Obubaka: 60-1225 Kirabo kya Katonda Ekisabike
Mukyala JÉSUS omwagalwa,
Oh Omwana gw’endiga gwa Katonda, Ggwe Ekirabo kya Katonda ekikulu ekisabike eri ensi. Otuwadde Ekirabo ekisinga obukulu ekyali kitoneddwa, Ggwe Mwene. Nga Tonnatonda mmunyeenye eyasookawo, nga Tonnatonda nsi, omwezi, ensengekera y’enjuba, Watumanya era n’Otulonda tubeere Omugole wO.
Bwe Watulaba mu kaseera ako, Watwagala. Twali nnyama ya mubiri Gwo, eggumba ly’eggumba lyo; twali kitundu ku Ggwe. Engeri gye Watwagala era nga Oyagala okussa nga ekimu naffe. Wayagala ogabane naffe Obulamu Bwo Obutaggwaawo. Twamanya olwo, twali ba kubeera Mukyala Wo JÉSUS.
Wakiraba nti tujja kulemererwa, bwekityo ne kikwetaagisa okuteekawo engeri ey’okutuzzaayo mu mbeera yaffe embereberye. Twali twabula era nga tetulina ssuubi. Waaliwo engeri emu yokka, Walina okufuuka “Ekitondeddwawo Ekiggya”. Katonda n’omuntu baalina okufuuka Omu. Walina okufuuka ffe, tusobole okufuuka Ggwe. Bw’Otyo, Wateeka enteekateeka yo enkulu mu nkola emyaka enkumi n’enkumi emabega mu lusuku Adeni.
Obadde weegomba nnyo okubeera naffe, Omugole-Ekigambo Wo atuukiridde, naye Wasooka kumanya nti olina okutuzzaayo mu mbeera yaffe embereberye eri byonna ebyali bibuze mu lubereberye. Walindirira n’olindirira n’olindirira okutuusa leero okumaliriza enteekateeka Yo.
Olunaku lutuuse. Akabinja ako akatono keWalaba mu lubereberye kali wano. Omwagalwa wO akwagala Ggwe n’Ekigambo Kyo okukira ekintu kyonna.
Kyali kiseera Ggwe okujja okwebikkulira mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi nga bwe Wakola ne Ibulayimu, era nga bwe Wakola ng’Ofuuse Ekitondeddwa ekiggya. Engeri gye weegomba olunaku luno osobole okutubikkulira ebyama byo byonna ebikulu ebibadde bikwekeddwa okuva ku kutondebwawo kw’ensi.
Wenyumiriza nnyo mu Mugole Wo. Engeri gy’Onyumirwa ennyo okumussaawo n’ogamba Sitaani nti, “Ne bw’ogezaako okubakola ki, tebajja kuseguka; tebajja kwekkiriranya ku Kigambo kyaNge, Eddoboozi lyaNge. Bano ye MUGOLE-EKIGAMBO ATUUKIRIDDE wange.” Bandabikira bulungi nnyo. Batunuulire butunuulizi! Okuyita mu bigezo byabwe byonna n’okugezesebwa, basigala nga beesigwa eri Ekigambo kyange. Ndibawa ekirabo ekibeerera emirembe gyonna. Byonna bye ndi, mbibawa. TUJJA KUBA OMU.
Kye tuyinza okwogera kyokka kiri nti: “JÉSUS, TWAGALA. Ka tukwanirize mu maka gaffe. Tukufukeko amafuta era tukunaaze ebigere n’amaziga gaffe era tubinywegere. TuKubuulire nga bwe tuKwagala.”
Byonna bye tuli, tubikuwa Ggwe JÉSUS. Ekyo kye kirabo kyaffe gy’oli JÉSUS. Tukwagala nnyo. Tukusuuta. Tukusinza.
Mpita buli omu ku mmwe okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), era oyanirize JÉSUS mu maka go, mu kkanisa yo, mu mmotoka yo, wonna w’oyinza okuba, era ofune Ekirabo ekisinga obukulu ekyali kitoneddwa omuntu; Katonda Mwene ng’Ayogera era nga Assa Ekimu naawe.
Owol. Joseph Branham
60-1225 Ekirabo kya Katonda Ekisabike