wamu naffe Ssande ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga Mukama waffe Yesu Abikkula Ekitabo, n’ayuzaako Envumbo eyo, n’Akisindika wansi ku nsi, eri malayika wE ow’omusanvu, okukitubikkulira!
Owol. Joseph Branham
Olunaku: Ssande, Omwezi Ogw’Okusatu Nga 23, 2025
Obubaka: Akabonero Ak’Okubiri 63-0319
Obudde: Essaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda)
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Omut. Matayo 4:8 / 11:25-26 / 24:6
Omut. Makko 16:16
Omut. Yokaana 14:12
2 Abasessaloniika 2:3
Abebbulaniya 4:12
Okubikkulirwa 2:6 / 6:3-4 / Essuula ey’ekkumi n’omusanvu / 19:11-16
Yoweri 2:25
Amosi 3:6-7