Obubaka: 61-0618-Okubikkulirwa, Essuula ey’okutaano Ekitundu 2
- 25-0126 Okubikkulirwa, Essuula ey’okutaano Ekitundu 2
- 16-0501M Okubikkulirwa, Essuula ey’okutaano Ekitundu 2
Abawummudde Abaagalwa,
Mazima ddala zino z’entuuko z’obutiti ezisinze obulungi mu bulamu bwaffe. Okujja kwa Mukama kunaatera okutuuka. Tussibbwako akabonero Omwoyo Omutukuvu; Envumbo ya Katonda ey’okusiima nti buli kintu Kristo kye Yafiirira kyaffe.
Kaakano tulina omusingo ogw’obusika bwaffe, Omwoyo Omutukuvu. Bwe bukakafu, ekitundu ku muwendo gw’eky’amaguzi ekikuweebwa mbagirawo, okutukakasa nti tusembezeddwa mu Kristo. Tuwummulidde mu bisuubizo bya Katonda, nga tugalamidde mu bbugumu ly’Omusana gwE; Ekigambo kye ekyakakasibwa obutalekaawo kabuuza, nga tuwuliriza Eddoboozi lyE.
Gwe musingo ogw’obulokozi bwaffe. Tetuli beeraliikirivu oba tugenda kusomoka tutuuke Eyo oba nedda, TUGENDA! Ekyo tukimanya tutya? Katonda bwe yagamba! Katonda yakisuubiza era tufunye omusingo. Tumaze okuGufuna era Kristo atusembezza.
Tewali ngeri yonna gye tuyinza kuKivaako…n’okuba, tutuuse! Kye tulina okukola kwe kulindirira; Asse wansi era ali mu kukola mulimu gw’Omununuzi Ow’omu lulyo kaakano mu kaseera kano. Tulina omusingo gwakyo mu kiseera kino. Tulindiridde bulindirizi kaseera mw’akomerawo okutunona. Olwo, mangu ago, nga kutemya kikowe ffenna tujja kuba tugenze ku Kyeggulo Eky’Embaga Ey’Obugole.
Okulowooza obulowooza ku byonna ebitulindiridde mu maaso. Obwongo bwaffe tebusobola kubinnyonnyoka byonna. Lunaku ku lunaku Ayongera okubikkula ebisingawo ku Kigambo kyE, ng’Akakasa nti ebisuubizo bino ebikulu byaffe.
Ensi esasika; omuliro wano na wali, musisi wano na wali, n’akavuyo buli wamu, naye bakkiriza nti balina omulokozi omupya agenda okutaasa ensi, n’okuleeta omulembe gwabwe ogwa zaabu. Ffe twafuna dda Omulokozi waffe era tubadde tubeera mu Mulembe gwaffe ogwa Zaabu.
Kaakano Atuteekateeka okufuna nate era okubikkulirwa okusingawo nga bwe tuyingira mu ssuula ey’okutaano ey’Okubikkulirwa. Ateekateeka wano embera y’ekifo awagenda okubembulwa Envumbo Omusanvu. Ddala nga bwe Yakola mu ssuula 1 ey’Okubikkulirwa, nga Ayerula ekkubo omugenda okuyita Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu.
Akabanga akakyasigaddeyo mu Ntuuko z’obutiti zino kagenda kubeera katya eri Omugole? Ka tulengereyo kko katono tulabe:
Kati, sirina budde. Nakiwandiise, omulamwa ogumu ku kyo wano, wabula mu lukuŋŋaana lwaffe oluddako nga tetunnayingira mu kino…Oboolyawo bwe nva mu luwummula lwange oba ekiseera ekirala, njagala okufuna sabbiiti zino ensanvu eza Danyeri nzisibire bulungi mu kino wano, era nzirage wezikituusiza ku Jjubileewo ya Pentekooti, era nkikomyewo bulungi ddala n’ebibo.. omusanvu ebyo, envumbo omusanvu ezo okubembulwa wano nga tetunnagenda, n’okulaga nti kibeerawo ku nkomerero, zino…
Nga kiseera kya kitalo nnyo Mukama ky’Ategekedde Omugole wE. Okwebikkula mu Kigambo kyE gye tuli nga bwe kitabangawo. Okutuzzaamu amaanyi nti tuli balonde be b’Ali mu kujja okunona. Okutugamba nti tuli mu kwagala kwE okutuukiridde nga tusigala n’Eddoboozi lyE, n’Ekigambo kyE.
Tuli mu kukola ki? Mpaawo na kimu, mpozzi Okuwummula obuwummuzi! Okulindirira! Tewakyali kukakaalukana, tewakyali kubungeetera mu kubuzaabuzibwa, TUWUMMULIDDE KU KYO!
Jjangu owummulemu-kko wamu naffe Ssande eno ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda ERYAKAKASIBWA OBUTALEKAAWO KABUUZA nga lituleetera Obubaka:
61-0618 – “Okubikkulirwa, Essuula ey’okutaano Ekitundu II”.
Owol. Joseph Branham